1 Awo Mukama n'atuma Nasani eri Dawudi. N'ajja gy'ali n'amugamba nti Waaliwo abasajja babiri mu kibuga kimu; omu nga mugagga ne munne nga mwavu.
2 Omugagga yalina endiga n'ente nnyiagi nnyo nnyini:
3 naye omwavu teyalina kantu wabula akaana k'endiga akaluusi ke yagula n'akalera: ne kakulira wamu naye n'abaana be; kaalyanga ku kamere ke ye, ne kanywa ku ndeku ye ye, ne kagalamira mu kifuba kye ne kaba gy'ali nga muwala we.
4 Awo ne wajja omutambuze eri omugagga oyo, n'alema okutoola ku ndiga ze ye ne ku nte ze ye, okufumbira omutambuze eyajja gy'ali, naye n'atwala omwana gw'endiga ogw'omwavu, n'agufumbira omusajja azze gy'ali:
5 Dawudi n'asunguwalira nnyo omusajja; n'agamba Nasani nti Mukama nga bw'ali omulamu, omusajja eyakola ekyo asaanidde okufa:
6 era alizzaawo omwana gw'endiga emirundi ena, kubanga yakola ekyo, era kubanga teyalina kusaasira.
7 Awo Nasani n'agamba Dawudi nti Ye ggwe. Bw'atyo bw'ayogera Mukama, Katonda wa Isiraeri, nti Nakufukako amafuta okuba kabaka wa Isiraeri ne nkuggya mu mukono gwa Sawulo;
8 ne nkuwa ennyumba ya mukama wo, ne bakazi ba mukama wo ne mbakuwa mu kifuba kyo, ne nkuwa ennyumba ya Isiraeri n'eya Yuda; n'ebyo singa bibadde bitono, nandikwongeddeko bino na bino.
9 Kiki ekikunyoomezza ekigambo kya Mukama okukola ebiri mu maaso ge ebibi? osse Uliya Omukiiti n'ekitala n'otwala mukazi we okuba mukazi wo, a'omutta n'ekitala eky'abaana ba Amoni.
10 Kale nno ekitala tekiivenga mu nnyumba yo ennaku zonna; kubanga onnyoomye nze n'otwala mukazi wa Uliya Omukiiti okuba mukazi wo.
11 Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Laba, ndikuyimusizaako obubi obuliva mu nnyumba yo ggwe, era nditwala bakazibo mu maaso go ne mbawa mulii raanwa wo, era alisula ne bakazi bo mu maaso g'enjuba eno.
12 Kubanga ggwe wakikola mu kyama: naye nze ndikola ekigambo ekyo mu maaso ga Isiraeri yenna ne mu maaso g'enjuba.
13 Awo Dawudi n'agamba Nasani nti Nnyonoonye Mukama. Nasani n'agamba Dawudi nti Mukama naye aggyeewo ekyonoono kyo; toofe.
14 Naye kubanga owadde abalabe Mukama ebbanga ddene okukola olw'ekikolwa ekyo, omwana akuzaaliddwa talirema kufa naye.
15 Awo Nasani ne yeddirayo mu nnyumba ye. Awo Mukama n'alwaza omwana muka Uliya gwe yazaalira Dawudi, n'alwala nnyo.
16 Dawudi kyeyava amwegayiririra omwana eri Katonda; Dawudi n'asiiba n'ayingira n'agalamira ku ttaka okukeesa obudde.
17 Awo abakadde ab'omu nnyumba ye ne bagolokoka (ne bayimirira) w'ali, okumuyimusa okuva wansi: naye n'atakkiriza so teyalya mmere nabo.
18 Awo olwatuuka ku lunaku olw'omusanw omwana n'afa. Abaddu ba Dawudi ne batya okumubuulira omwana ng'afudde: kubanga baayogera nti Laba, omwana bwe yali ng'akyali mulamu ne twogera naye, n'atawulira ddoboozi lyaffe: kale aneeraliikirira atya bwe tunaamubuulira omwana ng'afudde?
19 Naye Dawudi bwe yalaba abaddu be nga boogerera wamu ekyama, Dawudi n'ategeera omwana ng'afudde: Dawudi n'agamba abaddu be nti Omwana afudde? Ne boogera nti Afudde.
20 Awo Dawudi n'ava wansi n'agolokoka n'anaaba n'asaaba amafuta n'awaanyisa ebyambalo bye; n'ajja mu nnyumba ya Mukama n'asinza: n'alyoka ajja mu nnyumba ye; awo bwe yayagala ne bateeka emmere mu maaso ge n'alya.
21 Awo abaddu be ne bamugamba nti Kigambo ki kino ky'okoze? Wasiiba n'okaabira omwana bwe yali ng'akyali mulamu; naye omwana ng'afudde, n'ogolokoka n'olya ku mmere.
22 N'agamba nti Omwana bwe yali ng'akyali mulamu, nasiiba ne nkaaba: kubanga nayogera nti Ani amanyi oba nga Mukama tankwatirwe kisa omwana abe omulamu.
23 Naye kaakano ng'amaze okufa, nandisiibidde ki? nnyinza okumukomyawo? nze ndigenda gy'ali naye ye talikomawo gye ndi.
24 Dawudi n'akubagiza Basuseba mukazi we n'ayingira gy'ali n'asula naye: n'azaala omwana ow'obulenzi n'amutuuma erinnya lye Sulemaani. Mukama n'amwagala;
25 Mukama n'atuma mu mukono gwa Nasani nnabbi, n'amutuuma erinnya lye Yedidiya, ku lwa Mukama.
26 Awo Yowaabu n'alwana ne Labba eky'abaana ba Amoni n'amenya ekibuga kya kabaka.
27 Awo Yowaabu n'atumira Dawudi ababaka n'ayogera nti Nnwanye ne Labba, n'okumenya mmenye ekibuga eky'amazzi.
28 Kale nno kuŋŋaanya abantu bonna abasigaddewo ozingize ekibuga okimenye: nneme okumenya ekibuga ne bakituuma erinnya lyange.
29 Dawudi n'akuŋŋaanya abantu bonna n'agenda e Labba, n'alwana nakyo n'akimenya.
30 N'aggya engule ya kabaka waabwe ku mutwe gwe; n'obuzito bwayo bwali talanta eya zaabu, ne mu yo nga mulimu amayinja ag'omuwendo omungi; n'eteekebwa ku mutwe gwa Dawudi. N'aggyamu omunyago ogw'ekibuga, mungi nnyo nnyini.
31 N'aggyamu abantu abaali omwo, n'abassa wansi w'emisomeeno n'amannyo ag'ekyuma n'embazzi ez'ekyuma, n'abayisa mu kyokero ky'amatoffaali: awo bw'atyo bwe yakola ebibuga byonna eby'abaana ba Amoni. Dawudi n'abantu bonna ne baddayo e Yerusaalemi.