1 Awo Dawudi n'abala abantu abali naye n'abateekako abaami b'enkumi n'abaami b'ebikumi.
2 Dawudi n'agaba eggye, ekitundu eky'okusatu nga kiri wansi w'omukono gwa Yowaabu n'ekitundu eky'okusatu nga kiri wansi w'omukono gwa Abisaayi mutabani wa Zeruyiya, muganda wa Yowaabu, n'ekitundu eky'okusatu nga kiri wansi w'omukono gwa Ittayi Omugitti. Kabaka n'agamba abantu nti Nange mwene siireme kutabaala nammwe.
3 Naye abantu ne boogera nti Tootabaale ggwe: kubanga ffe bwe tunadduka tebasseeyo mwoyo eri ffe; so ffe bwe tunaafaako ekitundu kyaffe, tebasseeyo mwoyo eri ffe: naye ggwe ku ffe wenkana kakumi omuwendo: kale nno ekisinga obulungi weeteeketeeke okutudduukirira ng'oyima mu kibuga.
4 Kabaka n'abagamba nti Kye musiima kye nnaakola. Kabaka n'ayimirira ku mabbali g'omulyango, abantu bonna ne bafuluma ebikumi n'enkumi.
5 Awo kabaka n'alagira Yowaabu ne Abisaayi ne Ittayi ng'ayogera nti Mumukwata mpola ku lwange omulenzi, Abusaalomu. Abantu bonna ne bawulira kabaka bwe yalagira abaami bonna ebigambo bya Abusaalomu.
6 Awo abantu ne batabaala okulwana ne Isiraeri: olutalo ne luba mu kibira kya Efulayimu.
7 Awo abantu ba Isiraeri ne bagobebwa eyo mu maaso g'abaddu ba Dawudi, ne waba eyo ku lunaku olwo okuttibwa kungi okw'abasajja obukumi bubiri.
8 Kubanga olutalo lwabuna eyo ensi yonna: ekibira ne kitta abantu bangi ku lunaku olwo okusinga ekitala be kyatta.
9 Awo Abusaalomu yali ali awo n'asisinkana n'abaddu ba Dawudi. Abusaalomu ne yeebagala ennyumbu ye, ennyumbu n'eyita wansi w'amatabi amaziyivu ag'omwera omunene, omutwe gwe ne gukwata ku mwera, n'asitulibwa wakati w'eggulu n'ensi; ennyumbu gye yali yeebagadde n'etambula mu maaso.
10 Ne waba omusajja eyakiraba n'abuulira Yowaabu n'ayogera nti Laba, ndabye Abusaalomu ng'awaaikiddwa ku mwera.
11 Yowaabu n'agamba omusajja eyamubuulira nti Okulaba nno okirabye, kale kiki ekikulobedde okumukubira eyo wansi? nange nandikuwadde ebitundu ebya ffeeza kkumi n'oiukoba.
12 Omusajja n'agamba Yowaabu nti Newakubadde nga ŋŋenda okuweebwa mu ngalo zange ebitundu ebya ffeeza olukumi, naye sandigololedde mukono gwange ku mwana wa kabaka: kubanga twali tuwulira kabaka n'alagira ggwe ne Abisaayi ne Ittayi ng'ayogera nti Mwekuume waleme okubaawo anaakoma ku mulenzi Abusaalomu.
13 Naye singa nkoze eby'obulimba okutta obulamu bwe, (so tewali kigambo ekikwekebwa kabaka,) kale ggwe kennyini wandyeggyeeyo.
14 Awo Yowaabu n'ayogera nti Siyinza kutootatoota naawe bwe ntyo. N'addira obusaale busatu mu ngalo ze n'abumufumita Abusaalomu mu mutima, bwe yali ng'akyali mulamu wakati mu mwera.
15 N'abalenzi kkumi abaatwalanga ebyokulwanyisa ebya Yowaabu ne bazingiza Abusaalomu ne bamufumita ne bamutta.
16 Awo Yowaabu n'afuuwa ekkondeere abantu ne bakomawo okugoberera Isiraeri: kubanga Yowaabu yabaziyiza.
17 Ne batwala Abusaalomu ne bamusuula mu bunnya buli obunene mu kibira, ne bamutuumako entuumo y'amayinja nnene nnyo: awo Isiraeri yenna ne baddukira buli muntu mu weema ye.
