1 Awo olwatuuka Sawulo ng'amaze okufa, Dawudi ng'akomyewo ng'amaze okutta Abamaleki, era Dawudi ng'amaze ennaku bbiri e Zikulagi:
2 awo olwatuuka ku lunaku olw'okusatu, laba, omusajja n'ava mu lusiisira eri Sawulo ng'ayuzizza ebyambalo bye n'ettaka nga liri ku mutwe gwe: awo olwatuuka bwe yajja eri Dawudi, n'avuunama ne yeeyanza.
3 Dawudi n'amugamba nti Ova wa? N'amugamba nti Mponye mu lusiisira lwa Isiraeri.
4 Dawudi n'amugamba nti Byali bitya? Nkwegayiridde, mbuulira. N'addamu nti Abantu badduse mu lutalo, era n'abantu bangi bagudde bafudde; ne Sawulo ne Yonasaani mutabani we bafudde nabo.
5 Dawudi n'agamba omulenzi eyamubuulira nti Omanyira ku ki nga Sawulo ne Yonasaani mutabani we bafudde?
6 Omulenzi eyamubuulira n'ayogera nti Bwe nnali ndi awo ku lusozi Girubowa, laba, Sawulo ne yeesigama ku ffumu lye; awo, laba, amagaali n'abeebagala embalaasi ne bamucocca.
7 Awo bwe yakebuka, n'andaba n'ampita. Ne nziramu nti Nze nzuuno.
8 N'aŋŋamba nti Ggwe ani? Ne mmuddamu nti Nze ndi Mwamaleki.
9 N'antlamba nti Nkwegayiridde, yimirira ku mabbali gange onzite, kubanga obubalagaze bunkutte; kubanga obulamu bwange bukyali bulamu mu nze.
10 Awo ne nnyimirira ku mabbali ge, ne mmutta, kubanga nategeerera ddala nga tayinza kuba mulamu ng'amaze okugwa: ne ntwala engule eyali ku mutwe gwe n'ekikomo ekyali ku mukono gwe, era mbireese wano eri mukama wange.
11 Awo Dawudi n'akwata engoye ze n'aziyuza; era bwe batyo abasajja bonna abaali naye:
12 ne bawuubaala ne bakaaba amaziga ne basiiba ne bazibya obudde, olwa Sawulo n'olwa Yonasaani mutabani we n'olw'abantu ba Mukama n'olw'ennyumba ya Isiraeri; kubanga bagudde n'ekitala.
13 Dawudi n'agamba omulenzi eyamubuulira nti Oli wa wa? N'addamu nti Ndi mwana wa munnaggwanga, Omwamaleki.
14 Dawudi n'amugamba nti Kiki ekyakulobera okutya okugolola omukono gwo okuzikiriza oyo Mukama gwe yafukako amafuta?
15 Dawudi n'ayita omu ku balenzi n'ayogera nti Sembera omugweko. N'amufumita n'afa.
16 Dawudi n'amugamba nti Omusaayi gwo gubeere ku mutwe gwo; kubanga akamwa ko ye mujulirwa gy'oli ng'oyogera nti Nzise oyo Mukama gwe yafukako amafuta.
17 Awo Dawudi n'akungubagira Sawulo ne Yonasaani mutabani we okukungubaga kuno:
18 n'alagira okuyigiriza abaana ba Yuda (oluyimba) olw'omutego: laba, lwawandiikibwa mu kitabo kya Yasali.
19 Ekitiibwa kyo, ai Isiraeri, kittiddwa ku bifo byo ebigulumivu. Ab'amaanyi nga bagudde!
20 Temukibuuliranga mu Gaasi, Temukyatulanga mu nguudo za Asukulooni; Abawala b'Abafirisuuti baleme okusanyuka, Abawala b'abatali bakomole baleme okujaguza.
21 Mmwe ensozi za Girubowa, Ku mmwe kuleme okubaako omusulo newakubadde enkuba, newakubadde ensuku ez'ebiweebwayo: Kubanga eyo engabo ey'ab'amaanyi gye yasuulibwa obubi, Engabo ya Sawulo, ng'ataafukibwako mafuta.
22 Omutego gwa Yonasaani tegwakyukanga nnyuma Okuva ku musaayi gw'abattibwa, ku masavu g'ab'amaanyi, N'ekitala kya Sawulo tekyakomangawo nga kyereere.
23 Sawulo ne Yonasaani baali balungi era ba kusanyusa mu bulamu bwabwe, Ne mu kufa kwabwe tebaayawulibwa; Baali ba mbiro okusinga empungu, Baali ba maanyi okusinga empologoma.
24 Mmwe abawala ba Isiraeri, mukaabite Sawulo, Eyabambaza engoye ezitwakaala ez'okwesiima, Eyayonja ebyambalo byammwe ne zaabu.
25 Ab'amaanyi nga bagudde wakati mu lutalo! Yonasaani attiddwa ku bifo byo ebigulumivu.
26 Nkunakuwalidde, muganda wange Yonasaani: Wansanyusanga nnyo nnyini: Okwagala kwo gye ndi kwali kwa kitalo, Nga kusinga okwagala kw'abakazi.
27 Ab'amaanyi nga bagudde, N'ebyokulwanyisa nga bizikiridde!