1 Awo ne wabangawo obulwa bungi eri ennyumba ya Sawulo n'ennyumba ya Dawudi: Dawudi ne yeeyongerayongeranga okuba n'amaanyi, naye ennyumba ya Sawulo ne yeeyongerayongeranga okuba ennafu.
2 Awo Dawudi n'azaalirwa abaana ab'obulenzi e Kebbulooni: n'omubereberye yali Amunoni, owa Akinoamu Omuyezuleeri;
3 n'ow'okubiri Kireyaabu, owa Abbigayiri mukazi wa Nabali Omukalumeeri; n'ow'okusatu Abusaalomu mutabani wa Maaka muwala ma Talumaayi kabaka w'e Gesuli;
4 n'ow'okuna Adoniya mutabani wa Kaggisi; n'ow'okutaano Sefatiya mutabani wa Abitali;
5 n'ow'omukaaga Isuleyamu, owa Egula mukazi wa Dawudi. Abo be baazaalirwa Dawudi e Kebbulooni.
6 Awo olwatuuka obulwa nga bukyaliwo eri ennyumba ya Sawulo n'ennyumba ya Dawudi, Abuneeri ne yeefuula ow'amaanyi mu nnyumba ya Sawulo.
7 Era Sawulo yalina omuzaana, erinnya lye Lizupa, muwala wa Aya: (Isubosesi) n'agamba Abuneeri nti Kiki ekikuyingizizza eri muzaana wa kitange?
8 Awo ebigambo bya Isubosesi ne bisunguwaza nnyo Abuneeri, n'ayogera nti Nze mutwe gw'embwa ogwa Yuda? Leero ndaga ekisa ennyumba ya Sawulo kitaawo, baganda be, ne mikwano gye, ne sikuwaayo mu mukono gwa Dawudi, era naye onnanze omusango ogw'omukazi oyo.
9 Katonda akole bw'atyo Abuneeri n'okukirawo, bwe sirikolera ddala Dawudi nga Mukama bwe yamulayirira;
10 okuggya obwakabaka ku nnyumba ya Sawulo, n'okusimba entebe ya Dawudi okufuga Isiraeri ne Yuda, okuva ku Ddaani okutuuka e Beeruseba.
11 N'atayinza kumwanukula Abuneeri kigambo kirala, kubanga yamutya.
12 Awo Abuneeri n'atumira Dawudi ababaka ku bubwe ye, ng'ayogera nti Nannyini nsi ye ani? era nti Lagaana nange, era, laba, omukono gwange guliba naawe okukukyukiza Isiraeri yenna.
13 N'ayogera nti Kale; ndiragaana naawe: naye waliwo ekimu kye nkussaako nga toliraba maaso gange, bw'otolimala kuleeta Mikali muwala wa Sawulo, bw'olijja okulaba amaaso gange.
14 Awo Dawudi n'atumira Isubosesi mutabani wa Sawulo ababaka ng'ayogera nti Mpa mukazi wange Mikali gwe nnayogereza n'ebikuta ekikumi eby'Abafirisuuti.
15 Awo Isubosesi n'atuma n'amuggya ku bba, ye Palutieri mutabani wa Layisi.
16 Bba n'agenda naye ng'agenda ng'akaaba, n'amugoberera e Bakulimu. Awo Abuneeri n'amugamba nti Genda oddeyo: n'addayo.
17 Awo Abuneeri n'ateesa n'abakadde ba Isiraeri ng'ayogera nti Mu biro eby'edda mwayagala Dawudi okuba kabaka wammwe:
18 kale nno kaakano mukikole: kubanga Mukama yayogera ku Dawudi nti Mu mukono gw'omuddu wange Dawudi bwe ndirokola abantu bange Isiraeri mu mukono gw'Abafirisuuti ne mu mukono gw'abalabe baabwe bonna.
19 Abuneeri n'ayogera ne mu matu ga Benyamini: era Abuneeri n'agenda okwogera ne mu matu ga Dawudi e Kebbulooni byonna Isiraeri n'ennyumba yonna eya Benyamini bye baasiima.
20 Awo Abuneeri n'ajja eri Dawudi e Kebbulooni n'abasajja amakumi abiri wamu naye. Dawudi n'afumbira embaga Abuneeri n'abasajja abaali naye.
