1 Awo Dawudi n'agamba Mukama ebigambo eby'oluyimba luno ku lunaku Mukama kwe yamuwonyeza mu mukono gw'abalabe be bonna ne mu mukono gwa Sawulo:
2 n'ayogera nti Mukama lwe lwazi lwange era ekigo kyange era omulokozi wange, owange nze;
3 Katonda ow'olwazi lwange, oyo gwe nneesiganga; Engabo yange, era ejjembe ery'obulokozi bwange, ekigo kyange ekiwanvu, era ekiddukiro kyange; Omulokozi wange, ggwe omponya mu kyejo.
4 Naakaabira Mukama, asaanidde okutenderezebwa: Bwe ntyo bwe nnaalokokanga eri abalabe bange.
5 Kubanga amayengo ag'okufa gazingiza, Amataba ag'obutatya Katonda ne gantiisa.
6 Emigwa egy'emagombe gyanneetooloola: Ebyambika eby'okufa byantuukako.
7 Bwe nnalaba ennaku ne nkaabira Mukama, Weewaawo, nakaabira Katonda wange: N'awulira eddoboozi lyange ng'ayima mu yeekalu ye, Okukaaba kwange ne kutuuka mu matu ge.
8 Ensi n'eryoka esagaasagana n'ekankana, Emisingi gy'eggulu ne gijjulukuka Ne gikankanyizibwa, kubanga asunguwadde.
9 Omukka ne gunyooka okuva mu nnyindo ze, N'omuliro ogwava mu kamwa ke ne gwokya: Ne gukwata amanda.
10 Yakutamya n'eggulu n'aserengeta; Ekizikiza ekiziyivu ne kiba wansi w'ebigere bye.
11 Ne yeebagala kerubi n'abuuka: Weewaawo, yalabikira ku biwawaatiro by'empewo.
12 N'afuula ekizikiza okuba eweema ezimwetooloola: Amazzi we gakuŋŋaanira, ebire ebiziyivu eby'omu ggulu.
13 Okumasamasa okwali mu maaso ge Ne kwasa amanda ag'omuliro.
14 Mukama n'abwatuka ng'ayima mu ggulu, Ali waggulu ennyo n'aleeta eddoboozi lye.
15 N'alasa obusaale n'abasaasaanya; N'aweereza okumyansa n'abeeraliikiriza.
16 Awo ensalosalo ez'ennyanja ne ziryoka zirabika, Emisingi gy'ensi ne gyeruka, Olw'okunenya kwa Mukama, Olw'okufuuwa omukka ogw'omu nnyindo ze.
17 Yatuma ng'ayima waggulu n'antwala; N'ampalula n'anziya mu mazzi amangi;
18 N'amponya eri omulabe wange ow'amaanyi, Eri abo abaankyawa; kubanga bannyinga amaanyi.
19 Bangwako ku lunaku kwe nnalabira ennaku: Naye Mukama ye yannyweza
20 Era n'anfulumya n'andeeta mu kifo ekigazi: Yamponya kubanga yansanyukira.
21 Mukama yampa empeera ng'obutuukirivu bwange bwe bwali: Ansasudde ng'obulongoofu bw'engalo zange bwe bwali.
22 Kubanga nakuumanga amakubo ga Mukama, So sidanga ku Katonda wange lwa kyejo.
23 Kubanga emisango gye gyonna gy'abanga mu maaso gange: N'amateeka ge sigavangamu.
24 Era nabanga eyatuukirira eri ye, ne nneekuuma mu butali butuukirivu bwange.
25 Mukama kyavudde ansasula ng'obutuukirivu bwange bwe bwali: Ng'obulongoofu bwange bwe bwali mu maaso ge.
26 Awali ow'ekisa oneeraganga wa kisa, Awali omuatu eyatuukirira oneeraganga mutuukirivu;
27 Awali omulongoofu oneeraganga mulongoofu; Era awali omukakanyavu oneeraganga aziyiza.
28 Era olirokola abantu abaabonyabonyezebwa: Naye amaaso go gatunuulira ab'amalala obasse wansi.
29 Kubanga ggwe ttabaaza yange, ai Mukama: Era Mukama alyakira ekizikiza kyange.
30 Kubanga ku lulwo nziruka mbiro ne nnumba ekibiina: Ku lwa Katonda wange mbuuka ekigo:
31 Katonda ekkubo lye lyaruukirira: Ekigambo kya Mukama kyakemebwa; Oyo ye ngabo eri abo bonna abamwesiga.
32 Kubanga ani Katonda wabula Mukama? Oba ani lwazi wabula Katonda waffe?
33 Katonda kye kigo kyange eky'amaanyi: Era alutltlamya eyatuukirira mu kkubo lye.
34 Afuula ebigere bye okuba (ng'ebigere) by'ennangaazi: Era anteeka ku bifo byange ebigulumivu.
35 Ayigiriza engalo zange okulwana; Emikono gyange ne gitega omutego ogw'ekikomo.
36 Era ompadde engabo ey'obulokozi bwo: N'obuwombeefu bwo bungulumizizza.
37 Wagaziya ebisinde byange wansi wange, Ebigere byange ne bitaseerera.
38 Nayigganya abalabe bag, ne mbazikiriza; So saakyuka nate nga tebannamalibwawo.
39 Era mbamazeewo ne mbafumitira ddala n'okuyinza ne batayinza kugolokoka: Weewaawo, bagudde wansi w'ebigere byange.
40 Kubanga onsibye amaanyi ag'okulwana: Owangudde wansi wange abo abangolokokerako.
41 Era abalabe bange obankubizza amabega, nzikirize abo abankyawa.
42 Baatunula naye tewali wa kulokola; Baatunuulira Mukama naye n'atabaddamu.
43 Awo ne mbasekuIirasekulira ddala ng'enfuufu ey'oku nsi, Nabasamba ng'ebitosi eby'omu nguudo ne mbasaasaanya.
44 Era omponyezza mu kuwakana kw'abantu bange; N'onkuuma okuba omutwe gw'amawanga: Eggwanga lye ssimanyanga Lirimpeereza.
45 Bannaggwanga balinjeemulukukira: Nga kyebajje bampulire baliŋŋondera.
46 Bannaggwanga baliggweerera, Era baliva mu bifo byabwe eby'ekyama nga bakankana.
47 Mukama mulamu; era lwazi lwange atenderezebwe; Agulumizibwe Katonda ow'olwazi olw'obulokozi bwange:
48 Ye Katonda ampaIanira eggwanga, N'assa amawanga wansi wange,
49 Era anziya mu balabe bange: Weewaawo, ongulumiza okusinga abo abangolokokerako: Omponya eri omusajja ow'ekyejo.
50 Kyennaava nkwebaza, ai Mukama, mu mawanga, ne nnyimba okutendereza erinnya lyo.
51 Awa kabaka we obulokozi obunene: Era amukola eby'ekisa ekingi oyo gwe yafukako amafuta, Dawudi n'ezzadde lye emirembe gyonna.