1 Mukama n'abagamba Musa ne Alooni mu nsi ey'e Misiri, ng'ayogera nti Omwezi guno gulibabeerera ogw'olubereberye mu myezi: gulibabeerera omwezi ogw'olubereberye ogw'omwaka.
2 Omwezi guno gulibabeerera ogw'olubereberye mu myezi: gulibabeerera omwezi ogw'olubereberye ogw'omwaka.
3 Mugambe ekibiina kyonna ekya Isiraeri, nga mwogera nti Ku lunaku olw'ekkumi olw'omwezi guno balyetwalira buli muntu omwana gw'endiga, ng'ennyumba za bajjajja baabwe bwe ziri, omwana gw'endiga buli nnyumba:
4 era ennyumba bw'ebanga entono nga teemaleewo mwana gw'endiga, kale abeere ne muliraanwa we ali okumpi n'ennyumba ye bamutwale ng'omuwendo gw'emyoyo gy'abantu bwe guli; buli muntu nga bw'alya, mulibalibwa ku mwana gw'endiga.
5 Omwana gw'endiga gwammwe tegulibaako bulema, omusajja ogwakamala omwaka: muliguggya mu ndiga oba mu mbuzi:
6 muligutereka okutuusa olunaku olw'ekkumi n'ennya olw'omwezi guno: ekkurŋŋaaniro lyonna ery'ekibiina kya Isiraeri baligutta lwaggulo.
7 Era balitwala ku musaayi, baguteeke kumifuubeeto gyombi ne ku kabuno, mu nnyumba mwe baliguliira.
8 Awo balirya ennyama mu kiro kiri, ng'eyokebwa n'omuliro, n'emigaati egitali mizimbulukuse; baligiriira ku nva ezi,kaawa.
9 Temugiryangako mbisi, newakubadde enfumbe n'amazzi waIbula enjokye n'omuliro; omutwe gwayo n'ebigere byayo n'eby'omunda byayo.
10 Nammwe temugiirekangawo okutuusa enkya; naye erekebwako okutuusa enkya muligyokya n'omuliro. Era bwe mutyo bwe muligirya; nga mwesibye ebimyu, n'engatto nga ziri mu bigere byammwe, n'omuggo nga guli mu mukono gwammwe: mugiryanga mangu: eyo kwe kuyitako kwa Mukama.
11 Era bwe mutyo bwe muligirya; nga mwesibye ebimyu, n'engatto nga ziri mu bigere byammwe, n'omuggo nga guli mu mukono gwammwe: mugiryanga mangu: eyo kwe kuyitako kwa Mukama.
12 Kubanga ndiyita mu nsi ey'e Misiri mu kiro kiri, ndikuba ababereberye bonna mu nsi ey'e Misiri, omuntu era n'ensolo; era ku bakatonda bonna ab'e Misiri ndisala emisango: nze Mukama.
13 Awo omusaayi gulibabeerera akabonero ku nnyumba ze mulimu: nange bwe ndiraba omusaayi, ndibayitako, so tewalibeera lumbe ku mmwe okubazikiriza, bwe ndikuba ensi ey'e Misiri.
14 Era olunaku luno lulibabeerera ekijjukizo, na mmwe munaalwekuumanga embaga ya Mukama: mu mirembe gyammwe gyonna munaalwekuumanga embaga mu tteeka eritaggwaawo.
15 Ennaku musanvu mulirya emigaati egitazimbulukuswa; era ne ku lunaku olw'olubereberye munaggyangamu ekizimbulukusa mu nnyumba zammwe: kubanga buli alya emigaati egizimbulukuswa okuva ku lunaku olw'olubereberye okutuusa olunaku olw'omusanvu, omwoyo ogwo gulisalibwa ku Isiraeri.
16 Era ku lunaku olw'olubereberye walibabeerera okukuŋŋaana okutukuvu, era ku lunaku olw'omusanvu okukuŋŋaana okutukuvu; emirimu gyonna gyonna gireme ol:ukolebwa mu nnaku ezo, wabula gye yeetaaga buli muntu okulya, egg'o gyokka kye kirungi okukolebwa mmwe.
17 Mulyekuuma embaga ey'emigaati egitazimbulukuswa; kubanga ku lunaku luno lwennyini lwe nziyiddemu eggye lyammwe mu nsi ey'e Misiri: kye munaavanga mulwekuuma olunaku luno mu mirembe gyammwe gyonna mu tteeka eritaggwaawo.
18 Mu mwezi ogw'olubereberye ku lunaku olw'ekkumi n'ennya olw'omwezi olweggulo, mulirya emigaati egitazimbulul:uswa, okutuusa olunaku olw'amakumi abiri mu lumu olweggulo.
19 Ennaku musanvu ekizimbulukusa tekirirabika mu nnyumba zammwe: kubanga buli alya ekizimbulukuse, omwoyo ogwo gulisalibwa ku kibiina kya Isiraeri, bw'aliba munnaggwanga oba nga nzaalwa.
20 Temulyanga ekizimbulukuse; mu bifo byaminwe byonna mulyanga emigaati egitazimbulukuswa.
21 Musa n'alyoka abayita abakadde bonna aba Isiraeri, n'abagamba nti Mulonde mwetwalire abaana b'endiga ng'ennyumba zammwe bwe ziri, mutte okuyitako.
22 Nammwe mulitwala omuvumbo gwa ezobu ne munnyika mu musaayi ogw'omu kibya, ne mumansulira ku kabuno n'emifuubeeto gyombi n'omusaayi ogw'omu kibya; temufuluma omuntu yenna mu mulyango ogw'ennyumba ye okutuusa enkya.
