1 Era weesembereze gy'oli Alooni muganda wo, n'abaana be wamu naye, mu baana ba Isiraeri, ampeereze mu bwakabona, Alooni, Nadabu, ne Abiku, Eriyazaali ne Isamaali, abaana ba Alooni.
2 Era olimukolera Alooni muganda wo ebyambalo ebitukuw olw'ekitiibwa n'olw'obulungi.
3 Era olibagamba bonna abalina omutima ogw'amagezi, be nnajjuza omwoyo ogw'amagezi, bakole ebyambalo ebya Alooni okumutukuza, ampeereze mu bwa kabona.
4 Bino bye byambalo bye balikola; eky'omu kifuba, n'ekkanzu, n'omunagiro, n'ekizibawo eky'akatimba, ekiremba, n'olukoba: era balibakolera ebyambalo ebitukuvu Alooni muganda wo, n'abaana be, ampeereze mu bwakabona.
5 Era balitwala ezaabu eyo, ne kaniki, n'olugoye olw'effulungu,n'olumyufu,nebafuta.
6 Era balikola ekkanzu ne zaabu, ne kaniki, n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne bafuta erangiddwa, omulimu gw'omukozi ow'amagezi.
7 Eribeerako eby'oku bibegabega bibiri ebigattiddwa ku nkomerero zaayo ebbiri; egattibwe wamu.
8 N'olukoba olulangiddwa n'amagezi, oluli ku yo okugisiba, lulyenkanankana n'omulimu gwayo, lwa lugoye lumu; olwa zaabu, olwa kaniki, n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne bafuta erangiddwa.
9 Era olitwala amayinja abiri aga onuku, n'oyolako amannya g'abaana ba Isiraeri:
10 amannya gaabwe mukaaga ku jjinja erimu, n'amannya gaabwe mukaaga abasigaddeyo ku jjinja ery'okubiri, nga bwe bazaaiibwa.
11 Mu mulimu gw'omusazi w'amayinja, ng'okuyola okw'oku kabonero, bw'olyola amayinja abiri, ng'amannya g'abaana ba Isiraeri: oligeetoolooza amapeesa aga zaabu.
12 Era oliteeka amayinja abiri ku by'oku bibegabega eby'ekkanzu, okuba amayinja ag'okujjukiza eri abaana ba Isiraeri: era Alooni alisitula amannya gaabwe mu maaso ga Mukama ku bibegabega bye ebibiri ng'ekijjukizo.
13 Era olikola amapeesa aga zaabu:
14 n'emikuufu ebiri egya zaabu ennungi; ng'emigwa bw'oligikola, mu mulimu ogulangibwa: era olisiba emikuufu egirangiddwa ku mapeesa.
15 Era olikola eky'omu kifuba eky'omusango, omulimu ogw'omukozi ow'amagezi: ng'omulimu ogw'ekkanzu bw'olikikola; ekya zaabu, ekya kaniki, n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne bafuta erangiddwa, bw'olikikola.
16 Kiryenkanankana enjuyi zonna, ekifunyemu; kiribeera luta obuwanvu bwakyo, n'oluta obugazi bwakyo.
17 Era olikitonamu amayinja ag'okutona, ennyiriri nnya ez'amayinja: olunnyiriri olwa sadio, topazi, ne kabunkulo lwe lulibeera olunnyiriri olw'olubereberye;
18 n'olunnyiriri olw'okubiri lya nawandagala, safiro, ne alimasi;
19 n'olunnyiriri olw'okusatu yakinso, ne sebu, ne amesusito;
20 n'olunnyiriri olw'okuna berulo, ne onuku, ne yasipero: galyetooloozebwa zaabu we gaato nebwa.
21 N'amayinja galibeera ng'amannya g'abaana ba Isiraeri; ekkumi n'abiri, ng'amannya gaabwe; ng'okuyola okw'oku kabonero, buli muntu ng'erinnya lye, galibibeerera ebika ekkumi n'ebibiri.
22 Era olikola ku kyomukifuba emikuufu ng'emigwa, egy'omulimu ogulangibwa ogwa zaabu ennungi.
23 Era olikola ku kyomukifuba empeta bbiri eza zaabu, n'oziteeka empeeta ebbiri ku nsonda ebbiri ez'ekyomukifuba.
24 Era oliteeka emikuufu ebiri egirangibwa egya zaabu ku mpeta ebbiri ku nsonda ez'ekyomukifuba.
25 N'enkomerero ebbiri endala ez'emikuufu egirangibwa ebbiri oliziteeka ku mapeesa abiri, n'ogateeka ku by'okubibegabega eby'ekkanzu, ku luuyi lwayo olw'omu maaso.
