Home |  | Audio |  | Index |  | Verses

Okubala Numbers

Chapter : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29 30 31 32 33 34 35 36
1 Mukama n'agamba Musa nti
2 Yogera n'abaana ba Isiraeri obagambe nti Bwe mulimala okutuuka mu nsi gye munaatuulangamu, gye mbawa,
3 era nga mwagadde okuwaayo ekiweebwayo n'omuliro eri Mukama, ekiweebwayo elryokebwa oba ssaddaaka, okutuukiriza obweyamo, oba okuba kye muwaayo ku bwammwe, oba ku mbaga zammwe ezaalagirwa, okunyookereza Mukama evvumbe eddungi, ku nte oba ku ndiga:
4 kale oyo anaawangayo ekitone kye anaawangayo eri Mukama ekiweebwayo eky'obutta eky'ekitundu eky'ekkumi ekya efa ey'obutta obulungi obutabuddwamu ekitundu eky'okuna ekya ini ey'amafuta:
5 n'envinnyo okuba ekiweebwayo ekyokunywa, ekitundu eky'okuna ekya ini, onootegekanga wamu n'ekiweebwayo ekyokebwa oba olwa ssaddaaka, olwa buli mwana gw'endiga.
6 Oba olw'endiga ennume onootegekanga okuba ekiweebwayo eky'obutta ebitundu bibiri eby'ekkumi ebya efa ey'obutta obulungi obutabuddwamu ekitundu eky'okusatu ekya ini ey'amafuta:
7 era okuba ekiweebwayo ekyokunywa onoowangayo ekitundu eky'okusatu ekya ini ey'envinnyo, ey'akawoowo eri Mukama.
8 Era bw'onootegekanga ente okuba ekiweebwayo ekyokebwa oba okuba ssaddaaka, okutuukiriza obweyamo, oba okuba ebiweebwayo olw'emirembe eri Mukama:
9 kale anaawangayo wamu n'ente ekiweebwayo eky'obutta eky'ebitundu bisatu eby'ekkumi ebya efa ey'obutta obulungi obutabuddwamu ekitundu kya ini ey'amafuta.
10 Era onoowangayo okuba ekiweebwayo ekyokunywa kitundu kya ini ey'envinnyo, okuba ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro, eky'akawoowo eri Mukama.
11 Bwe kityo bwe kinaakolebwanga olwa buli nte, oba olwa buli ndiga ennume, oba olwa buli mwana gw'endiga omulume, oba abaana b'embuzi.
12 Ng'omuwendo gwe munaateekanga bwe gunaabanga, bwe munaakolanga bwe mutyo kinneemu ng'omuwendo gwazo bwe gunaabanga.
13 Enzaalwa bonna banaakolanga ebyo bwe batyo, bwe banaawangayo ekiweebwayo ekiko lebwa n'omuliro, eky'ewumbe eddungi eri Mukama:
14 Era omugenyi bw'anaatuulanga nammwe, oba buli anaabanga mu mmwe mu mirembe gyammwe gyonna, era ng'ayagadde okuwaayo ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro, eky'ewumbe eddungi eri Mukama; nga mmwe bwe mukola, naye bw'anaakolanga bw'atyo.
15 Mu kibiina, wanaabangawo etteeka limu gye mull n'eri omugenyi anaatuulanga mu mmwe, etteeka eritaliggwaawo mu mirembe gyammwe gyonna: nga mmwe bwe muli, n'omugenyi bw'anaabanga bw'atyo mu maaso ga Mukama.
16 Etteeka limu n'a bulombolombo bumu binaabanga gye muli n'eri omugenyi anaatuulanga nammwe.
17 Mukama n'agamba Musa nti
18 Yogera n'abaana ba Isiraeri obagambe nti Bwe multituuka mu nsi gye mbatwala, awo olunaatuu kanga,
19 bwe munaalyanga ku mugaati ogw'ensi, munaawangayo ekiweebwayo ekisitulibwa eri Mukama.
20 Ku mugoyo gwammwe ogw'olubereberye kwe munaggyanga omugaati ne muguwaayo okuba ekiweebwayo ekisitulibwa: nga bwe mukola ekiweebwayo ekisitulibwa eky'omu guuliro, bwe munaakisitulanga bwe mutyo.
21 Ku mugoyo gwammwe ogw'olubereberye kwe munaggyanga okuwa Mukama ekiweebwayo ekisitulibwa mu mirembe gyammwe gyonna.
