1 Mukama n'amugamba Musa nti Ekibonoobono kimu nate kye ndimuleetera Falaawo ne Misiri; oluvannyuma alibaleka okuvaamu: bw'alibaleka, mazima alibagobera ddala muno.
2 Yogera kaakano mu matu g'abantu, basabe buli musajja eri muliraanwa we na buli mukazi eri muliraanwa we ebintu ebya ffeeza n'ebintu ebya zaabu.
3 Mukama n'abawa abantu okwagalibwa mu maaso g'Abamisiri. Nate omuntu Musa yali mukulu nnyo mu nsi ey'e Misiri, mu maaso g'abaddu ba Falaawo, ne mu maaso g'abantu.
4 Musa n'ayogera nti Bw'atyo Mukama bw'ayogera nti Nga mu ttumbi ndifuluma wakati w'e Misiri:
5 n'ababereberye bonna ab'omu nsi ey'e Misiri balifa, okuva ku mubereberye wa Falaawo atuula ku ntebe ey'obwakabaka okutuuka ku mubereberye w'omuzaana ali ennyuma w'olubengo; n'ebibereberye byonna eby'ebisibo.
6 Era walibeera okukaaba okungi mu nsi yonna ey'e Misiri, okutabangawo newakubadde tekulibaawo nate nga kuno.
7 Naye ku omu mu baana ba Isiraeri embwa terimuwagalako lulimi, ku muntu newakubadde ensolo : mulyoke mumanye Mukama bw'ayawula wakati w'Abamisiri ne Isiraeri.
8 Era abaddu bo bano bonna baliserengeta gye ndi balivuunamira nze, nga boogera nti Genda n'abantu bo bonna abakugoberera: oluvannyuma ndigenda. N'ava eri Falaawo n'obusungu bungi.
9 Mukama n'amugamba Musa nti Falaawo talibawulira: eby'amagero byange biryoke byeyongere mu nsi ey'e Misiri.
10 Musa ne Alooni ne bakola eby'amagero bino byonna mu maaso ga Falaawo: Mukama n'akakanyaza omutima gwa Falaawo, n'atabaleka abaana ba Isiraeri okuva mu nsi ye.