Home |  | Audio |  | Index |  | Verses

Okubala Numbers

Chapter : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29 30 31 32 33 34 35 36
1 Ne mu mwezi ogw'omusanvu ku lunaku olw'olubereberye olw'omwezi, munaabanga n'okukuggaana okutukuvu; temukolanga mulimu gwonna ogw'emikono: lwe lunaku olw'okufuuyirako amakondeere gye muli.
2 Era munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa okuba ewumbe eddungi eri Mukama; ente envubuka emu, endiga ennume emu, abaana b'endiga abalume omusanvu abatannamala mwaka gumu abataliiko bulema:
3 n'ekiweebwayo eky'obutta ekyako, obutta obulungi obutabuddwamu amaifuta, ebitundu eby'ekkumi bisatu olw'ente, ebitundu eby'ekkumi bibiri olw'endiga ennume,
4 n'ekitundu eky'ekkumi kimu olwa buli mwana gw'endiga ku baana b'endiga omusanvu:
5 n'embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi, okubatangirira:
5 n'embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi, okubatangirira:
6 obutassaako ekiweebwayo ekyokebwa eky'omwezi ogwakajja guboneke, n'ekiweebwayo eky'obutta ekyako, n'ekiweebwayo ekyokebwa ekitaliggwaawo n'ekiweebwayo eky'obutta ekyako, n'ebiweebwayo ebyokunywa ebyako, ng'etteeka lyabyo bwe liri, okuba evvumbe eddungi, ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama.
7 Ne ku lunaku olw'ekkumi olw'omwezi ogwo ogw'omusanvu munaabanga n'okukuŋŋaana okutuikuvu; era munaabonerezanga obulamu bwammwe; temukolanga mulimu gwonna:
8 naye munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama okuba evvumbe eddungi; ente envubuka emu, endiga ennume emu, abaana b'endiga abalume musanvu abatannamala mwaka gumu; banaabanga gye muli abataliiko bulema:
9 n'ekiweebwayo eky'obutta ekyako, obutta obulungi obutabuddwamu amafuta, ebitundu eby'ekkumi bisatu olw'ente, ebitundu eby'ekkumi bibiri olw'endiga ennume emu,
10 ekitundu ekirala eky'ekkumi olwa buli mwana gw'endiga ku baana b'endiga omusanvu:
11 embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi; obutassaako ekiweebwayo olw'ekibi eky'okutangirira, n'ekiweebwayo ekyokebwa ekitaliggwaawo, n'ekiweebwayo eky'obutta ekyako, n'ebiweebwayo ebyokuaywa ebyako.
12 Ne ku lunaku olw'ekkumi n'ettaano olw'omwezi ogw'omusanvu munaabanga n'okukunnaana okutukuvu; temukolanga mulimu gwonna ogw'emikono, era munaakwatiranga embaga ennaku musanvu eri Mukama:
13 era munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa, ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro, eky'ewunibe eddungi eri Mukama; ente envubuka kkumi na ssatu, endiga ennume bbiri, abaana b'endiga abalume kkumi na bana abatannamala mwaka gumu; banaabanga abataliiko bulema:
14 n'ekiweebwayo eky'obutta ekyako, obutta obulungi obutabuddwamu amafuta, ebitundu eby'ekkumi bisatu olwa buli nte ku nte ekkumi n'essatu, ebituadu eby'ekkumi bibiri olwa buli ndiga ennume ku ndiga ennume zombi,
15 n'ekitundu ekirala eky'ekkumi olwa buli mwana gw'endiga ku baana b'endiga ekkumi n'abana:
16 n'embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi; obutassaako' ekiweebwayo ekyokebwa ekitaliggwaawo, ekiweebwayo eky'obutta ekyako, n'ekiweebwayo ekyokunywa ekyako.
17 Ne ku lunaku olw'okubiri munaawangayo ente envubuka kkumi na bbiri, endiga ennume bbiri, abaana b'endiga abalume kkumi na bana abatannamala mwaka gumu abataliiko bulema:
18 n'ekiweebwayo eky'obutta ekyako n'ebiweebwayo ebyokunywa ebyako olw'ente, olw'endiga ennume, n'olw'abaana b'endiga, ng'omuwendo gwabyo bwe gunaabanga, ng'etteeka bwe liri:
19 n'embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi; obutassaako ekiweebwayo ekyokebwa ekitaliggwaawo, n'ekiweebwayo eky'obutta ekyako, n'ebiweebwayo ebyokunywa ebyako.