22 Era bwe munaasobyanga ne mutakwata biragiro bino byonna, Mukama bye yabuulira Musa,
23 byonna Mukama bye yabalagira n'omukono gwa Musa, okuva ku lunaku Mukama lwe yalagirirako, n'oluvannyuma lwonna mu mirembe gyammwe gyonna;
24 awo olunaatuukanga, bwe munaabanga mukikoze nga temumanyiridde, ekibiina nga tekimanyi, ekibiina kyonna banaawangayo ente emu envubuka okuba ekiweebwayo ekyokebwa, olw'evvumbe eddungi eri Mukama, wamu n'ekiweebwayo kyako eky'obutta n'ekiweebwayo kyako eky'okunywa, ng'etteeka bwe liri, n'embuzi emu ennume okuba ekiweebwayo olw'ekibi.
25 Era kabona anaatangiriranga ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri, era banaasonyiyibwanga; kubanga kubadde kusobya, era nga baleese ekitone kyabwe, ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama, n'ekyabwe ekiweebwayo olw'ekibi mu maaso ga Mukama, olw'okusobya kwabwe:
26 n'ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri banaasonyiyibwanga, n'omugenyi atuula mu bo; kubanga kyakolebwa nga tebamanyiridde eri abantu bonna.
27 Era omuntu bw'anaaydnoonanga nga tamanyiridde, kale anaawangayo embuzi enduusi etennamala mwaka gumu okuba ekiweebwayo olw'ekibi.
28 Era kabona anaatangiriranga obulamu obusobya, bw'anaayonoonanga nga tamanyiridde, mu maaso ga Mukama, okumutangirira; kale anaasonyiyibwanga.
29 Munaabanga n'etteeka limu eri oyo anaakolanga ekikolwa kyonna nga tamanyiridde, eri enzaalwa mu baana ba Isiraeri, n'eri omugenyi aruula mu bo.
30 Naye obulamu obunaakolanga ekikolwa kyonna n'ekyejo, oba nga nzaalwa oba nga mugenyi, oyo ng'awodde Mukama; n'obulamu obwo bunaazikirizibwanga mu bantu be.
31 Kubanga anyoomye ekigambo kya Mukama era ng'amenye ekiragiro kye; obulamu obwo bunaazikiririzibwanga ddala, obutali butuukirivu bwe bunaabanga ku ye.
32 Awo abaana ba Isiraeri bwe baali nga bakyali mu ddungu, ne basanga omuntu ng'alondera enku ku lunaku lwa ssabbiiti.
33 N'abo abaamusanga ng'alonda enku ne bamuleetera Musa ne Alooni n'ekibiina kyonna.
34 Ne bamusiba, kubanga kyali tekinnategeezebwa bw'anaakolebwa.
35 Mukama n'agamba Musa nti Omuntu oyo taaleme kuttibwa: ekibiina kyonna kinaamukubira amayinja ebweru w'olusiisira.
36 Ekibiina kyonna ne bamutwala ebweru w'olusiisira, ne bamukuba amayinja, n'afa; nga Mukama bwe yalagira Musa.
37 Mukama n'agamba Musa nti
38 Yogera n'abaana ba Isiraeri obalagire okwekolera amatanvuwa ku nkugiro z'ebyambalo byabwe mu mirembe gyabwe gyonna, era bateeke omugwa ogwa kaniki ku matanvuwa agali ku buli lukugiro:
39 era ganaabanga gye muli amatanvuuwa, mugalabenga mujjukire ebiragiro byonna ebya Mukama, mubikolenga; muleme okutambulatambula okugoberera omutima gwammwe mmwe n'amaaso gammwe mmwe, bye muyisa okugoberera okwenda nabyo:
40 mujjukire ebiragiro byange byonna mubikole, mube batukuvu eri Katonda wammwe.
41 Nze Mukama Katonda wammwe, eyabaggya mu nsi y'e Misiri, okuba Katonda wammwe: nze Mukama Katonda wammwe.

Top |  | Next Page  |  | Index |  | Home
Full online version here [with search engine, multilingual display and audio Bible]