Home |  | Audio |  | Index |  | Verses

2 Samwiri 2 Samuel

Chapter : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24
1 Awo omusajja wa Beriali yali ali eyo, erinnya lye Seba, mutabani wa Bikuli, Omubenyamini: n'afuuwa ekkondeere n'ayogera nti Tetulina mugabo mu Dawudi so tetulina busika mu mutabani wa Yese: mudde buli muntu mu weema ze, ggwe Isiraeri.
2 Awo abasajja ba Isiraeri bonna ne baddayo okuleka okugoberera Dawudi ne bagoberera Seba mutabani wa Bikuli: naye abasajja ba Yuda ne beegatta ne kabaka waabwe, okuva ku Yoludaani okutuuka e Yerusaalemi.
3 Awo Dawudi n'ajja' mu nnyumba ye e Yerusaalemi; kabaka n'atwala abakazi kkumi abazaana be, be yali alese okukuuma ennyumba, n'abateeka mu kkomera n'abaliisanga, naye n'atayingira gye bali. Awo ne basibibwa okutuusa ku lunaku kwe baafiira nga tebalina ba bbaabwe.
4 Awo kabaka n'agamba Amasa nti Mpitira abasajja ba Yuda bakugtlaane ennaku ssatu nga tezinnayitawo, naawe obeeranga wano.
5 Awo Amasa n'agenda okukurlnaanya Yuda: naye n'amala ebiro okukira bye yamuteekerawo.
6 Dawudi n'agamba Abisaayi nti Kaakano Seba mutabani wa Bikuli alitukola obubi okusinga Abusaalomu bwe yakola: twala abaddu ba mukama wo omugoberere aleme okugenda mu bibuga ebiriko enkomera n'awona okuva mu maaso gaffe.
7 Ne wafuluma okumugoberera abasajja ba Yowaabu n'Abakeresi n'Abaperesi n'abasajja bonna ab'amaanyi: ne bava mu Yerusaalemi okuyigganya Seba mutabani wa Bikuli.
8 Bwe baatuuka ku jjinja eddene eriri mu Gibyoni, Amasa n'ajja okubasisinkana. Era Yowaabu yali yeesibye ebyambalo bye eby'entalo bye yayambala, era nga kuliko olukoba n'ekitala nga kisibiddwa mu kiwato kye mu kiraato kyakyo; awo ng'afuluma n'ekisowokamu ne kigwa.
9 Yowaabu n'agamba Amasa nti Oli mirembe, muganda wange? Yowaabu n'akwata Amasa ku kirevu n'omukono gwe ogwa ddyo okumunywegera.
10 Naye Amasa n'atassaayo mwoyo eri ekitala ekyali mu mukono gwa Yowaabu: n'amufumisa ekyo olubuto n'ayiwa ebyenda bye wansi n'atamufumita lwa kubiri; n'afa. Yowaabu ne Abisaayi muganda we ne bayigganya Seba mutabani wa Bikuli.
11 Awo ne wayimirira wali omu ku balenzi ba Yowaabu n'ayogera nti Ayagala Yowaabu era ali ku luuyi lwa Dawudi agoberere Yowaabu.
12 Era Amasa yali agalamidde nga yeekulukuunya mu musaayi gwe wakati mu luguudo. Awo omusajja oyo bwe yalaba ng'abantu bonna bayimiridde buyimirizi, n'asitula Amasa n'amuggya mu luguudo n'amutwala ku ttale, n'amusuulako ekyambalo, gwe yalaba buli amuyitako ng'ayimirira.
13 Awo bwe yaggibwa mu luguudo, abantu bonna ne beeyongerayo nga bagoberera Yowaabu, okuyigganya Seba mutabani wa Bikuli.
14 N'atambula n'abunya ebika byonna ebya Isiraeri n'atuuka e Aberi ne Besumaaka n'Ababeri bonna: ne bakuŋŋaana ne bamugoberera nabo.
15 Ne bajja ne bamuzingiza mu Aberi eky'e Besumaaka, ne batuuma ekifunvu ku kibuga nga kyolekera ekigo: abantu bonna abaali ne Yowaabu ne bakoonanga bbugwe okumusuula.
16 Awo omukazi ow'amagezi n'ayogerera waggulu ng'ayima mu kibuga nti Muwulire, muwulire; mbeegayiridde, mugambe Yowaabu nti Sembera wano njogere naawe.
17 N'amusemberera; omukazi n'ayogera nti Ggwe Yowaabu? N'addamu nti Nze nzuuyo. N'alyoka amugamba nti Wulira ebigambo eby'omuzaana wo. N'addamu nti Mpulira.
18 N'alyoka ayogera nti Edda baayogeranga nti Tebalirema kubuuliza magezi e Yaberi: ne bamalira awo ekigambo.
19 Nze ndi wa ku abo abaagala emirembe era abeesigwa mu Isiraeri: oyagala okuzikiriza ekibuga ne nnyina w'abaana mu Isiraeri: oyagalira ki okumira obusika bwa Mukama?
20 Yowaabu n'addamu n'ayogera nti Kiddire eri, kiddire eri nze okumira oba okuzikiriza.
21 Ekigambo si bwe kiri bwe kityo: naye omusajja ow'ensi ey'ensozi eya Efulayimu, erinnya lye Seba mutabani wa Bikuli, agololedde omukono gwe ku kabaka, ku Dawudi: mumuweeyo ye yekka, nange n'ava ku kibuga. Omukazi n'agamba Yowaabu nti Laba, omutwe gwe gunaakasukibwa eri ggwe ku bbugwe.
22 Awo omukazi n'agenda eri abantu bonna n'amagezi ge. Ne bamusalako omutwe Seba mutabani wa Bikuli, ne bagukasuka eri Yowaabu. N'afuuwa ekkondeere, ne basaasaana okuva ku kibuga, buli muntu mu weems ve. Yowaabu n'addayo e Yenisaalemi eri kabaka.
23 Awo Yowaabu ye yali omukulu w'eggye lyonna erya Isiraeri: ne Benaya mutabani wa Yekoyaada ye yali omukulu w'Abakeresi n'Abaperesi;
24 ne Adolaamu ye yali omusolooza w'omusolo: ne Yekosafaati mutabani wa Akirudi ye yali omujjukiza:
25 ne Seva ye yali omuwandiisi: ne Zadooki ne Abiyasaali be baali bakabona:
26 ne Ira Omuyayiri naye yali mukulu wa Dawudi.

Top |  | Next Page  |  | Index |  | Home
Full online version here [with search engine, multilingual display and audio Bible]