18 Era Abusaalomu bwe yali ng'akyali mulamu yaddira empagi eri mu kiwonvu kya kabaka n'agyesimbira: kubanga yayogera nti Sirina mwana kwe balijjuukirira erinnya lyange: n'ayita empagi erinnya lye ye bwe lyali: era eyitibwa kijjukizo kya Abusaalomu ne leero.
19 Awo Akimaazi mutabani wa Zadooki n'ayogera nti Ka nziruke kaakano ntwalire kabaka ebigambo Mukama bw'amuwalanidde eggwanga ku balabe be.
20 Yowaabu n'amugamba nti Tootwale bigambo leero, naye olibitwala olulala: naye leero tootwale bigambo, kubanga omwana wa kabaka afudde.
21 Awo Yowaabu n'agamba Omukusi nti Genda obuulire kabaka byolabye. Omukusi n'akutamira Yowaabu n'adduka.
22 Awo Akimaazi mutabani wa Zadooki ne yeeyongera okugamba Yowaabu omulundi ogw'okubiri nti Ka mmale gadduka nange, nkwegayiridde, ngoberere Omukusi. Yowaabu n'ayogera nti Oyagalira ki okudduka; mwana wange, ataaweebwe mpeera olw'ebigambo?
23 (N'ayogera nti) Naye ka mmale gadduka. N'amugamba nti Dduka. Awo Akimaazi n'addukira mu kkubo ery'Olusenyi n ayisa Omukusi.
24 Awo Dawudi yali atudde wakati w'emiryango ebiri: omukuumi n'alinnya waggulu ku wankaaki ku bbugwe, n'ayimusa amaaso ge n'atunula, kale, laba, omusajja ng'adduka yekka.
25 Omukuumi n'ayogerera waggulu n'abuulira kabaka. Kabaka n'ayogera nti Oba ng'ali omu, aleese ebigambo mu kamwa ke. N'ayanguwa okujja n'asembera kumpi.
26 Omukuumi n'alaba omusajja ow'okubiri ng'adduka: omukuumi n'akoowoola omuggazi n'ayogera nti Laba, omusajja ow'okubiri ng'adduka yekka. Kabaka n'ayogera nti Era naye aleese ebigambo.
27 Omukuumi n'ayogera nti Ndowooza ng'enziruka y'oyo akulembedde eritpanga enziruka ya Akimaazi mutabani wa Zadooki. Kabaka n'ayogera nti Ye musajja omulungi n'ebigambo by'azze nabyo birungi.
28 Akimaazi n'akoowoola n'agamba kabaka nti Mirembe. N'avuunama amaaso ge mu maaso ga kabaka n'ayogera nti Atenderezebwe Mukama Katonda wo, awaddeyo abasajja abaagololera omukono gwabwe ku mukama wange kabaka.
29 Kabaka n'ayogera nti Omulenzi Abusaalomu gy'ali mirembe? Akimaazi n'addamu nti Yowaabu bwe yatuma omuddu wa kabaka, nze omuddu wo, nalabye oluyoogaano olunene, naye ne simanya bwe lwabadde.
30 Kabaka n'ayogera nti Weekooloobye oyimirire eno. Ne yeekooloobya n'ayimirira buyimirizi.
31 Kale, laba, Omukusi n'ajja; Omukusi n'ayogera nti Ndeetedde mukama wange kabaka ebigambo: kubanga Mukama awalanye eggwanga lye leero ku abo bonna abaakugolokokerako.
32 Kabaka n'agamba, Omukusi nti Omulenzi Abusaalomu gy'ali mirembe? Omukusi n'addamu nti Abalabe ba mukama wange kabaka n'abo bonna abaakugolokokerako okukukola akabi babe ng'omulenzi oyo bw'ali.
33 Awo kabaka ne yeeraliikirira nnyo n'alinnya n'agenda mu nju eri ku wankaaki n'akaaba amaziga: awo ng'agenda n'ayogera bw'atyo nti Ai, mwana wange Abusaalomu, mwana wange, mwana wange Abusaalomu! singa nkufiiridde, ai Abusaalomu, mwana wange, mwana wange!