1 Ne kaniki n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne babikoza ebyambalo ebyalangibwa obulungi, eby'okuweererezangamu mu watukuvu, ne bakolera Alooni ebyambalo ebitukuvu Mukama nga bwe yalagira Musa:
2 N'akola ekkanzu eya zaabu, ne kaniki, n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne bafuta ennungi, erangiddwa.
3 Ne baweesa zaabu, ne bagifuula ebipaapi, ne bagikomolamu obunyere, okugirunga mu kaniki, ne mu lugoye olw'effulungu, ne mu lumyufu, ne mu bafuta ennungi, omulimu ogw'omukozi ow'amagezi.
4 Ne bagikolako eby'okubibegabega ebyagattibwa yagattibwa ku nsonda zaayo zombi.
5 N'olukoba olw'alangibwa n'amagezi, olwagiriko, okugisibyanga, lwali lwa lugoye lumu nayo era omulimu gwalwo gwafaanaaa nga yo; lwa zaabu, ne kaniki, n'olugoye olw'effulungu, a'olumyufu, ne bafuta ennungi erangiddwa; nga Mukama bwe yalagira Musa.
6 Ne balongoosa amayinja aga onuku, ne gayingizibwa mu mapeesa aga zaabu, ne gasalibwako ng'akabonero bwe kasalibwa, ng'amannya g'abaana ba Isiraeri bwe gaali.
7 N'agateeka ku by'okubibegabega eby'ekkanzu, okuba amayinja ag'okujjukizanga eri abaana ba Isiraeri; nga Mukama bwe yalagira Musa.
8 N'akola ekyomukifuba, omulimu ogw'omukozi ow'amagezi oku faanana ag'omulimu ogw'ekkanzu; kya zaabu, ne kaniki, n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne bafuta ennungi erangiddwa.
9 Kyenkanankana enjuyi zonna; ekyomukifuba baakifunyamu: obuwanvu bwakyo luta, n'obugazi bwakyo luta, nga kifunyiddwamu.
10 Ne bakiteekamu ennyiziri nnya ez'amayinja: olunnyiriri olwa sadio, ne topazi, ne kabunkulo lwe Iwali olunnyiriri olw'olubereberye.
11 N'olunnyiriri olw'okubiri ejjinja erya nnawa ndagala, safiro, ne alimasi.
12 N'olunnyiriri olw'okusatu yakinso, sebu, ne amesusito.
13 N'olunnyiriri olw'okuna berulo, oauku, ne yasipero: geetooloozebwa zaabu we gatonebwa.
14 Amayinja ne gaba ng'amannya g'abaana ba Isiraeri, ekkumi n'abiri, ag'amannya gaabwe; ng'akabonero bwe kasalibwa, buli muntu ng'erinnya lye, ebika ekkumi n'ebibiri.
15 Ne bakola ku kyomukifuba emikuufu ng'emigwa, obw'omulimu ogulangibwa ogwa zaabu ennungi.
16 Ne bakola amapeesa abiri aga zaabu, n'empeta bbiri eza zaabu; ne bateeka empeta ebbiri ku nsonda zombi ez'ekyomukifuba.
17 Ne bateeka emikuufu gyombi obwa zaabu obulangibwa ku mpeta zombi ku nkomerero ez'ekyomukifuba.
18 N'enkomerero zombi endala ez'emikuufu gyombi egirangibwa ne baziteeka ku mapeesa gombi, ne bagateeka ku by'okubibegabega eby'ekkanzu, ku luuyi lwayo olw'omu maaso.
19 Ne bakola empeta bbiri eza zaabu, ne baziteekaku nsonda zombi ez'ekyomukifuba, ku mabbali gaakyo agali ku luuyi olw'ekkanzu munda.
20 Ne bakola empeta bbiri eza zaabu, ne baziteeka ku by'okubibegabega byombi eby'ekkanzu wansinsi, ku luuyi lwayo olw'omu maaso, kumpi n'olukindo lwayo, waggulu w'olukoba olw'ekkanzu olulukibwa n'amagezi.
21 Ne basiba eky'omukifuba n'empeta zaakyo n'empeta ez'ekkanzu n'akagoye aka kaniki, kibeere ku lukoba olw'ekkanzu olulangibwa n'amagezi, era ekyomukifuba kireme okusumululwanga ku kkanzu; nga Mukama bwe yalagira Musa.
