1 Mukama n'agamba Musa nti
2 Laba, mpise erinnya Bezaaleeri omwana wa Uli, omwana wa Kuuli, ow'omu kika kya Yuda:
3 era mmujjuzizza omwoyo gwa Katonda, mu magezi, ne mu kutegeera, ne mu kumanya, ne mu buli ngeri ya kukola,
4 okulowooza emirimu egy'amagezi, okukola ne zaabu, ne ffeeza, n'ekikomo,
5 ne mu kusala amayinja ag'okussaamu, ne mu kwola emiti, okukola mu buli ngeri ya kukola.
6 Nange, laba, nteeseewo wamu naye Okoliyaabu, omwana wa Akisamaki, ow'omu kika kya Ddaani; ne mu mitima gyabwe bonna abalina emitima egy'amagezi ngitaddemu amagezi bakole byonna bye nkulagidde:
7 eweema ey'okusisinkanirangamu, ne ssanduuko ey'obujulirwa, n'entebe ey'okusaasira egiriko, n'ebintu byonna eby'omu weema;
8 n'emmeeza n'ebintu byayo, n'ekikondo ekirungi n'ebintu byakyo byonna, n'ekyoto eky'okwoterezangako;
9 n'ekyoto eky'okwokerangako n'ebintu byakyo byonna, n'ekinaabirwamu n'entobo yaakyo;
10 n'ebyambalo ebikolebwa obulungi, n'ebyambalo ebitukuvu ebya Alooni kabona, n'ebyambalo eby'abaana be, okuweerereza mu bwakabona;
11 n'amafuta ag'okufukibwangako, n'ekyokwoteza eky'ebyakaloosa ebiwoomerevu ekya watukuvu: nga byonna bye nkulagidde, bwe balikola bwe batyo.
12 Mukama n'agamba Musa nti
13 Era buulira abaana ba Isiraeri nti Mazima mukwatanga ssabbiiti zange: kubanga ke kabonero wakati wange nammwe mu mirembe gyammwe gyonna; mulyoke mumanye nga nze Mukama abatukuza.
14 Kyemunaavanga mukwata ssabbiiti; kubanga lwe lutukuvu gye muli: buli anaalusobyanga talemanga kuttibwa: kubanga buli anaalukolerangako emirimu gyonna, omwoyo ogwo gunaazikirizibwanga mu bantu be.
15 Ennaku mukaaga emirimu gikolebwenga; naye ku lunaku olw'omusanvu wabangawo ssabbiiti olw'okuwummula okutukuvu, eri Mukama: buli anaakoleranga emirimu gyonna ku ssabbiiti, talemanga kuttibwa.
16 Abaana ba Isiraeri kyebanaavanga bakwata ssabbiiti, okwekuumanga ssabbiiti mu mirembe gyabwe gyonna, okuba endagaano etaliggwaawo.
17 Ke kabonero wakati wange n'abaana ba Isiraeri ennaku zonna: kubanga mu nnaku mukaaga Mukama yakola eggulu n'ensi, ne ku lunaku olw'omusanvu n'awummula, n'aweera.
18 Bwe yamala okwogera naye ku lusozi, Sinaayi, n'awa Musa ebipande bibiri eby'obujulirwa, ebipande eby'amayinja, ebyawandiikibwako n'engalo ya Katonda.