1 Mukama n'agambira Musa mu nsenyi za Mowaabu ku Yoludaani e Yeriko nti
2 Lagira abaana ba Isiraeri okuwa Abaleevi ebibuga eby'okutuulamu nga babiggya ku busika obw'obutaka bwabwe; era n'amalundiro ag'oku bibuga agabyetoolodde muligawa Abaleevi
3 N'ebibuga banaabanga nabyo okusulamu: n'amalundiro gaako ganaabanga ga bisibo byabwe era ga bintu byabwe era ga nsolo zaabwe zonna.
4 N'amalundiro ag'oku bibuga, ge muliwa Abaleevi, galiva ku bbugwe w'ekibuga n'okweyongerayo emikono lukumi enjuyi zonna.
5 Era muligera ebweru w'ekibuga ku luuyi olw'ebuvanjuba emikono enkumi bbiri, ne ku luuyi olw'obukiika obwa ddyo emikono enkumi bbiri, ne ku luuyi olw'ebugwanjuba emikono enkumi bbiri, ne ku luuyi olw'obukiika obwa kkono emikono enkumi bbiri, ekibuga nga kiri wakati. Ago ge galiba gye bali amalundiro ag'oku bibuga.
6 N'ebibuga bye muliwa Abaleevi, biriba ebibuga mukaaga eby'okuddukiramu, bye muliwa omussi w'omuntu okuddukira omwo: era mulyongera ku ebyo ebibuga ana mu bibiri.
7 Ebibuga byonna bye muliwa Abaleevi biriba ebibuga ana mu munaana; byo n'amalundiro gaabyo.
8 N'ebibuga bye muliggya ku butaka obw'abaana ba Isiraeri okubigaba, ku bangi muliggyako bingi; ne ku batono muliggyako bitono: buli muntu ng'obusika bwe bwe buliba bw'alisikira, bw'atyo bw'aligabira Abaleevi ku bibuga bye.
9 Mukama n'agamba Musa nti
10 Yogera n'abaana ba Isiraeri obagambe nti Bwe mulisomoka Yoludaani ne muyingira mu nsi ya Kanani,
11 kale mulyeroadera ebibuga okuba ebibuga eby'okuddukiramu gye muli; omussi w'omuntu anattanga omuntu yenna ng'ataniddwa addukire omwo.
12 N'ebibuga biaaabanga gye muli bya kuddukirangamu eri omuwoolezi w'eggwanga; omussi w'omuntu alemenga okufa nga tannayimirira mu maaso g'ekibiina okusalirwa omusango.
13 N'ebibuga bye muliwa biriba gye muli ebibuga mukaaga bya kuddukiramu.
14 Muliwa ebibuga bisaru emitala wa Yoludaani, era muliwa ebibuga bisatu mu nsi ya Kanani; binaabanga bibuga bya kuddukirangamu.
15 Eri abaana ba Isiraeri n'eri omugenyi n'eri oyo atuula mu bo, ebibuga ebyo omukaaga binaabanga bya kuddukirangamu: buli anattanga omuntu yenna ng'ataniddwa addukirenga omwo.
16 Naye oba nga yamukuba n'ekintu eky'ekyuma n'okufa n'afa, oyo nga mussi wa muntu: omussi w'omuntu talemanga kuttibwa.
17 Era oba nga yamukuba n'ejjinja ng'alihutte mu ngalo, eriyinza okutta omuntu, n'afa, oyo nga mussi wa muntu: omussi w'omuntu talemanga kuttibwa.
18 Oba nga yamukuba n'ekintu eky'omuti ng'akikutte mu ngalo, ekiyinza okutta omuntu, n'afa, oyo nga mussi wa muntu: omussi w'omuntu talemanga kuttibwa.
19 Omuwoolezi w'omusaayi yenayini ye anattanga omussi w'omuntu: lw'amusisinkananga lw'amuttanga.
20 Era oba nga yamufumita olw'okumukyawa, oba yamukasuukirira, ng'ateeze, n'okufa n'afa;
21 oba yamukuba n'ekikonde olw'obulabe, n'okufa n'afa: eyamukuba talemanga kuttibwa; oye mussi wa muntu: omuwoolezi w'omusaayi alitta omussi w'omuntu; lw'alimusisinkana.
22 Naye oba nga yamufumita mangu awatali bulabe, oba yamukasuukirira ekintu kyonna nga tateeze,
23 oba ejjinja lyonna eriyinza okutta omuntu, nga tamulabye, n'alimusuulako, n'okufa n'afa, so tabanga mulabe we, so teyayagala kumukola bubi:
24 kale ekibiina banaasalanga omusango gw'oyo eyakuba n'omuwoolezi w'omusaayi ng'emisango egyo bwe giri:
25 era ekibiina banaawonyanga omussi w'omuntu mu mukono gw'omuwoolezi w'omusaayi, era ekibiina banaamuzzangayo mu kibuga kye eky'okuddukirangamu kye yali addukiddemu: era anaasulanga omwo okutuusa kabona omukulu eyafukibwako amafuta amatukuvu lw'anaafanga.
26 Naye omussi w'omuntu bw'anaabanga ayise ku nsalo y'ekilbuga kye eky'okuddukirangamu, ky'addukiramu;
27 omuwoolezi w'omusaayi n'amusanga ng'ali bweru w'ensalo y'ekibuga kye eky'okuddukirangamu, omuwoolezi w'omusaayi n'atta omussi w'omuntu; tabangako musango gwa musaayi:
28 kubanga yalema okubeera mu kibuga kye eky'okuddukirangamu okutuusa kabona omukulu lwe yandifudde: naye kabona omukulu ng'amaze okufa kale omussi w'omuntu anaddangayo mu nsi ey'obutaka bwe.
29 Era ebyo binaabanga tteeka lya musango gye muli mu mirembe gyammwe gyonna mu nnyumba zammwe zonna.
30 Buli anattanga omuntu yenna, omussi w'omuntu anattibwanga olw'akamwa k'abajulirwa: naye omujulirwa omu talumirizanga muntu yenna okumutta.
31 Era temukkirizanga bya kununula bulamu bwa mussi wa muntu, asaanidde okufa: naye talemanga kuttibwa.
32 So temukkirizanga bya kununula oyo eyaddukira mu kibuga kye eky'okuddukirangamu, akomewo okutuula mu nsi, okutuusa kabona lw'alifa.
33 Bwe mutyo tomwonoonanga nsi gye mulimu: kubanga omusaayi, ogwo gwe gwonoona ensi: so n'ensi teyinza kutangirirwa olw'omusaayi oguyiise omwo, wabula n'omusaayi gw'oyo eyaguyiwa.
34 So temwonoonanga nsi gye mutuulamu, gye mbeeramu wakati: kubanga nze Mukama mbeera wakati mu baana ba Isiraeri.