Home |  | Audio |  | Index |  | Verses

2 Samwiri 2 Samuel

Chapter : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24
1 1 Dawudi n'ayogera nti Wakyaliwo asigaddewo ku nnyumba ya Sawulo, mmukole eby'ekisa ku lwa Yonasaani?
2 Awo waaliwo ku nnyumba ya Sawulo omuddu erinnya lye Ziba, ne bamuyita eri Dawudi; kabaka n'amugamba nti Ggwe Ziba? N'ayogera nti Omuddu wo ye wuuyo.
3 Kabaka n'ayogera nti Tewakyali wa nnyumba ya Sawulo mmukole eby'ekisa kya Katonda? Ziba n'agamba kabaka nti Wakyaliwo omwana wa Yonasaani, eyalemala ebigere.
4 Kabaka n'amugamba nti Ali ludda wa? Ziba n'agamba kabaka nti Laba, ali mu nnyumba ya Makiri mutabani wa Ammiyeri mu Lodebali.
5 Awo kabaka Dawudi n'atuma n'amuggya mu nnyumba ya Makiri mutabani wa Ammiyeri mu Lodebali.
6 Awo Mefibosesi mutabani wa Yonasaani mutabani wa Sawulo n'ajja eri Dawudi n'avuunama amaaso ge ne yeeyanza. Dawudi n'ayogera nti Mefibosesi. N'addamu nti Laba omuddu wo.
7 Dawudi n'amugamba nti Totya: kubanga siireme kukukola bya kisa ku lwa Yonasaani kitaawo, era ndikuddiza ebyalo byonna ebya Sawulo jjajjaawo; era onoolyanga emmere ku mmeeza yange ennaku zonna.
8 Ne yeeyanza n'ayogera nti Omuddu wo ye ani ggwe okutunuulira embwa enfu nga nze bwe ndi?
9 Awo kabaka n'ayita Ziba, omuddu wa Sawulo, n'amugamba nti Byonna ebyabanga ebya Sawulo n'eby'ennyumba ye yonna mbiwadde omwana wa mukama wo.
10 Naawe onoomulimiranga ettaka, ggwe ne batabani bo n'abaddu bo; era onooyingizanga ebibala omwana wa mukama wo abenga ne by'anaalyanga: naye Mefibosesi omwana wa mukama wo anaalyanga emmere ennaku zonna ku mmeeza yange. Era Ziba yalina abaana kkumi na bataano n'abaddu amakumi abiri.
11 Awo Ziba n'agamba kabaka nti Mukama wange kabaka nga bw'alagidde omuddu we, bw'atyo omuddu wo bw'anaakolanga. Mefibosesi, bwe yayogera kabaka, anaalyanga ku mmeeza yange ng'omu ku baana ba kabaka.
12 Era Mefibosesi yalina omwana omuto omulenzi, erinnya lye Mikka. Ne bonna abaabeera mu nnyumba ya Ziba baali baddu ba Mefibosesi.
13 Awo Mefibosesi n'abeera mu Yerusaalemi: kubanga yalyanga bulijjo ku mmeeza ya kabaka; era yalemala ebigere bye byombi.

Top |  | Next Page  |  | Index |  | Home
Full online version here [with search engine, multilingual display and audio Bible]