21 Awo Abuneeri n'agamba Dawudi nti Naagolokoka ne ŋŋenda ne nkuŋŋaanya Isiraeri yenna eri mukama wange kabaka, balagaane endagaano naawe, era ofuge bonna emmeeme yo be yeegomba. Dawudi n'asindika Abuneeri n'agenda mirembe.
22 Awo, laba, abaddu ba Dawudi ne Yowaabu ne bakomawo okukwekweta, ne baleeta nabo omunyago omungi: naye Abuneeri teyali ne Dawudi e Kebbulooni; kubanga yali amusiudise, naye ng'agenze mirembe.
23 Awo Yowaabu n'eggye lyonna eryali naye bwe baatuuka, ne babuulira Yowaabu nti Abuneeri mutabani wa Neeri yazze eri kabaka, era yamusindise, era yagenze mirembe.
24 Awo Yowaabu n'ajja eri kabaka n'ayogera nti Okoze ki? laba, Abuneeri yazze gy'oli; wamusindikidde ki, era agendedde ddala?
25 Omanyi Abuneeri mutabani wa Neeri ng'azze okukulimba n'okumanya bw'ofuluma n'oyingira n'okumanya byonna by'okola:
26 Awo Yowaabu bwe yafuluma okuva eri Dawudi, n'atuma ababaka okugoberera Abuneeri, ne bamukomyawo okuva ku luzzi lwa Siira: naye Dawudi n'atakimanya.
27 Awo Abuneeri bwe yakomawo e Kebbulooni, Yowaabu n'amwawulamu n'amutwala mu mulyango wakati okwogera naye mu kyama, n'amufumitira eyo olubuto, n'afa, olw'omusaayi gwa Asakeri muganda we.
28 Awo oluvannyuma Dawudi bwe yakiwulira n'ayogera nti Nze n'obwakabaka bwange tetuliiko musango mu maaso ga Mukama ennaku zonna ogw'omusaayi gwa Abuneeri mutabani wa Neeri:
29 gugwe ku mutwe gwa Yowaabu ne ku nnyumba yonna eya kitaawe; so mu nnyumba ya Yowaabu temubulanga muziku oba mugenge oba eyeesigama ku muggo oba agwa n'ekitala oba abulwa emmere.
30 Bwe batyo Yowaabu ne Abisaayi muganda we bwe batta Abuneeri, kubanga yali asse muganda waabwe Asakeri e Gibyoni mu lutalo.
31 Awo Dawudi n'agamba Yowaabu n'abantu bonna abaali naye nti Muyuze engoye zammwe mwesibe ebibukutu mukaabe mu maaso ga Abuneeri. Kabaka Dawudi n'agoberera olunyo.
32 Ne baziika Abuneeri e Kebbulooni: kabaka n'ayimusa eddoboozi lye n'akaaba ku ntaana ya Abuneeri; abantu bonne bakaaba amaziga.
33 Kabaka n'akungubagira Abuneeri n'ayogera nti Abuneeri yandifudde ng'omusirusiru bw'afa?
34 Emikono gyo tegyasibibwa, so n'ebigere byo tebyateekebwa mu masamba: Ng'omuntu bw'agwa mu maaso g'abaana b'obutali butuukirivu, bwe wagwa bw'otyo. Abantu bonna ne bamukaabira nate amaziga.
35 Abantu bonna ne bajja okuliisa Dawudi emmere obudde nga bukyali misana; naye Dawudi n'alayira ng'ayogera nti Katonda ankole bw'atyo n'okukirawo, bwe nnaakomba ku mmere oba ku kirala kyonna, okutuusa enjuba.lw'eneegwa.
36 Abantu bonna ne bakitegeera ne kibasanyusa: era nga byonna kabaka bye yakola bwe byasanyusanga abantu bonna.
37 Awo abantu bonna ne Isiraeri yenna ne bategeera ku lunaku olwo nga tekyava eri kabaka okutta Abuneeri mutabani wa Neeri.
38 Kabaka n'agamba abaddu be nti Temumanyi nga mu Isiraeri mugudde leero omusajja omukulu era ow'ekitiibwa.
39 Nange leero ndi munafu newakubadde nga nfuluddwako amafuta okuba kabaka: n'abasajja bano batabani ba Zeruyiya bannyinze obukakanyavu: Mukama asasule akoze ekibi ng'obubi bwe bwe buli.