1 Awo Musa yali ng'alunda ekisibo kya Yesero mukoddomi we, kabona w’e Midiyaani: n'atwala ekisibo ennyuma w'eddungu n'atuuka ku lusozi lwa Katonda Kolebu.
2 Malayika wa Mukama n'amulabikira mu lulimi lw'omuliro okuva wakati w'ekisaka: n'atunuulira, laba, ekisaka ekyo ne kyaka omuliro ekisaka ne kitasiriira.
3 Musa n'ayogera nti Ka nneekooloobye kaaka'ti, ndabe ekigambo kino ekikulu, ekisaka kyekivudde kirema okusiriira.
4 Mukama bwe yalaba nga yeekooloobezza okulaba, Katonda n'amuyita ng'ayima wakati w'ekisaka n'ayogera nti Musa, Musa. N'ayitaba nti Nze nzuuno.
5 N'ayogera nti Tosembera wano: ggyamu engatto zo mu bigere byo, kubanga ekifo ky'oyimiriddemu ye ensi entukuvu.
6 N'ayogera nate nti Nze ndi Katonda wa kitaawo, Katonda wa Ibulayimu, Katonda wa Isaaka, era Katonda wa Yakobo. Musa n'akweka amaaso ge: kubanga yatya okumutunuulira Katonda.
7 Mukama n'ayogera nti Ndabidde ddala okubonaabona okw'abantu bange abali mu Misiri, ne mpulira okukaaba kwabwe ku Iw'abo ababakoza; kubanga mmanyi ennaku zaabwe;
8 era nzise okubawonya mu mukono ogw'Abamisiri, okubalinnyisa okuva mu nsi eri bayingire mu nsi ennungi engazi, mu nsi ejjudde amata n'omubisi gw'enjuki; mu kifo eky'omu Kanani, n'eky'omu Kiiti, n'eky'omu Amoli, n'eky'omu Perizi, n'eky'omu Kiivi, n'eky'omu Yebusi.
9 Kale laba, okukaaba okw'abaana ba Isiraeri kutuuse gye ndi: nate ndabye okubonaabona kwe baababonyaabonya Abamisiri.
10 Kale nno jjangu, naakutuma eri Falaawo. obaggyeyo abantu bange abaana ba Isiraeri mu Misiri.
11 Musa n'agamba Katonda nti Nze ani agenda eri Falaawo mbaggyeyo abaana ba Isiraeri mu Misiri?
12 N'ayogera nti Mazima ndibeera wamu naawe; era kano kalikubeerera akabonero, nga nze nkurumye: bw'olimala okuggya abantu abo mu Misiri, muliweerereza Katonda ku lusozi luno.
13 Musa n'agamba Katonda nti Laba, bwe ndigenda nze eri abaana ba Isiraeri, ne mbagamba nti Katonda wa bajjajja bammwe yantumye eri mmwe; nabo balyogera nti Erinnya lye ye ani? ndibagamba ntya?
14 Katonda n'agamba Musa nti NINGA BWE NDI: n'ayogera nti Bw'otyo bw'olibagamba abaana ba Isiraeri nti NDI ye antumye eri mmwe.
15 Katonda n'agamba nate Musa nti Bw'otyo bw'olibagamba abaana ba Isiraeri nti Mukama Katonda wa bajjajja bammwe, Katonda wa Ibulayimu, Katonda wa Isaaka, era Katonda wa Yakobo ye antumye eri mmwe: eryo lye linnya lyange ebiro ebitaggwaawo, n'ekyo kye kijjukizo kyange emirembe gyonna.
16 Genda okuŋŋaanye abakadde ba Isiraeri awamu, obagambe nti Mukama Katonda wa bajjajja bammwe, Katonda wa Ibulayimu, owa Isaaka, era owa Yakobo, yandabikidde ng'ayogera nti Mbajjiridde ddala, ndabye bye mukolebwa mu Misiri:
17 ne njogera nti Ndibalinnyisa okubaggya mu kibonoobono eky'e Misiri okuyingira mu nsi ey'Omukanani, n'Omukiiti n'Omwamoli, n'Omuperizi, n'Omukiivi, n'Omuyebusi, mu nsi ejjudde amata n'omubisi gw'enjuki.
18 Balikuwulira eddoboozi lyo: olijja, ggwe n'abakadde ba Isiraeri, eri kabaka w'e Misiri, mulimugamba nti Mukama, Katonda wa Baebbulaniya, yatujjira: kale nno, otulagire, tukwegayiridde, tugende olugendo olw'ennaku ssatu mu ddungu, tuweeyo saddaaka eri Mukama Katonda waffe.
19 Era mmanyi nti kabaka w'e Misiri talibalagira kugenda, weewaawoeran'omukono ogw'amaanyi.
20 Nange ndigolola omukono gwange, ne nkuba Misiri n'amagero gange gonna ge ndikola wakati waayo: oluvannyuma lwago balagira.
21 Era ndibawa abantu abo okwagalibwa mu maaso g'Abamisiri: awo lwe mulivaayo, temulivaayo bwereere:
22 naye buli mukazi alisaba muliraanwa we n'oli abeera mu nnyumba ye, ebintu ebya ffeeza n'ebintu ebya zaabu n'engoye: mulibiteeka ku batabani bammwe n'abawala bammwe; mulinyaga Abamisiri.