1 Musa n'abaana ba Isiraeri ne balyoka bamuyimbira Mukama oluyimba luno ne boogera nti Ndimuyimbira Mukama, kubanga yawangulidde ddala: Embalaasi n'omwebagazi waayo yabisudde mu nnyanga.
2 Mukama ge maanyi gange, era lwe luyimba lwange, Anfuukidde obulokozi bwange: Ono ye Katonda wange, nange ndimutendereza; Ye Katonda wa kitange, nange ndimugulumiza.
3 Mukama ye muzira okulwana: Mukama lye linnya lye,
4 Amagaali ga Falaawo n'eggye lye yabisudde mu nnyanja: N'abakungu be be yalonda basaanyeewo mu Nnyanja Emmyufu.
5 Obuziba bubasaanikidde: Basse mu buziba ng'ejjinja.
6 Omukono gwo ogwa ddyo, Mukama, gulina ekitiibwa mu maanyi, Omukono gwo ogwa ddyo, Mukama, gubetenta omulabe.
7 Era mu bukulu obw'okusinga kwo obasuula abakulumba: Otuma obusuugu bwo, ne bubasiriiza ng'ebisasiro.
8 Era n'omukka ogw'omu nnyindo zo amazzi gaalinnyisibwa. Ebitaba ne biyimirira entuumo; Obuziba ne bukwata mu mutima ogw'ennyanja.
9 Omulabe n'ayogera nti Naagoberera, naatuuka, naagerel:a omunyago: Okwegom.ba kwange kunakkusibsva kti bo; Naasowola ekitala kyange, omukono gwange gulibazikiriza.
10 Wakunsa omuyaga gwo, ennyanja n'ebasaanikira: Baasaanawo nga lisasi mu mazzi ag'amaanyi.
11 Ani afaanana nga ggwe, Mukama, mu bakatonda? Ani afaanana nga ggwe alina ekitiibwa mu butukuw, Ow'entiisa mu kutenderezebwa, akola amagero?
12 Wagolola omukono gwo ogwa ddyo, Ensi n'ebamira.
13 Ggwe mu kisa kyo wabakulembera abantu be wanunula: N'obaleeta mu maanyi go okutuuka mu kifo kyo ekitukuvu.
14 Amawaaga gaawulira, ne gakankana: Obulumi bwabakwata abatuula mu Bufirisuuti.
15 Abakungu ab'omu Edomu ne balyoka beewuunya; Ab'amaanyi ab'omu Mowaabu, okukankana kubakwata: Abatuula mu Bukanani bonna bayenjebuka.
16 Okutekemuka n'entiisa bibaguddeko; Mu bukulu obw'omukono gwo batudde ng'ejjinja; Okutuusa abantu bo lwe balisomoka, Mukama, Okutuusa abantu lwe balisomoka be weefunira.
17 Olibayingiza, olibasimba ku lusozi olw'obusika bwo, Ekifo kye weerongooseza, Mukama, okutuula omwo, Awatukuvu wo, Mukama, emikono gyo we gyanyweza.
18 Mukama alifuga emirembe n'emirembe.
19 Kubanga embalaasi za Falaawo ne ziyingira wamu n'amagaali ge n'abeebagala mu nnyanja, Mukama n'azzaawo amazzi ag'omu nnyanja ku bo; naye abaana ba Isiraeri ne batambula ku lukalu wakati mu nnyanja.
20 Miryamu, nabbi, mwannyina Alooni, n'atwala ensaasi mu mukono gwe; abakazi bonna ne bafuluma ne bamugoberera nga balina ensaasi nga bazina.
21 Miryamu n'abaddamu nti Mumuyimbire Mukama, kubanga yawangulidde ddala; Embalaasi n'omwebagazi waayo yabisudde mu nnyanja.
22 Musa n'atambuza Isiraeri okuva ku Nnyanja Emmyufu, ne bavaamu ne batuuka mu ddungu lya Ssuuli; ne bagenda ennaku ssatu mu ddungu ne batalaba mazzi.
23 Bwe baatuuka e Mala, ne batayinza kunywa ku mazzi ge Mala, kubanga gaali gakaawa : kyekyava kiyitibwa erinnya lyakyo Mala.
24 Abantu ne bamwemulugunyiza Musa, nga boogera nti Tunaanywa ki?
25 N'akaabira Mukama; Mukama n'amulaga omuti, n'agusuula mu mazzi, amazzi ne gafuuka amalungi. Awo we yabalagirira etteeka n'e mpisa, n'abakemera awo;
26 n'ayogera nti Oba nga oliwulira nnyo eddoboozi lya Mukama Katonda wo, n'okola obutuukirivu mu maaso ge, n'owulira amateeka ge, n'okwata by'alagira byonna, sirikuteekako ggwe endwadde zonna ze nnateeka ku Bamisiri: kubanga nze Mukama akuwonya.
27 Ne batuuka Erimu, awali ensulo z'amazzi ekkumi n'ebbiri, n'enkindu ensanvu: ne basula awo awali amazzi.