Home |  | Audio |  | Index |  | Verses

2 Samwiri 2 Samuel

Chapter : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24
1 bino bye bigambo bya Dawudi eby'enkomerero. Dawudi mutabani wa Yese ayogera, Era omusajja eyagulumizibwa waggulu ayogera, Katonda wa Yakobo gwe yafukako amafuta, Era asanyusa olwa zabbuli za Isiraeri:
2 Omwoyo gwa Mukama gw'ayogerera mu nze, Ekigambo kye ne kiba ku lulimi lwange.
3 Katonda wa Isiraeri yayogera, Lwazi lwa Isiraeri yaŋŋamba: Omuntu afuga abantu n'obutuukirivu, Afuga ng'atya Katonda,
4 Aliba ng'omusana gw'enkya, enjuba bw'evaayo, Obudde obw'enkya obutaliiko bire; Omuddo omugonvu (bwe guva) mu ttaka, Olw'okwaka okutangalijja enkuba ng'ekedde.
5 Mazima ennyumba yange si bw'eri bw'etyo eri Katonda; Naye yalagaana nange endagaano eterivaawo, Eyeeteeseteese mu byonna era ey'enkalakkalira; Kubanga bwe bulokozi bwange bwonna era kye nneegomba kyonna, Newakubadde nga takikuza.
6 Naye abatatya Katonda bonna baliba ng'amaggwa ag'okusindikibwa, Kubanga tegayinza kukwatibwa na mukono:
7 Naye omuntu agakomako Kimugwanira okubeerera ddala n'ekyuma n'olunyago lw'effumu; Era galyokerwa ddala omulizo mu kifo kyago.
8 Gano ge mannya ag'abasajja ab'amaanyi Dawudi be yalina: Yosebubasusebesi Omutakemoni, omukulu w'sbaami; era bwe yali bw'atyo Adino Omwezeni, eyalwana n'olunaana abattirwa awamu.
9 Ereazaali n'amuddirira mutabani wa Dodayi omwana w'Omwakoki omu ku basajja abasatu ab'amaanyi abaali ne Dawudi, bwe baasoomoza Abafirisuuti abaali bakuŋŋaanidde eyo okulwana, n'abasajja ba Isiraeri nga bagenze:
10 n'agolokoka n'atta Abafirisuuti omukono gwe ne gukoowa, omukono gwe ne gwegatta n'ekitala: Mukama n'aleeta okuwar.gula okunene ku lunaku olwo; abantu ne baddayo ennyuma we okunyaga obunyazi.
11 Ne Samma mutabani wa Agee Omukalali ye yamuddirira. Awo Abafirisuuti baali bakuŋŋaanye okuba ekibiina awaali omusiri ogw'ebijanjaalo; abantu ne badduka Abafirisuuti.
12 Naye ye n'ayimirira wakati mu musiri n'agukuuma n'atta Abafirisuuti: Mukama n'aleeta okuwangula okunene.
13 N'abasatu ku bakulu amakumi asatu ne baserengeta ne bajja eri Dawudi mu biro eby'amakungula eri empuku Adulamu; n'ekibiina ky'Abafirisuuti baali basiisidde mu kiwonvu Lefayimu.
14 Era Dawudi yali mu mpuku mu biro ebyo n'Abafirisuuti ab'omu kigo baali mu Besirekemu.
15 Awo Dawudi ne yeegomba n'ayogera nti Singa wabaddewo anaanywesa amazzi agava mu luzzi olw'e Besirekemu oluli ku wankaaki!
16 N'abasajja abasatu ab'amaanyi ne bawaguza mu ggye ly'Abafirisuuti ne basena amazzi mu luzzi olw'e Besirekemu, olwali ku wankaaki, ne bagatwala ne bagaleetera Dawudi: naye n'atakkiriza kunywako, naye n'agafuka eri Mukama.
17 N'ayogera nti Kiddire eri, ai Mukama, nze okukola kino: nnywe omusaayi gw'abasajja abagenze n'obulamu bwabwe? kyeyava agaana okunywako. Ebyo abasajja abasatu ab'amaanyi bye baakola.
18 Ne Abisaayi muganda wa Yowaabu mutabani wa Zeruyiya ye yali omukulu w'abasatu abo. N'agalula effumu lye okulwana n'ebikumi bisatu n'abatta n'aba n'erinnya mu abo abasatu:
19 Teyali wa kitiibwa okusinga abasatu abo? kyeyava afuuka omukulu waabwe: era naye teyatuuka ku basatu abo ab'olubereberye.
20 Ne Benaya mutabani wa Yekoyaada omwana w'omusajja omuzira ow'e Kabuzeeri, eyakola eby'amaanyi, n'atta batabani ba Aliyeri wa Mowaabu bombi: era yaserengeta n'atta empologoma wakati mu bunnya mu biro eby'omuzira:
21 era yatta Omumisiri, omusajja omulungi: era Omumisiri yali akutte effumu mu mukono gwe; naye n'aserengeta gy'ali ng'alina omuggo, n'asika effumu n'aliggya mu mukono gw'Omumisiri n'amutta n'effumu lye ye.
22 Ebyo Benaya mutabani wa Yekoyaada bye yakola n'aba n'erinnya mu basatu abo ab'amaanyi.
23 Yasinga ekitiibwa abo amakumi asatu naye teyatuuka ku basatu abo ab'olubereberye. Dawudi n'amufuula omukulu w'abakuumi.
24 Ne Asakeri muganda wa Yowaabu yali wa ku makumi asatu abo: Erukanani mutabani wa Dodo Omubesirekemu;
25 Samma Omukalodi; Erika Omukalodi;
26 Kerezi Omupaluti, Ira mutabani wa Ikkesi Omutekowa;
27 Abiyezeri Omwanasosi, Mebunnayi Omukussai;
28 Zalumoni Omwakowa, Makalayi Omunetofa;
29 Kerebu mutabani wa Baana Omunetofa, Ittayi mutabani wa Libayi ow'e Gibeya eky'abaana ba Benyamini;
30 Benaya Omupirasoni, Kiddayi ow'oku bugga obw'e Geyaasi;
31 Abi-aluboni Omwalubasi, Azumavesi Omubalukumi;
32 Eriyaba Omusaaluboni, batabani ba Yaseni, Yonasaani;
33 Samma Omukalali, Akiyamu mutabani wa Salali Omwalali;
34 Erifereti mutabani wa Akasubayi omwana w'omu Maakasi, Eriyamu mutabani wa Akisoferi Omugiro;
35 Kezulo Omukalumeeri, Paalayi Omwalubi;
36 Igali mutabani wa Nasani ow'e Zoba, Bani Omugaadi;
37 Zereki Omwamoni, Nakalayi Omubeerosi, abaatwaliranga ebyokulwanyisa Yowaabu mutabani wa Zeruyiya;
38 Ira Omuyisuli, Galebu Omuyisuli;
39 Uliya Omukiiti: omuwendo gwa bonna amakumi asatu mu musanvu.

Top |  | Next Page  |  | Index |  | Home
Full online version here [with search engine, multilingual display and audio Bible]