1 N'agamba Musa nti Linnya eri Mukama, ggwe ne Alooni, Nadabu, ne Abiku, n'ensanvu ey'abakadde ba Isiraeri; era musinzize wala:
2 Musa yekka asemberere Mukama; naye bo baleme okuse mbera so abantu baleme okulinnya awamu naye.
3 Musa n'ajja n'agamba abantu ebigambo byonna ebya Mukama, n'emisango gyonna: abantu bonna ne baddamu n'eddoboozi limu, ne boogera nti Ebigambo byonna Mukama by'ayogedde tulibikoia.
4 Musa n'awandiika ebigambo byonna ebya Mukama, n'agolokoka enkya mu makya, n'azimba ekyoto wansi w'olusozi, n'empagi kkumi na bbiri, ng'ebika ekkumi n'ebibiri ebya Isiraeri.
5 N'atuma abavubuka ab'abaana ba Isiraeri, ne bookya ebyokwokya, ne bawaayo ebiweebwayo olw'emirembe eby'ente eri Mukama.
6 Musa n'atwala ekitundu ky'omusaayi, n'akifuka mu bibya; n'ekitundu ky'omusaayi, n'akimansira ku kyoto.
7 N'atoola ekitabo eky'endagaano, n'asoma mu matu g'abantu: ne boogera nti Byonna Mukama by'ayogedde tulibikola, era tuliwulira.
8 Musa n'atoolomusaayi, n'agumansira ku bantu, n'ayogera nti Laba omusaayi ogw'endagaano, Mukama gy'alagaanye nammwe mu bigambo bino byonna.
9 Musa n'alyoka alinnya, ne Alooni, Nadabu, ne Abiku, n'ensanvu ey'abakadde ba Isiraeri:
10 ne balaba Katonda wa Isiraeri; ne wansi w'ebigere bye ne waba ng'omulimu ogw'amayinja amaaliire aga safiro, agafaanana ng'eggulu lyennyini okutangaala.
11 So ku bakungu b'abaana ba Isiraeri n'atateekako mukono gwe: ne bamulaba Katonda, ne balya ne banywa:
12 Mukama n'agamba Musa nti Linnya gye ndi ku lusozi, obeereyo : nange ndikuwa ebipande by'amayinja, n'amateeka n'ekiragiro, bye mpandiise, obiyigirize.
13 Musa n'agolokoka ne Yoswa omuweereza we: Musa n'alinnya ku lusozi lwa Katonda.
14 N'agamba abakadde nti Mutulindirire wano, okutuusa lwe tulibajjira nate: ne Alooni ne Kuuli, laba, bali wamu nammwe: buli alina ensonga, asemberere bo.
15 Musa n'alinnya ku lusozi, ekire ne kibikka olusozi.
16 Ekitiibwa kya Mukama ne kibeera ku lusozi Sinaayi, ekire ne kirubikkira ennaku mukaaga: ku lunaku olw'omusanvu n'ayita Musa ng'ayima wakati w'ekire.
17 Ekifaananyi ky'ekitiibwa kya Mukama ne kiba ng'omuliro ogwaka ku ntikko y'olusozi mu maaso g'abaana ba Isiraeri.
18 Musa n'ayingira wakati mu kire, n'alinnya ku lusozi: Musa n'amala ku lusozi ennaku amakumi ana emisana n'ekiro.