20 Ne ku lunaku olw'okusatu ente kkumi n'emu, endiga enntune bbiri, abaana Wendiga abalume kkumi aa bana abatannamala mwaka gumu abataliiko bulema;
21 n'ekiweebwayo eky'obutta ekyako, n'ebiweebwayo ebyokunywa ebyako olw'ente, olw'endiga ennume, n'olw'abaana b'endiga, ng'omuweado gwabyo bwe gunaabanga, ng'etteeka bwe liri:
22 n'embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi; obutassaako ekiweebwayo ekyokebwa ekitaliggwaawo, n'ekiweebwayo eky'obutta ekyako, n'ekiweebwayo ekyokunywa ekyako.
23 Ne ku lunaku olw'okuna ente kkumi, endiga ennume bbiri, abaana Wendiga abalume kkumi na bana abatannamala mwaka gumu abataliiko bulema:
24 ekiweebwayo eky'obutta ekyako a'ebiweebwayo ebyokunywa ebyako olw'ente, olw'endiga ennume, n'olw'abaana b'endiga, ng'omuwendo gwabyo bwe gunaabanga, ng'etteeka bwe liri:
25 n'embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi; obutassaako ekiweebwayo ekyokebwa ekitaliggwaawo, ekiweebwayo eky'obutta ekyako, n'ekiweebwayo ekyokunywa ekyako.
26 Ne ku lunaku, olw'okutaano ente mwenda, endiga ennume bbiri, abaana b'endiga abalume kkumi na bana abatannamala mwaka gumu abataliiko bulema:
27 n'ekiweebwayo eky'obutta ekyako n'ebiweebwayo ebyokunywa ebyako olw'ente, olw'endiga ennume, n'olw'abaana b'endiga, ng'omuwendo gwabyo bwe gunaabanga, ng'etteeka bwe liri:
28 n'embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi; obutassaako ekiweebwayo ekyokebwa ekitaliggwaawo, n'ekiweebwayo eky'obutta ekyako, n'ekiweebwayo ekyokunywa ekyako.
29 Ne ku lunaku olw'omukaaga ente munaaaa, endiga ennume bbiri, abaana Wendiga abalume kkumi na bana abatannamala mwaka gumu abataliiko bulema:
30 n'eluweebwayo eky'obutta ekyako n'ebiweebwayo ebyokunywa ebyako olw'ente, olw'endiga enaume, n'olw'abaana b'endiga, ng'omuwendo gwabyo bwe gunaabanga, ng'etteeka bwe liri:
31 n'embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi; obutassaako eluweebwayo ekyokebwa ekitaliggwaawo, ekiweebwayo eky'obutta ekyako, n'ebiweebwayo ebyokunywa ebyako.
32 Ne ku lunaku olw'omusanvu ente musanvu, endiga enaume bbiri, abaana Wendiga abalume kkumi na bana abatannamala mwaka gumu abataliiko bulema:
33 n'ekiweebwayo eky'obutta ekyako n'ebiweebwayo ebyokunywa ebyako olw'ente, olw'endiga eanume, n'olw'abaana b'endiga, ng'omuwendo gwabyo bwe gunaabanga, ng'etteeka bwe liri:
34 n'embuzi enaume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi; obutassaako ekiweebwayo ekyokebwa ekitaliggwaawo, eldwcebwayo eky'obutta ekyaho, n'ekiweebwayo ekyokunywa ekyako.
35 Ku lunaku olw'omunaana munaabanga n'okukuŋŋaana okw'okwewombeeka: temukolanga mulimu gwonna ogw'emikono:
36 naye munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa, ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro, elry'ewumbe eddungi en Mukama: ente emu, endiga ennume emu, abaana Wendiga abalume musanvu abatannamala mwaka gumu abataliiko bulema:
37 ekiweebwayo eky'obutta ekyako n'ebiweebwayo ebyokunywa ebyako olw'ente, olw'endiga ennume, n'olw'abaana b'eadiga, binaabanga ag'omuwendo gwabyo, ng'etteeka bwe liri:
38 n'embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi: obutassaako ekiweebwayo ekyokebwa elutaliggwaawo, n'eluweebwayo eky'obutta ekyako, a'ekiweebwayo ekyokunywa ekyako.
39 Ebyo bye munaawangayo eri Mukama mu mbaga zammwe ezaalagirwa, obutassaako bweyamo bwammwe, n'ebyo bye muwaayo ku bwammwe, okuba bye muwaayo ebyokebwa, ne bye muwaayo eby'obutta, ne bye muwaayo ebyokunywa, ne bye muwaayo olw'emirembe.
40 Musa n’abuulira abaana ba Isiraeri nga byonna bwe byali Mukama bye yalagira Musa.

Top |  | Next Page  |  | Index |  | Home
Full online version here [with search engine, multilingual display and audio Bible]