1
1 Era nate Akisoferi n'agamba Abusaalomu nti Kannonde nno abasajja kakumi mu enkumi bbiri ng'olokoke ngoberere Dawudi ekiro kino:
2 era naamutuukako ng'akooye n'emikono gye nga minafu ne mmutiisa: n'abantu bonna abali naye banadduka; era naakuba kabaka yekka:
3 n'abantu bonna naabakomyawo gy'oli: omusajja gw'onoonya kyenkana bonna nga abakomyewo: kale abantu bonna baliba mirembe.
4 Ekigambo ekyo Abusaalomu n'akisiima nnyo n'abakadde ba Isiraeri bonna.
5 Awo Abusaalomu n'ayogeza nti Mpitira nno ne Kusaayi Omwaluki, tuwulire era ye ky'anaayogera.
6 Awo Kusaayi ng'azze eri Abusaalomu, Abusaalomu n'amugamba nti Akisoferi ayogedde bw'atyo: tunaakola nga bw'ayogedde? oba nga si weewaawo, yogera ggwe.
7 Awo Kusaayi n'agamba Abusaalomu nti Okuteesa Akisoferi kw'aleese omulundi guno si kulungi.
8 Era nate Kusaayi n'ayogera nti Omanyi kitaawo n'abasajja be nga basajja ba maanyi, era nga baliko obusungu mu myoyo gyabwe, ng'eddubu enyagiddwako abaana baayo ku ttale: era kitaawo musajja mulwanyi, so talisula na bantu.
9 Laba, kaakano yeekwese mu bunnya oba walala: awo olunaatuuka bwe wanaabaawo ku bo abamu abanaagwa olubereberye, buli anaawulira anaayogera nti Wabaddewo okuttibwa kungi mu bantu abagoberera Abusaalomu.
10 Awo era n'omuzira alina omutima oguliŋŋanga omutima gw'empologoma, aliyongoberera ddala: kubanga Isiraeri yenna bamanyi kitaawo nga musajja wa maanyi, n'abo abali naye nga basajja bazira.
11 Naye nze nkuwa amagezi okukuŋŋaanya gy'oli :Isiraeri yenna, okuva ku Ddaani okutuuka e Beeruseba, ng'omusenyu oguli ku ttale ly'ennyanja obungi; naawe mwene otabaale.
12 Awo tulimusanga mu kifo w'alirabikira, naffe tulimugwako ng'omusulo bwe gugwa ku ttaka: naye n'abasajja bonna abali naye tetulisigazaako n'omu.
13 Era nate bw'aliba nga agenze mu kibuga, kale Isiraeri yenna alireeta emigwa eri ekibuga ekyo, ne tukiwalulira mu mugga, okutuusa lwe watalirabikayo kayinja n'akamu.
14 Awo Abusaalomu n'abasajja ba Isiraeri bonna ne boogera nti Okuteesa kwa Kusaayi Omwaluki kusinze okuteesa kwa Akisoferi. Kubanga Mukama yali ataddewo okutta okuteesa okulungi okwa Akisoferi, Mukama alyoke aleete obubi ku Abusaalomu.
15 Awo Kusaayi n'agamba Zadooki ne Abiyasaali bakabona nti Bw'atyo ne bw'atyo Akisoferi bw'awadde amagezi Abusaalomu n'abakadde ba Isiraeri: nange mmuwadde amagezi bw'entyo ne bwe ntyo.
16 Kale nno mutume mangu mubuulire Dawudi nti Tosula kiro kino ku misomoko egy'omu ddungu, naye tolema kusomoka; kabaka aleme okumalibwawo n'abantu bonna abali naye.
17 Era Yonasaani ne Akimaazi ne babeera ku Enerogeri; omuzaana n'agendanga n'ababuulira; ne bagenda ne babuulira kabaka Dawudi: kubanga tebandiyinzise kulabika nga bayingira mu kibuga.
18 Naye omulenzi n'abalaba n'abuulira Abusaalomu: ne bagenda bombi mangu ne bajja mu nnyumba ey'omusajja e Bakulimu, eyalina oluzzi mu luggya lwe; ne bakka omwo.
19 Omukazi n'addira ekisaanikizo n'akisaanikira ku kamwa k'oluzzi, n'afukako eŋŋaano ensekule; so tewaali kigambo ky'amanyibwa.
20 Awo abaddu ba Abusaalomu ne bajja eri omukazi mu nnyumba; ne boogera nti Akimaazi ne Yonasaani bali ludda wa? Omukazi n'abagamba nti Basomose akagga ak'amazzi. Awo bwe baamala okubanoonya ne batayinza kubalaba, ne baddayo e Yerusaalemi.
21 Awo olwatuuka nga bamaze okugenda ne balinnya ne bava mu luzzi ne bagenda ne babuulira kabaka Dawudi: ne bagamba Dawudi nti Mugolokoke musomoke amazzi mangu: kubanga gano ge magezi Akisoferi g'abasalidde.
22 Awo Dawudi n'agolokoka n'abantu bonna abali naye ne basomoka Yoludaani: emmambya bwe yasala nga tekubuzeeko n'omu ku bo atannasomoka Yoludaani.
23 Awo Akisoferi bwe yalaba nga tebakutte kigambo kyateesezza, n'ateeka amatandiiko ku ndogoyi ye n'agolokoka n'addayo eka mu kibuga kye, n'alongoosa ennyumba ye, ne yeetuga; n'afa ne bamuziika mu ntaana ya kitaawe.
24 Awo Dawudi n'ajja e Makanayimu. Abusaalomu n'asomoka Yoludaani, ye n'abasajja ba Isiraeri bonna wamu naye.
25 Abusaalomu n'afnula Amasa omukulu w'eggye mu kifo kya Yowaabu. Era Amasa yali mwana wa musajja erinnya lye Isira Omuisiraeri eyayingira eri Abbigayiri muwala wa Nakasi, muganda wa Zeruyiya nnyina Yowaabu.
26 Awo Isiraeri ne Abusaalomu ne basiisira mu nsi ya Gireyaadi.
27 Awo olwatuuka Dawudi bwe yatuuka e Makanayimu, Sobi mutabani wa Nakasi ow'e Labba eky'abaana ba Amoni ne Makiri mutabani wa Ammiyeri ow'e Lodebali ne Baluzirayi Omugireyaadi ow'e Logerimu,
28 ne baleeta ebitanda, n'ebibya, n'entamu, n'eŋŋaano, ne sayiri, n'obutta, n'eŋŋaano ensiike, n'ebijanjaalo, n'empindi, n'empokya ensiike,
29 n'omubisi gw'enjuki, n'omuzigo, n'endiga, n'amata g'ente amakalu, nga bamuleetera Dawudi n'abantu abali naye okulya: kubanga baayogera nti Abantu balumiddwa enjala era bakooye era balumiddwa ennyonta mu ddungu.