1 Katonda n'ayogera ebigambo bino byonna, ng'ayogera nti
2 Nze Mukama Katonda wo, eyakuggya mu nsi ey'e Misiri, mu nnyumba ey'obuddu.
3 Tobanga na bakatonda balala we ndi.
4 Teweekoleranga ekifaananyi ekyole, newakubadde ekifaananyi eky'ekintu kyonna kyonna, ekiri waggulu mu ggulu, newakubadde ekiri wansi ku ttaka, newakubadde ekiri mu mazzi agali wansi w'ettaka:
5 tobivuunamiranga ebyo, so tobiweerezanga: kubanga nze Mukama Katonda wo ndi Katonda wa buggya, abiwalana ku baana ebibi bya bajjajja baabwe okutuusa ku mirembe egy'oku bannakasatwe ne ku bannakana, egy'abantu abankyawa;
6 era addiramu abantu nga nkumi na nkumi abanjagala, abakwata amateeka gange:
7 Tolayiriranga bwereere erinnya lya Mukama Katonda wo: kubanga mu maaso ga Mukama omusango gulimusinga omuntu alayirira obwereere erinnya lye.
8 Jjukira olunaku olwa ssabbiiti, okulutukuzanga.
9 Ennaku omukaaga okolanga emirimu gyo gyonna:
10 naye olunaku olw'omusanvu ye ssabbiiti eri Mukama Katonda wo: olunaku olwo tolukolerangamu mirimu gyonna gyonna; so naawe wekka, newakubadde omwana wo omulenzi, newakubadde muwala wo, newakubadde omuddu wo, newakubadde omuzaana wo, newakubadde ebisolo byo, newakubadde munnaggwanga ali omumwo:
11 kubanga mu nnaku omukaaga Mukama mwe yakolera eggulu n'ensi, ennyanja, n'ebintu byonna ebirimu, n'awummulira ku lunaku olw'omusanvu: Mukama kyeyava aluwa omukisa olunaku olwa ssabbiiti, n'alutukuza.
12 Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa: enaku zo zibe nnyingi ku nsi gy'akuwadde Mukama Katonda wo.
13 Tottanga.
14 Toyendanga.
15 Tobbanga.
16 Towaayirizanga muntu munno:
17 Teweegombanga ennyumba ya muntu munno, teweegombanga mukazi wa muntu munno, newakubadde omuddu we, newakubadde omuzaana we, newakubadde ente ye, newakubadde endogoyi ye, newakubadde buli kintu ekya muntu munno.
18 Abantu bonna ne balaba okubwatuka, n'enjota, n'eddoboozi ly'eŋŋombe, n'olusozi nga lunyooka omukka: abantu bwe baalaba ne bakankana, ne bayimirira wala,
19 Ne bagamba Musa nti Ggwe yogera naffe, lwe tunaawulira: naye Katonda aleme okwogera naffe, tuleme okufa.
20 Musa n'agamba abantu nti Temutya: kubanga Katonda azze okubakema, era entiisa ye ebeere mu maaso gammwe, muleme okwonoona.
21 Abantu ne bayimirira wala, Musa n'asemberera ekizikiza ekikutte Katonda gy'ali.
22 Mukama n'agamba Musa nti Bw'otyo bw'ogamba abaana ba Isiraeri nti Mmwe mulabye nga nnyimye mu ggulu okwogera nammwe.
23 Temukolanga bakatonda balala we ndi, bakatonda b'effeeza, newakubadde bakatonda b'ezzaabu, temubeekoleranga.
24 Ekyoto eky'ettaka onkolere, osseeko ebyo by'owaayo ebyokebwa n'ebyo by'owaayo olw'emirembe, endiga zo n'ente zo: buli wantu we njijukirizanga erinnya lyange ndijja gy'oli nange ndikuwa omukisa.
25 Era bw'olinkolera ekyoto eky'amayinja, tokizimbyanga mayinja agatemebwa: kubanga bw'olikiyimusaako ekyuma kyo, ng'okireetedde obugwagwa.
26 So tolinnyanga ku kyoto kyange ku madaala, oleme okukunamirako.