22 N'akola omunagiro ogw'omu kkanzu gwa mulimu ogulangibwa, gwa kaniki gwonna;
23 n'ekituli eky'omunagiro wakati mu gwo, ng'ekituli eky'ekizibawo eky'ekyuma, nga guliko olukugiro okwetooloola ekituli kyagwo, guleme okuyuzibwa.
24 Ne bakola ku birenge by'omunagiro amakomamawanga aga kaniki n'ag'effulungu, n'ag'olumyufu, n'aga bafuta erangiddwa.
25 Ne bakola endege eza zaabu ennungi, ne bateeka endege wakati w'amakomamawanga ku birenge by'omunagiro okwetooloola, wakati w'amakomamawanga;
26 endege n'ekkomamawanga, endege n'ekkomamawanga, ku bireage by'omunagiro okwetooloola, okuweererezangamu; nga Mukama bwe yalagira Musa.
27 Ne bakolera Alooni ebizibawo ebya bafuta ennungi eby'omulimu ogulangibwa, n'abaana be,
28 n'ekiremba ekya bafuta ennungi, n'enkuufiira ennungi eza bafuta ennungi, ne seruwale eza bafuta ennungi erangiddwa,
29 n'olukoba olwa bafuta ennungi erangiddwa, ne kaniki, n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, omulimu ogw'omudaliza; nga Mukama bwe yalagira Musa.
30 Ne bakola akapande ak'oku ngule entukuvu aka zaabu ennungi, ne bakawandiikako abigambo, ng'ebiwandiikibwa ku kabonero, nti OMUTUKUVU ERI MUKAMA.
31 Ne bakasibako akagoye aka kaniki, okukasiba ku kiremba waggulu; nga Mukama bwe yalagira Musa.
32 Bwe gutyo omulimu gwonna ogw'ennyumba ey'eweema ey'okusisinkanirangamu ne guggwa: era abaana ba Isiraeri baakola nga byonna Mukama bye yalagira Musa, bwe baakola bwe batyo.
33 Ne bagireetera Musa ennyumba, Eweema, n'ebintu byayo byonna, ebikwaso byayo, n'embaawo zaayo, n'emiti gyayo, n'empagi zaayo, n'ebinnya byayo;
34 n'eky'okubikkako eky'amaliba g'endiga eza seddume amannyike amamyufu, n'eky'okubikkako eky'amaliba g'eŋŋonge, n'eggigi eryawulamu;
35 essanduuko ey'obujulirwa, n'emisituliro gyayo, n'entebe ey'okusaasira;
36 emmeeza, n'ebintu byayo byonna, n'emigaati egy'okulaga;
37 ekikondo ekirongoofu, eby'ettabaaza byakyo, bye by'ettabaaza eby'okulongoosebwanga, n'ebintu byakyo byonna, n'amafuta ag'ettabaaza;
38 n'ekyoto ekya zaabu, n'amafuta ag'okufukangako, n'obubaane obuwoomerevu, n'akatimba ak'oluggi olw'eweema;
39 ekyoto eky'ekikomo, n'ekitindiro kyakyo eky'ekikomo, emisituliro gyakyo, n'ebintu byakyo byonna, ekinaabirwamu n'entobo yaakyo;
40 eby'okutimba eby'oluggya, empagi zaalwo, n'ebinnya byalwo, n'akatimba ak'oluggi olw'oluggya, emigwa gyalwo, n'enninga zaalwo, n'ebintu byonna eby'okuweereza okw'omu nnyumba, eby'eweema ey'okusisinkanirangamu;
41 ebyambalo ebyakolebwa obulungi eby'okuweererezangamu mu watukuvu, n'ebyambalo ebitukuvu ebya Alooni kabona, n'ebyambalo eby'abaana be, okuweererezangamu mu bwakabona.
42 Nga byonna Mukama bye yalagira Musa, bwe batyo abaana ba Isiraeri bwe baakola omulimu gwonna.
43 Musa n'alaba omulimu gwonna, era, laba, baali nga bagumaze; nga Mukama bwe yalagira, bwe batyo bwe baali bagukoledde ddala: Musa n'abasabira omukisa.