Home |  | Audio |  | Index |  | Verses

2 Samwiri 2 Samuel

Chapter : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24
1 Awo Dawudi bwe yali ng'ayise ku ntikko awayambukirwa ebbanga ttono, laba, Ziba omuddu wa Mefibosesi n'asisinkana naye ng'alina endogoyi bbiri eziriko amatandiiko, nga zeetisse emigaati ebikumi bibiri n'ebirimba eby'eza bbibu enkalu kikumi, n'eby'ebibala eby'ekyeya kikumi, n'ekita ky'omwenge.
2 Kabaka n'agamba Ziba nti Bino amakulu gaabyo ki? Ziba n'ayogera nti Endogoyi za ba mu nnyumba ya kabaka okwebagalanga; n'emigaati n'ebibala eby'ekyeya bya balenzi okulya; n'omwenge abaliyongobera mu ddungu banywe.
3 Kabaka n'ayogera nti N'omwana wa mukama wo ali ludda wa? Ziba n'agamba kabaka nti Laba, abeera e Yerusaalemi: kubanga ayogedde nti Leero ennyumba ya Isiraeri erinziriza obwakabaka bwa kitange.
4 Awo kabaka n'agamba Ziba nti Laba, ebya Mefibosesi byonna bibyo. Ziba n'ayogera nti Neeyanze; ŋŋanje mu maaso go, mukama wange, ai kabaka.
5 Awo kabaka Dawudi bwe yatuuka e Bakulimu, laba, ne mufuluma omwo omusajja ow'oku nda y'ennyumba ya Sawulo, erinnya lye Simeeyi, mutabani wa Gera: n'afuluma n'ajja, n'akolima ng'ajja ng'akolima.
6 N'akasuukirira Dawudi amayinja n'abaddu bonna aba kabaka Dawudi: n'abantu bonna n'abasajja bonna ab'amaanyi baali ku mukono gwe ogwa ddyo ne ku gwa kkono.
7 Awo Simeeyi n'ayogera bw'atyo bwe yakolima nti Vaawo; vaawo, ggwe omusajja ow'omusaayi, era omusajja wa Beriali:
8 Mukama azzizza ku ggwe omusaayi gwonna ogw'ennyumba ya Sawulo, mu kifo kye mw'oyima okufuga; era Mukama awaddeyo obwakabaka mu mukono gwa Abusaalomu mutabani wo: era, laba, oteegeddwa mu lukwe lwo ggwe, kubatiga oli musajja wa musaayi.
9 Awo Abisaayi mutabani wa Zeruyiya n'agamba kabaka nti Embwa eno enfu ekinaaba kimukoliniizza mukama wange kabaka kiki? nsomoke, nkwegayiridde, mmuggyeko omutwe.
10 Kabaka n'ayogera nti Nfaayo ki eri mmwe, mmwe batabani ba Zeruyiya? Kubanga akolima era kubanga Mukama amugambye nti Kolimira Dawudi; kale am anaayogera nti Kiki ekikukozezza bw'otyo?
11 Dawudi n'agamba Abisaayi n'abaddu be bonna nti Laba, mutabani wange eyava mu ntumbwe zange -anoonya obulamu bwange: Omubenyamini oyo taasinge nnyo? mumuleke akolime; kubanga Mukama amulagidde.
12 Mpozzi Mukama anaatunuulira ekibi ekinkoleddwa, era Mukama alinsasula obulungi olw'okunkolimira leero.
13 Awo Dawudi n'abasajja be ne batambula mu kkubo: Simeeyi n'ayita ku lusozi okumwolekera, n'akolima ng'agenda, n'amukasuukirira amayinja n'ayiwa enfuufu.
14 Kabaka n'abantu bonna abaali naye ne bajja nga bakooye; n'aweereraweerera eyo.
15 Awo Abusaalomu n'abantu bonna abasajja ba Isisaeri ne bajja e Yerusaalemi ne Akisoferi wamu naye.
16 Awo olwatuuka Kusaayi Omwaluki, mukwano gwa Dawudi, bwe yajja eri Abusaalomu, Kusaayi n'agamba Abusaalomu nti Kabaka abeere omulamu, kabaka abeere omulamu.
17 Abusaalomu n'agamba Kusaayi nti Kino kye kisa kyo eri mukwano gwo? ekyakulobera okugenda ae mukwano gwo kiki?
18 Kusaayi 'n'agamba Abusaalomu nti Nedda; naye oyo Mukama n'abantu bano n'abasajja ba Isiraeri bonna gwe balonze n'abanga wuwe era n'abeeranga naye.
19 Era nate nandiweesezza ani? sandiweererezza mu maaso g'omwana we? nga bwe nnaweererezanga mu maaso ga kitaawo, bwe ntyo bwe nnaabeeranga mu maaso go.
20 Awo Abusaalomu n'agamba Akisoferi nti Sala amagezi bwe tuba tukola.
21 Akisoferi n'agamba Abusaalomu nti Yingira eri abazaana ba kitaawe b'alese okukuuma ennyumba: awo Isiraeri yerma baliwulira nga kitaawo akutamiddwa: awo emikono gya bonna abali naawe ne giryoka giba n'amaanyi.
22 Awo ne bamutimbira Abusaalomu eweema waggulu ku nnyumba; Abusaalomu n'ayingira eri abazaana ba kitaawe mu maaso ga Isiraeri yenna.
23 N'okuteesa kwa Akisoferi, kwe yateesanga mu biro ebyo, kwabanga ng'omuntu bw'abuuza awali ekigambo kya Katonda: bwe kutyo bwe kwabanga okuteesa kwonna okwa Akisoferi eri Dawudi era n'eri Abusaalomu.

Top |  | Next Page  |  | Index |  | Home
Full online version here [with search engine, multilingual display and audio Bible]