1 Omuntu bw'abbanga ente, oba endiga, n'amala agitta oba kugitunda; azzangawo ente ttaano olw'ente, n'endiga nnya olw'endiga.
2 Omubbi bw'alabibwanga ng'asima n'akubibwa n'amala afa, tewabanga musango gwa musaayi ku lulwe.
3 Oba enjuba bw'eba ng'evuddeyo ku ye, wabanga omusango ogw'omusaayi ku lulwe: kimugwanidde okuliwa; oba nga talina kintu, atundibwanga olw'okubba kwe.
4 Kye yabba bwe kirabikanga mu mukono gwe nga kikyali kiramu, oba nte, oba ndogoyi, oba ndiga; azzangawo bbiri.
5 Omuntu bw'aliisanga olusuku oba nnimiro y'emizabbibu, bw'agirelanga ensolo ye n'erya ku lusuku olw'omuntu omulala; aliwanga ku by'olusuku lwe ebisinga, ne ku by'ennimiro ye ey'emizabbibu ebisinga.
6 Omuliro bwe gwakanga ne gulinnya mu maggwa, emitwalo gy'eŋŋaano oba eŋŋaano ng'ekyamera oba nnimiro ne bimala bisiriira; akumanga omuliro, talemanga kuliwa.
7 Omuntu bw'ateresanga munne effeeza oba bintu, ne bamala babi bbiramu nnyumba ye; omubbi bw'anaalabikanga aliwanga emirundi ebiri.
8 Omubbi bw'atalabikanga, nannyini nnyumba asembereranga Katonda, okulaba oba nga teyateeka mukono gwe ku bintu bya munne.
9 Kubanga buli kigambo eky'okwonoona, oba olw'ente, oba olw'endogoyi, oba olw'endiga, oba olw'engoye, oba olwa buli kibuze, omuntu ky'ayogerako nti Kye kino, ensonga ey'abo bombi ereetwanga eri Katonda; oli Katonda gw'asaliranga omusango aliwanga emirundi ebiri.
10 Omuntu bw'ateresanga munne endogoyi, oba nte, ndiga, oba nsolo yonna; nayo n'emala efa, oba kufaafaagana, oba okugobebwa nga tewali muntu alaba:
11 ekirayiro kya Mukama kibeeranga wakati waabwe bombi, nga teyateeka mukono gwe ku bintu bya munne; nannyiniyo akikkirizanga, so tali wanga.
12 Naye bw'ebbibwanga ku ye, amuliyiranga nannyiniyo.
13 Bw'etaagulwataagulwanga, agireetanga ebe omujulirwa; tamuliyiranga olw'etaaguddwa.
14 Era omuntu bw'asabanga ekintu eri munne, ne kyonooneka, oba ne kifa, nga taliiwo nannyinikyo, talemanga kumuliyira.
15 Nannyinikyo bw'abangawo, tamuliyiranga: bwe kibanga eky'empeera, nga kyajja lwa mpeera yaakyo olw'okupangisa.
16 Era omuntu bw'asendasendanga omuwala omuto atannayogerezebwa n'amala amwonoona, talemanga kuliwa bintu eby'obuko ku lulwe alyoke abeere mukazi we.
17 Kitaawe bw'agaaniranga ddala okumumuwa, aliwanga ku muwendo ogw'okwogereza abawala abato.
18 Omukazi omulogo tomulekanga mulamu.
19 Buli asulanga n'ensolo, talemanga kuttibwa.
20 Awangayo ssaddaaka eri katonda yenna, wabula eri Mukama yekka, azikirizibwanga ddala.
21 Era munnaggwanga tomwonoonanga, so tomukolanga bubi: kubanga mwali bannaggwanga mu nsi ey'e Misiri.
22 Buli nnamwandu ne mulekwa temubabonyaabonyanga.
23 Bw'onoobabonyaabonya nga n'akatono, bwe banankaabiranga nze, siiremenga kuwy,lira kukaba a kwabwe;
24 era obusungu bwange bulyaka nnyo, nange naabattanga n'ekitala; ne bakazi bammwe baliba bannamwandu, n'abaana bammwe bamulekwa.
25 Bw'owolanga buli omu mu bantu bange ali naawe effeeza nga mwavu, tomubeereranga ng'omubanzi, so tomusaliranga magoba.
26 Bw'osingirwanga ekyambalo kya munno, omuddizangayo enjuba nga tennagwa:
27 kubanga ekyo kye kimubikka kyokka, kye kyambalo kye eky'omubiri gwe: aneebikka ki? awo, bw'anankaabiranga, naawuliranga; kubanga nnina ekisa.
28 Tovumanga Katonda, so tokolimiranga omukulu w'abantu bo.
29 Tolwanga kuwaayo ku bungi obw'ebibala byo n'envinnyo yo. Omubereberye mu baana bo omumpanga.
30 Bw'otyo bw'onoolcolanga era n'ente zo, n'endiga zo: ennaku musanvu ebeeranga ne nnyina waayo; ku lunaku olw'omunaana ogimpanga nze.
31 Era munaabanga abantu abatukuvu gye ndi: kyemunaavanga mulema okulya ku nnyama ensolo gye zisse mu nsiko; mugisuuliranga embwa.