Home |  | Audio |  | Index |  | Verses

Okuva Exodus

Chapter : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29 30 31 32 33 34 35 36 37 38 39 40
1 Era bw'olibakola bw'otyo okubatukuza, bampeereze mu bwakabona: otwale ente ennume ento n'endiga ennume bbiri ezitaliiko bulema
2 n'emigaati egitazimbulukuswa, n'obugaati obutazimbtilukuswa obutabuddwamu amafuta, n'emigaati egy'empewere egitazimbulukuswa egisiigiddwako amafuta: oligikola n'obutta obulungi obw'eŋŋaano.
3 Era oligiteeka mu kabbo kamu, oligireetera mu kabbo, awamu n'ente n'endiga ebbiri.
4 Ne Alooni n'abaana be olibaleeta ku mulyango ogw'eweema ey'okusisinkanirangamu, olibanaaza n'amazzi.
5 Era oliddira ebyambalo n'oyambaza Alooni ekizibawo, n'omunagiro ogw'ekkanzu, n'ekkanzu, n'ekyomukifuba, n'omusiba olukoba olw'ekkanzu olulukibwa n'a magezi:
6 era olissa ekiremba ku mutwe gwe, n'oteeka engule entukuvu ku kiremba.
7 N'olyoka otwala amafuta ag'okufukibwako, n'ogafuka ku mutwe gwe, n'omufu kira amafuta.
8 Era olireeta abaana be, n'obambaza ebizibawo.
9 Era olibasiba enkoba, Alooni n'abaana be, n'obassaako enkuufiira: era banaabeeranga n'obwakabona mu kiragiro ekitaliggwaawo: era olijjuza emikono gya Alooni n'abaana be
10 Era olireeta ente mu maaso g'eweema ey'okusisinkanirangamu: ne Alooni n'abaana be ne bassa engalo zaabwe ku mutwe gw'ente.
11 Era olisala ente mu maaso ga Mukama, ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu.
12 N'otwala ku musaayi gw'ente n'oguteeka ku mayembe g'ekyoto n'olunwe lwo; n'oyiwa omusaayi gwonna mu ntobo y'ekyoto.
13 Era olitwala amasavu gonna agabikka ebyenda, n'ekisenge ekiri ku kibumba, n'ensigo zombi, n'amasavu agaziriko, n'obyokera ku kyoto.
14 Naye ennyama y'ente, n'eddiba Iyayo, n'obusa bwayo, n'obyokera n'omuliro ebweru w'olusiisira: kye kiweebwayo olw'ebibi.
15 Era olitwala endiga emu; ne Alooni n'abaana be ne bassa engalo zaabwe ku mutwe gw'endiga.
16 Era oIisala endiga, n'otwala omusaayi gwayo, n'ogumansira ku kyoto okukyetooloola.
17 Era olitemaatema endiga mu bitundu byayo, n'onaaza ebyenda byayo, n'amagulu gaayo, n'obiteeka wamu'n'ebitundu byayo n'omutwe gwayo.
18 Era olyokera ku kyoto endiga ennamba: kye kiweebwayo ekyokebwa eri Mukama: lye wumbe eddungi, ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama.
19 Era olitwala endiga ey'okubiri; ne Alooni n'abaana be ne bassa engalo zaabwe ku mutwe gw'endiga.
20 N'olyoka osala endiga, n'otwala ku musaayi gwayo, n'oguteeka ku nsonda y'okutu okwa ddyo okwa Alooni, ne ku nsonda z'amatu aga ddyo ag'abaana be, ne ku binkumu eby'oku mikono gyabwe egya ddyo, ne ku bisajja eby'oku bigere byabwe ebya ddyo, n'omansira omusaayi ku kyoto okukyetooloola.
21 Era olitwala ku musaayi oguli ku kyoto, ne ku mafuta ag'okufukibwako, n'obimansira ku Alooni, ne ku byambalo bye, ne ku baana be, ne ku byambalo by'abaana be wamu naye : naye alitukuzibwa, n'ebyambalo bye, n'abaana be, b'ebyambalo by'abaana be wamu naye.
22 Era olitwala ku ndiga amasavu, n'omukira ogw'amasavu, n'amasavu agabikka ku byenda, n'ekisenge eky'aku kibumba, n'ensigo zombi, n'amasavu agaziriko, n'ekisambi ekya ddyo; kubanga ye adiga ey'okutukuza:
23 n'omugaati gumu, n'akagaati akasiigibwako amafuta kamu, n'omugaati ogw'oluwewere gumu, ng'oggya mu kabbo ak'emigaati egitazimbulukuswa akali mu maaso ga Mukama:
24 era olibissa byonna mu ngalo za Alooni, ne mu ngalo z'abaana be; n'obiwuuba okuba ekiweebwayo ekiwuubibwa mu maaso ga Mukama.
