1 Awo ne waba enjala ku mirembe gya Dawudi emyaka esatu buli mwaka nga guddirira gunnaagwo; Dawudi n'anoonya amaaso ga Mukama. Mukama n'ayegera nti Lwa Sawulo na lwa nnyumba ye ey'omusaayi, kubanga yatta Abagibyoni.
2 Kabaka n'ayita Abagibyoni n'abagamba: (era Abagibyoni tebaali ba ku baana ba Isiraeri naye ba ku kitimdu ekyasigala eky'Abamoli; n'abaana ba Isiraeri baali babalayiridde: Sawulo n'ayagala okubatta ng'akwatiddwa obuggya olw'abaana ba Isiraeri ne Yuda:)
3 Dawudi n'agamba Abagibyoni nti Naabakolera ki? era naatangirira na ki, mulyoke musabire omukisa obusika bwa Mukama?
4 Awo Abagibyoni ne bamugamba nti si kigambo kya ffeeza oba zaabu eri ffe ne Sawulo oba nnyumba ye; so tekitusaanira kutta muntu yenna mu Isiraeri. N'ayogera nti Kyemunaayogera naakibakolera.
5 Ne bagamba kabaka nti Omusajja eyatuzikiriza n'atusalira amagezi, tumalibwewo obutabeera mu nsalo zonna eza Isiraeri,
6 baweeyo eri ffe abasajja musanvu ku batabani be, tubawanike eri Mukama mu Gibeya ekya Sawulo omulonde wa Mukama. Kabaka n'ayogera nti Ndibawaayo.
7 Naye kabaka n'asonyiwa Mefibosesi mutabani wa Yonasaani mutabani wa Sawulo, olw'ekirayiro kya Mukama ekyali wakati waabwe, wakati wa Dawudi ne Yonasaani mutabani wa Sawulo.
8 Naye kabaka n'atwala batabani ba Lizupa muwala wa Aya bombi, be yazaalira Sawulo, Alumoni ne Mefibosesi: ne batabani ba Mikali muwala wa Sawulo abataano, be yazaalira Aduliyeri mutabani wa Baluzirayi Omumekolasi:
9 n'abawaayo mu mikono gy'Abagibyoni, ne babawanikira ku lusozi mu maaso ga Mukama, ne bafiira wamu (bonna) omusanvu: era battibwa mu biro eby'amakungula nga kyebijje bisooke, amakungula ga sayiri nga gatanudde okubaawo.
10 Awo Lizupa muwala wa Aya n'addira ebibukutu n'abyeyalira ku lwazi, okuva ku makungula we gaasookera okutuusa amazzi lwe gabafukibwako agava mu ggulu; n'ataganya nnyonyi za mu bbanga kubagwako emisana newakubadde ensolo ez'omu nsiko ekiro.
11 Ne babuulira Dawudi Lizupa muwala wa Aya, omuzaana wa Sawulo, bye yakola.
12 Dawudi n'agenda n'aggya amagumba ga Sawulo n'amagumba ga Yonasaani mutabani we ku basajja ab'e Yabesugireyaadi, abaali bagabbye mu luguudo olw'e Besusani Abafirisuuti gye baagawanikira ku lunaku Abafirisuuti kwe battira Sawulo e Girubowa:
13 n'aggyayo amagumba ga Sawulo n'amagumba ga Yonasaani mutabani we; ne bakuŋŋaanya amagumba g'abo abaawanikibwa.
14 Ne baziika amagumba ga Sawulo ne Yonasaani mutabani we mu nsi ya Benyamini mu Zeera mu ntaana ya Kiisi kitaawe: ne bakola byonna kabaka bye yalagira. Awo oluvannyuma lw'ebyo Katonda ne yeegayirirwa ensi.
15 Awo Abafirisuuti ne balwana nate ne Isiraeri; Dawudi n'aserengeta n'abaddu be wamu naye n'alwana n'Abafirisuuti: Dawudi n'ayongobera.
16 Awo Isubibenobu ow'oku baana b'erintu liri, obuzito bw'effumu lye sekeri za kikomo ebikumi bisatu, nga yeesibye (ekitala) ekiggya, n'ayagala okutta Dawudi.
17 Naye Abisaayi mutabani wa Zeruyiya n'amuddukirira n'afumita Omufirisuuti n'amutta. Awo abasajja ba Dawudi ne bamulayiyira nga boogera nti Tokyatabaala naffe oleme okuzikiza ettabaaza ya Isiraeri.
18 Awo olwatuuka oluvannyuma lw'ebyo ne waba nate entalo n'Abafirisuuti e Gobu: awo Sibbekayi Omukusasi n'atta Safu ow'oku baana b'erintu liri.
19 Awo ne waba nate entalo n'Abafirisuuu e Gobu; awo Erukanani mutabani wa Yaale-ole-gimu Omubesirekemu n'atta Goliyaasi Omugitti, olunyago lw'effumu lye lwaliŋŋnga omuti ogulukirwako engoye.
20 Ne waba nate entalo e Gaasi, ne wabaayo omusajja omuwanvu ennyo, eyalina engalo omukaaga ku buli mukono n'obugere omukaaga ku buli kigere, omuwendo gwabyo abiri mu bina; era naye yazaalirwa erintu liri.
21 Awo bwe yasoomoza Isiraeri, Yonasaani mutabani wa Simeeyi muganda wa Dawudi n'amutta.
22 Abo abaana baazaalirwa erintu liri e Gaasi; ne bagwa n'omukono gwa Dawudi n'omukono gw'abaddu be.