23 Kubanga Mukama aliyita okukuba Abamisiri; awo bw'aliraba omusaayi ku kabuno ne ku mifuu beeto gyombi, Mukama aliyita ku mulyango, so talireka muzikiriza okuyingira mu nnyumba zammwe okubakuba.
24 Era mulyekuuma ekigambo ekyo ng'etteeka eri ggwe n'eri abaana bo eritaggwaawo.
25 Awo bwe muliba mutuuse mu nsi Mukama gy'alibawa, nga bwe yasuubiza, muneekuumanga okuweereza kuna.
26 Awo olulituuka abaana bammwe bwe balibagamba nti Okuweereza kwammwe kuno amakulu ki?
27 mulyogera nti Ye ssaddaaka ey'okuyitako kwa Mukama eyayita ku nnyumba z'abaana ba Isiraeri mu Misiri bwe yakuba Abamisiri n'awonya ennyumba zaffe. Abantu ne bahutama ne basinza.
28 Abaana ba Isiraeri ne bagenda ne bakola bwe batyo; Mukama nga bwe yalagira Musa ne Alooni, bwe batyo bwe baakola.
29 Awo olwatuuka mu ttumbi Mukama n'akuba abaana ababereberye bonna ab'omu nsi ey'e Misiri, okuva ku mubereberye wa Falaawo eyatuula ku ntebe ey'obwakabaka, okutuuka ku mubereberye ow'omusibe eyali mu kkomera; n'embereberye zonna ez'ebisibo.
30 Falaawo n'agolokoka ekiro, ye n'abaddu be bonna n'Abamisiri bonna; ne waba okukaaba okunene mu Misiri; kubanga tewaali nnyumba etaafaamu muntu.
31 N'abayita Musa ne Alooni ekiro, n'ayogera nti Mugolokoke muve mu bantu bange, mmwe era n'abaana ba Isiraeri; mugende, mumuweereze Mukama nga bwe mwayogera
32 Mutwale endiga era n'ente zammwe, nga bwe mwayogera, mugende; mumpe omukisa nange.
33 N'Abamisiri ne babakubiriza abantu, okubanguyiriza okuva mu nsi; kubanga baayogera nti Tufudde fenna.
34 Abantu ne batwala obutta bwabwe nga tebunnaba kuzimbulukusibwa, ebibbo byabwe eby'okugoyeramu nga bisibiddwa mu ngoye zaabwe ku bibegabega byabwe.
35 Abaana ba Isiraeri ne bakola ng'ekigambo kya Musa; ne basaba Abamisiri ebintu ebya ffeeza n'ebintu ebya zaabu, n'engoye:
36 Mukama n'abawa abantu okwagalibwa mu maaso g'Abamisiri, ne babawa bye baasaba. Ne banyaga Abamisiri.
37 Abaana ba Isiraeri ne batambula okuva mu Lameseesi okutuuka mu Sukkosi, ng'obusiriivu mukaaga abaatambula n'ebigere abasajja, era n'abaana.
38 Era n'ekibiina ekya bannaggwanga ne balinnya wamu nabo; n'endiga n'ente, ebisibo bingi nnyo.
39 Ne bookya emigaati egitazimbulukuswa n'obutta bwe baggya mu Misiri, kubanga bwali nga tebunnassibwamu ekizimbulukusa; kubanga baagobebwa mu Misiri nga tebayinza kulwa, so baali tebannaba kwefumbira mmere yonna:
40 N'okutuula kw'abaana ba Isiraeri, kwe baatuula mu Misiri, gyali emyaka ebikumi bina . mu asatu.
41 Awo olwatuuka emyaka ebikumi ebina mu asatu nga giyise, ku lunaku luli eggye lyonna erya Mukama ne liryoka liva mu Misiri.
41 Awo olwatuuka emyaka ebikumi ebina mu asatu nga giyise, ku lunaku luli eggye lyonna erya Mukama ne liryoka liva mu Misiri.
42 Kye kiro ekisaanira okukyekuuma ennyo eri Mukama okubafulumya mu nsi ey'e Misiri: ekyo kye kiro kiri ekya Mukaxna ekisaanira abaana bonna aba Isiraeri okukyekuumanga ennyo mu mirembe gyabwe gyonna.
43 Mukama n'abagamba Musa ne Alooni nti Lino lye tteeka ery'okuyitako: munnaggwanga yenna talyangako:
44 naye buli muddu w'omuntu agulibwa n'ebintu, bw'anaamalanga okumukomola, n'alyoka alyako.
45 Omugenyi n'omuwereeza aweebwa empeera tebalyangako.
46 Mu nnyumba emu mw'eneeriirwanga; totwalanga bweru wa nnyumba ku nnyama yaayo; so temumenyanga ggumba lyayo.
47 Ekibiina kyonna ekya Isiraeri balikukwata.
48 Era munnaggwanga bw'anaasulanga ewuwo, ng'ayagala okwekuuma okuyitako eri Mukama, abasajja be bonna bakomolebwenga, alyoke asembere akwekuume; anaabeeranga ng'enzaalwa: naye ataakomolebwenga yenna talyangako.
49 Walimubeerera etteeka limu enzaalwa n'omugenyi asula omumwe.
50 Bwe batyo bwe baakola abaana ba Isiraeri bonna; nga Mukama bwe yabalagira Musa ne Alooni, bwe batyo bwe baakola.
51 Awo ku lunaku luli Mukama n'alyoka aggya abaana ba Isiraeri mu nsi ey'e Misiri mu ggye lyabwe.