1 Awo Yowaabu mutabani wa Zeruyiya n'ategeera ng'omutima gwa kabaka guli eri Abusaalomu.
2 Yowaabu n'atuma e Tekowa n'akimayo omukazi ow'amagezi n'amugamba nti Nkwegayiridde, weefuule ng'afiiriddwa, oyambale ebyambalo eby'okufiirwa, nkwegayiridde, so tosaaba mafuta, naye weefuule ng'omukazi eyaakamala ebiro bingi ng'akaabira omufu:
3 oyingire eri kabaka omugambe bw'otyo. Awo Yowaabu n'amuweerera ebigambo.
4 Awo omukazi ow'e Tekowa bwe yayogera ne kabaka, n'avuunama amaaso ge ne yeeyanza n'ayogera nti Mbeera, ai kabaka.
5 Kabaka n'amugamba nti Obadde otya? N'addamu nti Mazima nze ndi mukazi nnammwandu, ne baze yafa.
6 Era omuzaana wo yalina abaana babiri, ne balwana bombi ku ttale, so nga tewali wa kubataasa, naye omu n'afumita munne n'amutta.
7 Kale, laba, ekika kyonna kimugolokokeddeko omuzaana wo era bayogera nti Waayo oyo eyafumita muganda we tumutte olw'obulamu bwa muganda we gwe yatta; tutte bwe tutyo n'omusika: kale bwe batyo banaazikiza eryanda lyange erisigaddewo, ne batamulekera baze linnya newakubadde ekitundu ekifisseewo ku ttaka lyonna.
8 Awo kabaka n'agamba omukazi nti Genda ewuwo, nange n'alagira ebigambo byo bwe binaaba.
9 Awo omukazi ow'e Tekowa n'agamba kabaka nti Mukama wange, ai kabaka, obutali butuukirivu bube ku nze ne ku nnyumba ya kitange: kabaka abe nga taliiko musango n'entebe ye ey'obwakabaka.
10 Kabaka n'ayogera nti Buli anaakugambanga elugambo kyonna, omuleetanga gye ndi so talikukwatako lwa kubiri.
11 Awo n'alyoka ayogera nti Nkwegayiridde, kabaka ajjukire Mukama Katonda wo, awalana eggwanga ly'omusaayi aleme okweyongera okuzikiriza, baleme okuzikiriza mutabani wange. N'ayogera nti Mukama nga bw'ali omulamu, tewaliba luviiri lumu lwa mutabani wo oluligwa wansi.
12 Awo omukazi n'ayogera nti Nkwegayiridde, omuzaana wo ayogere ekigambo ne mukama wange kabaka. N'ayogera nti Yogera.
13 Omukazi n'ayogera nti Kale wateesezza ki ekigambo ekifaanana bwe kityo eri abantu ba Katonda? kubanga kabaka bw'ayogera ekigambo ekyo, aliŋŋanga aliko omusango, kubanga kabaka takomyawo eka owuwe eyagobebwa.
14 Kubanga kitugwanira okufa, era tulirjxjanga amazzi agayiise wansi agatayinzika kuyooleka nate; so Katonda taggyaawo bulamu, naye n'asala amagezi oyo eyagobebwa aleme okuba omudduse gy'ali.
15 Kale nno kubanga nzize okwogera ekigambo ekyo ne mukama wange kabaka, kyenvudde njija kubanga abantu bantiisizza: omuzaana wo n'ayogera nti Kaakano naayogera ne kabaka; mpozzi kabaka alikola omuzaana we by'amwegayiridde.
16 Kubanga kabaka anaawulira, okuwonya omuzaana we mu mukono gw'omusajja ayagala okunzikiriza fembi ne mutabani wange okutuggya mu busika bwa Katonda.
17 Awo omuzaana wo n'alyoka ayogera nti Nkwegayiridde, ekigambo kya mukama wange kabaka kibeere kya kusanyusa: kubanga mukama wange kabaka aliŋŋanga malayika wa Katonda okwawulamu ebirungi n'ebibi: era Mukama Katonda wo abeere naawe.
