1 Awo olwatuuka oluvannyuma lw'ebyo Dawudi n'abuuza Mukama ng'ayogera nti Nnyambuke mu kyonna ku bibuga bya Yuda? Mukama n'amugamba nti Yambuka. Dawudi n'ayogera nti Naayambuka wa? N'ayogera nti E Kebbulooni.
2 Awo Dawudi n'ayambukayo, era ne bakazi be bombi, Akinoamu Omuyezuleeti ne Abbigayiri mukazi wa Nabali Omukalumeeri.
3 N'abasajja be abaali naye n'abambusa, buli. muntu n'ab'omii nnyumba ye: ne babeera mu bibuga eby'omu Kebbulooni.
4 Awo abasajja ba Yuda ne bajja, ne bafukira eyo amafuta ku Dawudi okuba kabaka w'ennyumba ya Yuda. Ne bamubuulira Dawudi nti ab'e Yabesugireyaadi be baaziika Sawulo.
5 Awo Dawudi n'atumira ab'e Yabesugireyaadi ababaka n'abagamba nti Muweebwe Mukama omukisa, kubanga mwalaga mukama wammwe ekisa kino, ye Sawulo, ne mumuziika.
6 Era nno Mukama abalagenga ekisa n'amazima: nange ndibasasula ekisa kino, kubanga mwakola ekigambo kino.
7 Kale nno emikono gyammwe gibe n'amaanyi, era mube bazira: kubanga Sawulo mukama wammwe afudde, era ennyumba ya Yuda banfuseeko amafuta okuba kabaka waabwe.
8 Era Abuneeri mutabani wa Neeri, omukulu w'eggye lya Sawulo, yali atutte Isubosesi mutabani wa Sawulo, n'amusomosa n'amutwala e Makanayimu;
9 n'amufuula kabaka w'e Gireyaadi era ow'Abasuuli era ow'e Yezuleeri era owa Efulayimu era owa Benyamini era owa Isiraeri yenna.
10 (Isubosesi mutabani wa Sawulo yali yaakamaze emyaka ana bwe yatanula okufuga Isiraeri, n'afugira emyaka ebiri.) Naye ennyumba ya Yuda ne bagoberera Dawvdi.
11 N'ebiro Dawudi bye yamala nga ye kabaka w'ennyumba ya Yuda mu Kebbulooni byali myaka musanw ko emyezi mukaaga.
12 Awo Abuneeri mutabani wa Neeri n'abaddu ba Isubosesi mutabani wa Sawulo ne bava e Makanayimu ne bagenda e Gibyoni.
13 Yowaabu mutabani wa Zeruyiya n'abaddu ba Dawudi ne bafuluma ne basisinkan? nabo ku kidiba eky'e Gibyoni; ne batuula, bano emitala w'eno w'ekidiba, na bali emitala w'eri w'ekidiba.
14 Awo Abuneeri n'agamba Yowaabu nti Nkwegayiridde, abalenzi bagolokoke bazannyire mu maaso gaffe. Yowaabu n'ayogera nti Bagolokoke.
15 Awo ne bagolokoka ne basomoka nga babaliddwa; aba Benyamini ne Isubosesi mutabani wa Sawulo kkumi na babiri, ne ku baddu ba Dawudi kkumi na babiri.
16 Ne bakwata buli muntu munne omutwe, ne bafumita buli muntu olubiriizi Iwa mutme n'ekitala; awo ne bagwira wamu: ekifo ekyo kyekyava kiyitibwa Kerukasu-kazzulimu, ekiri mu Gibyoni.
17 Olutalo ne luba lukakanyavu nnyo ku lunaku olwo; Abuneeri n'agobebwa n'abasajja ba Isiraeri mu maaso g'abaddu ba Dawudi.
18 Era batabani ba Zeruyiya bonsatule baali eyo, Yowaabu ne Abisaayi ne Asakeri: era Asakeri yali wa mbiro ng'empeewo ey'omu ttale.
19 Asakeri n'agoberera Abuneeri; awo ng'agenda nga takyama ku mukono ogwa ddyo newakubadde ku gwa kkono okugoberera Abuneeri.
20 Awo Abuneeri n'akebuka n'ayogera nti Asakeri, ggwe wuuyo? N'addamu nti Nze nzuuno.
21 Awo Abuneeri n'amugamba nti Kyama ku mukono gwo ogwa ddyo oba ku gwa kkono, okwate omu ku balenzi weetwalire ebyokulwanyisa bye. Naye Asakeri n'atakkiriza kukyama obutamugoberera.
22 Awo Abuneeri n'agamba Asakeri nate nti Kyama obutangoberera: kiki ekinaaba kikunkubya wansi? awo ndimuyimusiza ntya amaaso gange Yowaabu muganda wo?
23 Naye n'agaana okukyama: Abuneeri kyeyava amufumita olubuto n'omuwunda gw'effumu, effumu ne liyitamu ne ligukkira ennyuma we; n'agwira awo n'afiira mu kifo omwo: awo olwatuuka abo bonna abaatuuka mu kifo Asakeri we yagwira n'afa ne bayimirira.
24 Naye Yowaabu ne Abisaayi ne bagoberera Abuneeri: awo enjuba n'egwa nga batuuse ku lusozi Amma, oluli mu maaso g'e Giya mu kkubo ery'eddungu ery'e Gibyoni.
25 Awo abaana ba Benyamini ne bakuntlaanira ku Abuneeri, ne bafuuka ekibiina kimu, ne bayimirira ku ntikko y'olusozi.
26 Awo Abuneeri n'akoowoola Yowaabu n'ayogera nti Ekitala kirirya ennaku zonna? tomanyi nga walibaawo obubalagaze ku nkomerero ey'oluvannyuma?. kale olituusa wa obutalagira bantu kuddayo obutagoberera baganda baabwe?
27 Yowaabu n'ayogera nti Katonda nga Wall omulamu, singa toyogedde, kale enkya abantu tebandiremye kugenda, so tebandigoberedde buli muntu muganda we.
28 Awo Yowaabu n'afuuwa ekkondeere abantu bonna ne bayimirira, so tebeeyongera kugoberera Isiraeri, so tebaalwana nate lwa kubiri.
29 Awo Abuneeri n'abasajja be ne batambula mu Alaba ne bakeesa obudde; ne basomoka Yoludaani, ne bayita mu Bisulooni yonna ne bajja e Makanayimu.
30 Awo Yowaabu n'addayo ng'alese okugoberera Abuneeri: awo bwe yakuŋŋaanya abantu bonna, ku baddu ba Dawudi nga kubuzeeko abasajja kkumi na mwenda ne Asakeri.
31 Naye abaddu ba Dawudi baali bafumise bwe batyo ku Benyamini n'abasajja ba Abuneeri n'okufa ne wafa abasajja ebikumi bisatu mu nkaaga.
32 Ne basitula Asakeri ne bamuziika mu ntaana ya kitaawe eyali mu Besirekemu. Yowaabu n'abasajja be ne batambula ne bakeesa obudde, ne bubakeererera e Kebbulooni.