1 Mukama n'ayogera ne Musa nti
2 Yogera n'abaana ba Isiraeri, obagambe nti Omusajja oba omukazi bw'aneey amanga obweyamo ku bubwe yekka, obweyamo obw'omuwonge, okwewonga eri Mukama:
3 aneeyawulanga n'omwenge n'ekitamiiza; tanywanga ku mwenge omukaaruufu, n'ewakubadde ekitamiiza ekikaatuufu, so tanywanga ku mazzi g'ezzabbibu, so talyanga zabbibu mbisi newakubadde enkalu.
4 Ennaku zonna ez'okwewonga kwe talyanga kintu ekiva ku muzabbibu, newakubadde ensigo newakubadde ebikuta.
5 Ennaku zonna ez'obweyamo bwe obw'okwewonga akamwano tekayitanga ku mutwe gwe: okutuusa ennaku lwe zinaatuukiriranga, ze yeewongeramu eri Mukama, anaabanga mutukuvu, anaalekanga emivunibo gy'enviiri ez'oku mutwe gwe okukula.
6 Ennaku zonna ze yeewongeramu eri Mukama, tasembereranga mulambo.
7 Teyeefuulanga atali mulongoofu lwa kitaawe, newakubadde lwa nnyina, newakubadde lwa muganda we, newakubadde lwa mwannyina, bwe banaafanga: kubanga okwewonga kwe eri Katonda kuli ku mutwe gwe.
8 Ennaku zonna ez'okwewonga kwe aba mutukuvu eri Mukama.
9 Era omuntu yenna bw'anaafanga amangu ennyo ng'amuliraanye naye n'ayonoona omutwe ogw'okwewonga kwe; kale anaamwanga omutwe gwe ku lunaku olw'okulongoosebwa kwe ku lunaku olw'omusanvu kw'anaagumweranga.
10 Ne ku lunaku olw'omunaana anaaleetanga bukaamukuukulu bubiri, oba amayiba amato abiri, eri kabona, ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu:
11 awo kabona anaawangayo akamu okuba ekiweebwayo olw'ekibi, n'ak'okubiri okuba ekiweebwayo ekyokebwa, n'amutangirira, kubanga yayonoona olw'abafu, n'atukuza omutwe gwe ku lunaku olwo.
12 Era anaawonganga eri Mukama ennaku ez'okwewonga kwe, n'aleeta omwana gw'endiga omulume ogutannamala mwaka gumu okuba ekiweebwayo olw'omusango: naye ennaku ezisoose zinaabanga zifudde, kubanga okwewonga kwe kwayonooneka.
13 Era lino lye tteeka ery'omuwonge, ennaku ez'okwewonga kwe bwe zinaatuukiriranga: anaaleetebwanga ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu:
14 n'awaayo ekitone kye eri Mukama, omwana gw'endiga omulume gumu ogutannamala mwaka gumu ogutaliiko bulema okuba ekiweebwayo ekyokebwa, n'omwana gw'endiga omuluusi gumu ogutannamala mwaka gumu ogutaliiko bulema okuba ekiweebwayo olw'ekibi, n'endiga ennume emu eteriiko bulema okuba ebiweebwayo olw'emirembe,
15 n'ekibbo eky'emigaati egitazimbulukuswa, ebitole eby'obutta obulungi obutabuddwamu amafuta, n'emigaati egy'empewere egitazimbulukuswa egisiigibbwako amafuta, n'obutta bwako obuweebwayo, n'ebyokunywa byako ebiweebwayo.
16 Awo kabona anaabyanjulanga mu maaso ga Mukama, n'awaayo ky'awaayo olw'ekibi, n'ekyo ky'a waayo ekyokebwa:
17 n'awaayo endiga ennume okuba ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe eri Mukama, awamu n'ekibbo eky'emigaati egitazimbulukuswa: era kabona anaawangayo n'obutta obuweebwayo bwako, n'ebyokunywa byako ebiweebwayo.
18 Era omuwonge anaamweranga omutwe ogw'okwewonga kwe ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu, n'addira enviiri ez'oku mutwe ogw'okwewonga kwe, n'aziteeka mu muliro oguli wansi wa ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe.
19 Awo kabona anaatwalanga omukono omufumbe ogw'endiga ennume, n'ekitole kimu ekitazimbulukuswa ng'akiggya mu kibbo, n'omugaati ogw'empewere gumu ogutazimbulukuswa, n'abiteeka mu ngalo z'omuwonge, ng'amaze okumwa omutwe ogw'okwewonga kwe
20 awo kabona anaabiwuubawuubanga okuba ekiweebwayo ekiwuubibwawuubibwa mu maaso ga Mukama; ebyo byayawulirwa kabona, awamu n'ekifuba ekiwuubibwawuubibwa n'ekisambi ekisitulibwa: oluvannyuma omuwonge n'alyoka ayinza okunywa omwenge.
21 Eryo lye tteeka ery'omuwonge eyeeyama obweyamo, n'ekitone kye ky'awa Mukama olw'okwewonga kwe, obutassaako ebyo by'ayinza okufiuia: ng'obweyamo bwe bw'aneeyamanga bwe bunaabanga, bwe kityo bwe kimugwanira okukola ng'etteeka ery'okwewonga kwe bwe liri.
22 Mukama n'ayogera ne Musa nti
23 Yogera ne Alooni ne batabani be nti Bwe mutyo bwe munaasabiranga omukisa abaana ba Isiraeri: munaabagambanga nti
24 Mukama akuwe omukisa, akukuume:
25 Mukama akwakize amaaso ge, akukwatirwe ekisa:
26 Mukama akuyimusize amaaso ge, akuwe emirembe.
27 Bwe batyo bwe banaateekanga erinnya lyange ku baana ba Isiraeri; nange n'abawanga omukisa.