18 Awo kabaka n'alyoka addamu n'agamba omukazi nti Tonkisa, nkwegayiridde, ekigambo kyonna kye nnaakubuuza. Omukazi n'ayogera nti Mukama wange kabaka ayogere kaakano.
19 Kabaka n'ayogera nti Omukono gwa Yowaabu guli naawe mu bino byonna? Omukazi n'addamu n'ayogera nti Nga ggwe bw'oli omulamu, mukama wange kabaka, tewali ayinza okukyama ku mukono ogwa ddyo newakubadde ku gwa kkono okuva ku kigambo kyonna mukama wange kabaka ky'ayogedde: kubanga omuddu wo Yowaabu ye yandagira, era ye yaweerera omuzaana wo ebigambo bino byonna:
20 okuwaanyisa ekigambo bwe kifaanana omuddu wo Yowaabu kyavudde akola kino: era mukama wange mugezigezi ng'amagezi bwe gali aga malayika wa Katonda, okumanya byonna ebiri mu nsi.
21 Kabaka n'agamba Yowaabu nti Laba nno, ekigambo kino nkikoze: kale genda omukomyewo omulenzi Abusaalomu.
22 Awo Yowaabu n'avuunama amaaso ge, ne yeeyanza, ne yeebaza kabaka: Yowaabu n'ayogera nti Leero omuddu wo amanyi nga ŋŋanze mu maaso go, mukama wange, ai kabaka, kubanga kabaka akoze omuddu we ky'amwegayiridde.
23 Awo Yowaabu n'agolokoka n'agenda e Gesuli n'aleeta Abusaalomu e Yerusaalemi.
24 Kabaka n'ayogera nti Addeyo mu nnyumba ye ye, naye aleme okulaba amaaso gange. Awo Abusaalomu n'addayo mu nnyumba ye, n'atalaba maaso ga kabaka.
25 Awo mu Isiraeri yenna temwali n'omu wa kutenderezebwa nga Abusaalomu olw'obulungi bwe: okuva ku bigere bye wansi okutuuka ku bwezinge bw'omutwe gwe nga taliiko kabi.
26 Awo bwe yasalanga enviiri ze, (era buli mwaka bwe gwaggwangako n'azisalanga: kubanga, zaamuzitoowereranga kyeyava azisala:) n'apima enviiri ez'oku mutwe gwe ne ziba sekeri ebikumi bibiri, ng'okupima kwa kabaka bwe kwali.
27 Awo Abusaalomu n'azaalirwa abaana ab'obulenzi basatu n'ow'obuwala omu, erinnya lye Tamali: yali mukazi wa maaso malungi.
28 Awo Abusaalomu n'amala emyaka ebiri emirambirira mu Yerusaalemi; n'atalaba maaso ga kabaka.
29 Awo Abusaalomu n'atumya Yowaabu, okumutuma eri kabaka; naye n'atakkiriza kujja gy'ali: awo n'atumya nate omulundi ogw'okubiri, naye n'atakkiriza kujja.
30 Kyeyava agamba abaddu be nti Laba, ennimiro ya Yowaabu eriraanye n'eyange, era alina sayiri eyo; mugende mugyokye. Awo abaddu ba Abusaalomu ne bookya ennimiro.
31 Awo Yowaabu n'alyoka agolokoka n'ajja eri Abusaalomu mu nnyumba ye n'amugamba nti Abaddu bo bookedde ki ennimiro yange?
32 Abusaalomu n'addamu Yowaabu nti Laba nakutumira nga njogera nti Jjangu wano, nkutume eri kabaka okwogera nti Njijiridde ki okuva e Gesuli? mbeera kubeera eyo ne kaakano kyandibadde kirungi gye ndi: kale nno ndabe amaaso ga kabaka; era oba nga mulimu obutali butuukirivu mu nze, anzite.
33 Awo Yowaabu n'ajja eri kabaka n'amubuulira: awo bwe yayita Abusaalomu, n'ajja eri kabaka, n'avuunama amaaso ge mu maaso ga kabaka: kabaka n'anywegera Abusaalomu.