Home |  | Audio |  | Index |  | Verses

Okuva Exodus

Chapter : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29 30 31 32 33 34 35 36 37 38 39 40
1 Mu mwezi ogw'okusatu oluvannyuma abaana ba Isiraeri nga bamaze okuva mu nsi ey'e Misiri, ku lunaku luli ne batuuka mu ddungu lya Sinaayi.
2 Bwe baava mu Lefidimu ne batuuka mu ddungu lya Sinaayi, ne bakuba eweema mu ddungu; Isiraeri n'asiisira wali mu maaso g'olusozi.
3 Musa n'alinnya eri Katonda, Mukama n'amuyita ng'ayima ku lusozi, ng'ayogera nti Bw'otyo bw'olibagamba ennyumba ya Yakobo, n'obabuulira abaana ba Isiraeri
4 nti Mwalaba bye nnakola Abamisiri, era bwe nnasitula mmwe n'ebiwaawaatiro by'empungu era bwe nnabaleeta gye ndi
5 Kale, kaakano, bwe munaawuliranga eddoboozi lyange ddala, ne mukwata endagaano yange, bwe mutyo munaabanga ekintu kyange ekiganzi mmwe mu mawanga gonna kubanga ensi yonna yange:
6 nammwe mulimbeerera okwakabaka ; bwa bakabona, n'eggwanga ettulkuvu. Bino bye bigambo by'oliba buulira abaana ba Isiraeri.
7 Musa n'ajja n'ayita abakadde ab'abantu, n'ateeka mu maaso gaabwe ebigambo bino byonna Mukama bye yamulagira.
8 Abantu bonna ne baddamu awamu ne boogera nti Byonna bye yayogera Mukama tulibikola. Musa n'aleeta nate ebigambo by'abantu eri Mukama.
9 Mukama n'amugamba Musa nti Laba, njija gy'oli mu kire ekizimbye, abantu bawulire bwe njogera naawe, era bakukkirize ennaku zonna. Musa n'abuulira Mukama ebigambo eby'abantu.
10 Mukama n'agamba Musa nti Genda eri abantu, obatukuze leero ne jjo, era bayoze engoye zaabwe,
11 beeteketeeke okutuusa olunaku olw'okusatu: kubanga ku lunaku olw'okusatu Mukama alikka mu maaso g'abantu bonna ku lusozi Sinaayi.
12 Naawe olibateekera abantu ensalo enjuyi zonna, ng'oyogera nti Mwekuume, muleme okulinnya ku lusozi newakubadde okukwata ku nsalo yaalwo: buli alikwata ku lusozi, talirema kuttibwa:
13 omukono gwonna guleme okumukwatako, naye talirema kukubibwa mayinja oba kufumitwa; oba ensolo, aba muntu, taliba mulamu: exlrjombe bw'erivuga ennyo, balisemberera olusozi.
14 Musa n'akka ng'ava mu lusozi ng'ajja eri abantu, n'atukuza abantu; ne bayoza engoye zaabwe
15
15 N'agamba abantu nti Mweteekereteekere alunaku olw'okusatu: temusemberera mukazi.
16 Awo ku lunaku olw'okusatu, bwe bwakya enkya, ne waba okubwatuka n'okumyansa, n'ekire ekizimbye ku lusozi,n'eddoboozi ery'eŋŋombe eddene ennyo; awo abantu bonna abaali mu lusiisira ne bakankana.
17 Musa n'aleeta abantu okuva mu lusiisira basisinkane Katonda; ne bayimirira wansi w'olusozi.
18 Olusozi Sinaayi lwonna ne lunyooka omukka, kubanga Mukama yalukkirako mu muliro: omukka gwalwo ne gunyooka ng'omukka gw'ekikoomi, olusozi lwonna ne lukankana nnyo.
19 Eddoboozi ly'erJnombe bwe lyavuga ne lyeyongera nnyo, Musa n'ayogera, Katonda n'amuddamu n'eddoboozi.
20 Mukama n'akka ku lusozi Sinaayi, ku ntikko y'olusozi; Mukama n'ayita Musa okulinnya ku ntikko y'oiusozi: Musa n'alinnya
21 Mukama n'agamba Musa nti Serengeta, olagire abantu, baleme okuwaguza eri Mukama okwekaliriza n'amaaso, abantu bangi baleme okubula mu bo.
22 Era ne bakabona abasemberera Mukama, beetukuze, Mukama aleme okugwa ku bo.
23 Musa n'agamba Mukama nti Abantu tebayinza kulinnya ku lusozi Sinaayi: kubanga watulagira, ng'oyogera nti Teeka ensalo okwetooloola olusozi, era olutukuze.
24 Mukama n'amugamba nti Genda, oserengete; naawe olirinnya, ggwe ne Alooni wamu naawe; naye bakabona n'abantu baleme okuwaguza okulinnya eri Mukama, aleme okugwa ku bo.
25 Awo Musa n'aserengeta eri abantu, n'ababuulira.

Top |  | Next Page  |  | Index |  | Home
Full online version here [with search engine, multilingual display and audio Bible]