1 Mukama n'agamba nti Laba, nkufudde Kato: Falaawo: era Alooni mugandawo alibeera nabbi wo.
2 Olyogera kye nkulagira: ne Alooni mugandawo aligamba Falaawo, aleke ba Isiraeri bave mu Misiri
3 Nange ndikakanyaza gwa Falaawo, ne nnyongeza obubonero bwange n'amagero mu nsi y'e Misiri.
4 Naye Falaawo talibawulira, nange nditeekako omukono gwange ku Misiri ne nfulumya eggye lyange, abantu abaana ba Isiraeri, mu nsi y’e Misiri, n'emisango eminene.
5 N’abo Abamisiri balimanya nga nze Mukama, bwe ndigolola omukono gwange ku Misiri, ne mbaggyayo abaana ba Isiraeri mu bo.
6 Musa ne Alooni ne bakola bwe batyo; Mukama nga bwe yabalagira: batyo bwe baakola.
7 Ne Musa yali nga yaakamala emyaka: ne Alooni nga yaakamala kinaana mu esatu, bwe banne Falaawo.
8 Mukama nagamba Musa ne Alooni ngayogera nti
9 Falaawo bwalibagamba ng’ayogera nti Mwerotera ekitalo: nolyoka ogamba Aloni nti Twala omuggo gwo ogusuule wansi mu maaso ga Falaawo, gube omusota.
10 Musa ne Alooni nebayingira ewa Falaawo, ne bakola bwe batyo nga Mukama, bweyalagira: Aloni n’asuula omuggo gwe wansi mu maaso go Falaawo no mu maso g’abaddube, ne guba omusota.
11 Falaawo naye nalyoka ayita abagezi n’abalogo: era nabo abasawo Abamisiri nebakola bwe batya n’amagezi gaabwe ag’ekyama.
12 Kubanga basuula buli muntu omuggo gwe negiba emisota naye omuggo gwa Alooni negumira emiggo gyabwe.
13 Falaawo omutima gwe negukakanyala, natabawulira; nga Mukama bweyayogera.
14 Mukama managamba Mnsa nti Falaawo omutima gwe guzitowa, agana okubaleka abantu,
15 Ogenda eri Falaawo enkya; laba, afuluma okugenda ku mugga; naawe oliyimirira ku mabbali g’omugga okumusisiukana; n’omuggo ogwafuuka omusota oligutwala mu mukono gwo.
16 Nomagamba nti Mukama, Katonda wa Beebulaniya, y’antumye gy’oli ng’ayogera nti Leka abantu bange, bampeerereze mn ddungu: era, laba, okutuusa kaakano towulira.
17 Bw’atyo Mukama bwayogera nti Ku kino kw’olimannyira nga nze Mukama: laba, ndikuba n’omuggo oguli mu mukono gwange ku mazzi agali mu mugga, galifuka omusaayi.
18 N’eby’omu mugga birifa, omugga guliwunya: Abamisiri amazzi ag’omu mugga galibatama okunywako.
19 Mukama n’agamba Musa nti Gamba Alooni nti Twaala omuggo gwo ogolole omnkono gwo ku mazzi g’e Misiri, ku migga gyabwe, kn nsalosalo zaabwe, ne ku bidiba byabwe, ne kn nnyanja zaabwe zonna ez’amazzi, gafuke omusaayi; era mulibeera omusaayi mu nsi yonna ey’e Misiri, mu ntiba ez’omuti ne mu nsuwn ez’amayinja.
20 Musa ne Alooni ne bakola bwe batyo nga Mukama bweyalagira; n’ayimusa omuggo, n’akuba amazzi agali mu migga, ma maaso ga Falaawo ne mu maaso g’abaddu be amazzi gonna agali ma mugga negafuuka omusaayi.
21 N’eby’omu muagga ne bifa; omugga ne guwunya. Abamisiri ne batayinza kunywa amazzi mu mugga; omusaayi ne gubeera mu nsi yonna ey’e Misiri.
22 Ne bakola bwe batyo abasawo Abamisiri mu magezi gaabwe ag’ekyama; Falaawo omutima gwe ne gukakanyala, natabawulira; nga Mukama bweyayogera.
23 Falaawo n’akyuka n’agenda mu nnyumba ye.
24 Abamisiri bonna ne basima, kumpi n’omugga bafune amazzi ag’okunywa; kubanga amazzi ag’omu mugga nga tebayinza ku ganywako.
25 Ennaku musanvu ne zituukirira, Mukama ng’amaze okukuba amugga.