25 Era olibiggya mu ngalo zaabwe, n'obyokera ku kyoto ku kiweebwayo ekyokebwa, okuba ewumbe eddungi mu maaso ga Mukama: kye kiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama.
26 Era olitwala ekifuba ky'endiga ya Alooni ey'okutukuza, n'okiwuuba okuba ekiweebwayo ekiwuubibwa mu maaso ga Mukama : era ekyo kinaabanga mugabo gwo.
27 Era olitukuza ekifuba eky'ekiweebwayo ekiwuubibwa, n'ekisambi eky'ekiweebwayo ekisitulibwa, ekiwuubibwa era ekisitulibwa, eky'endiga ey'okutukuza, ye eyo eya Alooni, n'eyo ey'abaana be:
28 era eneebeeranga ya Alooni n'abaana be ng'ekinaagwaniranga abaana ba Isiraeri emirembe gyonna: kubanga kye kiweebwayo ekisitulibwa: era eneebeeranga ekiweebwayo ekisitulibwa abaana ba Isiraeri gye bawa mu ssaddaaka zaabwe ez'ebiweebwayo olw'emirembe, kye kiweebwayo kyabwe ekisitulibwa eri Mukama.
29 N'ebyambalo ebitukuvu ebya Alooni binaabeeranga bya baana be abalimuddirira, okubifukirwangamu amafuta, n'okubitukulizibwangamu.
30 Omwana alimuddirira okuba kabona anaabyambaliranga ennaku musanvu, bw'anaayingiranga mu weema ey'okusisinkanirangamu okuweereza mu kifo ekitukuvu.
31 Era olitwala endiga ey'okutukuza, n'ofumbira ennyama yaayo mu kifo ekitukuvu.
32 Ne Alooni n'abaana be balirya ennyama y'endiga n'emigaati egiri mu kabbo, mu mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu.
33 Era balirya ebiweereddwayo olw'okutangirira, okubatukuza n'okubalongoosa: naye munnaggwanga tabiryangako, kubanga bitukuvu.
34 Era bwe walisigalawo ku nnyama ey'okutukuza oba ku migaati okutuusa enkya, n'obyokya ebirisigalawo n'omuliro: tebiririibwa, kubanga bitukuvu.
35 Bw'olikola bw'otyo Alooni n'abaana be, nga byonna bye nkulagidde: olibatukuliza ennaku musanvu.
36 Era onoowangayo buli lunaku ente ey'ekiweebwayo olw'ekibi olw'okutangirira: era onoolongoosanga ekyoto, bw'onookikoleranga eky'okutangirira; era onookifukangako amafuta, okukitukuza.
37 Onookikoleranga ekyoto eky'okutangirira ennaku musanvu, n'okitukuzanga: era ekyoto kiribeera kitukuvu nnyo; buli ekinaakomanga ku kyoto kinaabanga kitukuvu.
38 Kale by'onoowangayo ku kyoto bye bino; abaana b'endiga babiri abaakamala omwaka ogumu buli lunaku obutayosa.
39 Enkya onoowangayo omwana gw'endiga ogumu; n'akawungeezi onoowangayo omwana gw'endiga ogw'okubiri:
40 era awamu n'omwana gw'endiga omulala onoowangayo ekitundu eky'ekkumi ekya efa eky'obutta obulungi obutabuddwamu ekitundu eky'okuna ekya yini eky'amafuta amakube; n'ekitundu eky'okuna ekya yini eky'envinnyo okuba ekiweebwayo eky'okunywa.
41 N'omwana gw'endiga omulala onoomuwangayo akawungeezi, era onoogukolanga nga bwe wakola ekiweebwayo eky'obutta eky'enkya, n'ekiweebwayo eky'okunywa eky'enkya, okuba ewumbe eddungi, ekiweebwayo ekikolebwa n'omutiro eri Mukama.
42 Kinaabeeranga ekiweebwayo ekyokebwa ekitaliggwaawo mu mirembe gyammwe gyonna mu mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu mu maaso ga Mukama: awo we nnaasisinkaniranga nammwe, okwogerera awo naawe.
43 Era awo we nnaasisinkaniranga n'abaana ba Isiraeri; n'eweema eritukuzibwa n'ekitiibwa kyange.
44 Era nditukuza eweema ey'okusisinkanirangamu, n'ekyoto: ne Alooni n'abaana be ndibatukuza, okumpeererezanga mu bwakabona.
45 Era naatuulanga mu baana ba Isiraeri, era naabeeranga Katonda waabwe.
46 Nabo banaategeeranga nga nze Mukama Katonda waabwe, eyabaggya mu nsi y'e Misiri, ndyoke ntuule mu bo: nze Mukama Katonda waabwe.

Top |  | Next Page  |  | Index |  | Home
Full online version here [with search engine, multilingual display and audio Bible]