1 Awo olwatuuka mu mwaka ogwa Zeddekiya kabaka wa Yuda nga kyajje atanule okufuga mu mwaka ogw'okuna mu mwezi ogw'o kutaano Kananiya mutabani wa Azzuli nnabbi ow'e Gibeoni n'ayo gera nange mu nnyumba ya Mukama, bakabona n'abantu bonna nga weebali, nti
2 Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye Katonda wa Isiraeri nti Mmenye ekikoligo kya kabaka w'e Babulooni.
3 Emyaka biri, emirambirira nga teginnaggwaako ndireeta nate mu kifo kino bintu byonna eby'omu nnyumba ya Mukama Nebukadduneeza kabaka w'e Babulooni bye yaggya mu kifo kino n'abitwala e Babulooni:
4 era ndikomyawo mu kifo kino Yekoniya mutabani wa Yekoyakimu kabaka wa Yuda wamu n'abasibe bonna aba Yuda abaagenda e Babulooni, bw'ayogera Mukama: kubanga ndimenya ekikoligo kya kabaka w’e Babulooni.
5 Awo nnabbi Yeremiya n'agamba nnabbi Kananiya, bakabona nga weebali n'abantu bonna abayimiridde mu nnyumba ya Mukama nga weebali,
6 nnabbi Yeremiya n'ayogera nti Amina: Mukama akole bw'atyo: Mukama atuukirize ebigambo byo ly'olagudde okukomyawo ebintu by'omu nnyumba ya Mukama !abo bonna ab'obusibe okubaggya Babulooni okubaleeta mu kifo kino
7 Era naye wulira nno ekigambo kino kye njogera mu matu go ne mu matu g'abantu bonna, nti
8 Bannabbi abansooka nze era baakusooka ggwe edda baalaguuiga eri ensi nnyingi, n'amatwale a bakabaka amakulu, nga balagula bulwa n'obubi ne kawumpuli.
9 Nnabbi alagula emirembe, ekigambo kya nnabbi bwe kirituukirira, kale nnabbi alimanyibwa nga Mukama yamutuma mazima.
10 Awo Kananiya nnabi n'aggya omuti ku nsingo ya nnabbi Yeremiya agumenya.
11 Awo Kananiya ayogera abantu bonna nga weebali nti Bw'ati bw'ayogera Mukama nti ra bwe ntyo bwe ndimenya n'ekoligo kya Nebukadduleeza kabaka w'e Babulooni nga nkiggya ku nsingo y'amawanga gonna, emyaka ebiri emirambirira nga teginnawaako. Awo nnabbi Yeremiya yeddirayo.
12 Awo ekigambo kya Mukama ne kiryoka kijjira Yeremiya, Kananiya nnabbi ng'amaze okumenya omuti ku nsingo nnabbi Yeremiya, nga kyogera
13 nti Genda obuulire Kananiya nti Bw'ati bw'ayogera Mukama nti nenye ekikoligo eky'emiti, naye kola ekikoligo eky'ebyuma okuda kifo kyakyo.
14 Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye Katonda wa Isiraeri nti Ntadde ekikoligo eky'ebyuma ku nsingo y'amawanga gano gonna gaweereze Nebukadduneeza kabaka w'e Babulooni; era balimuweereza: era mmuwadde n'ensolo ez'omu nsiko.
15 Awo nnabbi Yeremiya n'alyoka agamba Kananiya nnabi nti Wulira nno, Kananiya; Mukama takutumanga; naye weesiza abantu bano eky'obulimba.
16 Mukama kyava ayogera nti Laba, ndikusindika okuva ku nsi: mu mwaka guno mw'olifiira kubanga oyogedde eby'obujeemu eri Mukama.
17 Awo Kananiya nnabbi n'afiira mu mwaka ogwo mu mwezi ogw'omusanvu.