26 Era olikola empeta bbiri eza zaabu, n'oziteeka ku nsonda zombi ez'ekyomukifuba; ku mabbali gaakyo agali ku luuyi olw'ekkanzu inunda.
27 Era olikola empeta bbiri eza zaabu, noziteeka ku by'oku bibegabega ebibiri eby'ekkanzu wansinsi, ku luuyi lwayo olw'omu maaso, kumpi n'olukindo lwayo, waggulu w'olukoba olw'ekkanzu olulangibwa n'amagezi.
28 Era balisiba eky'omukifuba n'empeta zaakyo n'empeta ez'ekkanzu n'akagoye aka kaniki, kibeere ku lukoba olw'ekkanzu olulangibwa n'amagezi, era ekyomukifuba kireme okusumululwanga ku kkanzu.
29 Era Alooni anaasituliranga amannya g'abaana ba Isiraeri mu kyomuikifuba eky'omusango ku mutima gwe, bw'anaayingiranga mu watukuvu, olw'okujjukiza mu maaso ga Mukama ennaku zonna.
30 Era oliteeka mu kyomukifuba eky'omusango limu ne Suminu; era binaabanga ku mutima gwa Alooni, bw'anaayingiranga mu maaso ga Mukama: ne Alooni anaasituliranga omusango gw'abaana ba Isiraeri ku mutima gwe mu maaso ga Mukama ennaku zonna.
31 Era olikola omunagiro ogw'omu kkanzu gwonna gwa kaniki.
32 Era gulibeera n'ekituli wakati waagwo eky'omutwe: gulibeera n'olukugiro olw'omulimu ogulangibwa okwetooloola ekituli kyagwo, ng'ekituii eky'ekizibawo eky'ekyuma, guleme okuyuzibwa.
33 Era ku birenge byagwo olikolako amakomamawanga aga kaniki, n'ag'effulungu, n'ag'olumyufu, okwetooloola ebirenge byagwo; n'endege eza zaabu wakati waago okwetooloola:
34 endege eya zaabu n'ekkomamawanga, endege eya zaabu n'ekkomamawanga, ku birenge eby'omunagiro okwetooloola.
35 Era gunaabanga ku Alooni okuweererezaamu: n'eddoboozi lyagwo linaawulirwanga bw'anaayingiranga mu watukuvu mu maaso ga Mukama, era bw'anaafulumanga, aleme okufa.
36 Era olikola akapande aka zaabu ennungi, n'oyolako, ng'enjola ez'akabonero, nti OMUTUKUVU ERI MUKAMA.
37 N'okateeka ku kagoye aka kaniki, era kanaabeeranga ku kiremba; ku luuyi olw'omu maaso olw'ekiremba kwe kanaabeeranga.
38 Era kanaabeeranga ku kyenyi kya Alooni, ne Alooni anaasitulanga obubi bw'ebitukuvu, abaana ba Isiraeri bye banaatukuzanga mu birabo byabwe byonna ebitukuvu; era kanaabeeranga ku kyenyi kye ennaku zonna, balyoke bakkirizibwe mu maaso ga Mukama.
39 Era oliruka ekizibawo eky'akatimba ekya bafuta ennungi, era olikola ekiremba ekya bafuta ennungi, era olikola olukoba, omulimu ogw'omudaliza.
40 Era abaana ba Alooni olibakolera ebizibawo, era olibakolera enkoba, n'obakolera n'enkufiira, olw'ekitiibwa n'olw'obulungi.
41 N'obiteeka ku Alooni muganda wo, ne ku baana be awamu naye; n'obafukako amafuta, n'ojjuza emikono gyabwe, n'obatukuza, balyoke bampeerezenga mu bwakabona.
42 Era olibakolera seruwale za lugoye okubikka ku mubiri ogw'obwereere bwabwe; ziriva mu kiwato okukoma mu bisambi:
43 era zinaabeeranga ku Alooni, ne ku baana be, bwe banaayingiranga mu weema ey'okusisinkanirangamu, oba bwe banaasembereranga ekyoto okuweereza mu watukuvu; baleme okusitula obubi, n'okufa: kinaabeeranga kiragiro emirembe gyonna eri ye n'eri ezzadde lye eririmuddirira.