1 Isiraeri n'abeera e Sitimu, abantu ne batanula okwenda ku bawala ba Mowaabu:
2 kubanga baayitanga abantu okujja ku ssaddaaka za bakatonda baabwe; abantu ne balya ne bavuunamira bakatonda baabwe.
3 Isiiaeri ne yeegatta ne Baalipyoli: obusungu bwa Niukama ne bubuubuuka ku Isiraer
4 Mukama n'agamba Musa nti Twala abakulu b'abantu bonna, obawanikire Mukama mu maaso g'enjuba ekiruyi kya Mukama kikyuke kive ku Isiraeri.
5 Musa n'agamba abalamuzi ba Isiraeri nti Mutte muntu abasajja be abeegasse ne Baalipyoli.
6 Era, laba, omu ku baana ba Isiraeri n'ajja n’aleetera baganda be emukazi Omumidiyaani mu maaso ga Musa ne mu maaso g'ekibiina kyonna eky’abaana ba Isiraeri, bwe baali nga bakaabira amaziga ku mulyango gw’eweema ey'okusisinkanirangamu.
7 Awo Finekaasi mutabani Eriyazaali mutabani wa Alooni kabona bwe yakiraba, n'agolokoka wakati mu kibiina, n'addira effumu mu mukono gwe;
8 n'agoberera omusajja Omuisiraeri mu kayumba, n'abafumitira ddala bombi, omusajja Omuisiraeri n'omukazi mu lubuto lwe. Awo kawumpuli n'aziyizibwa bw'atyo ku baana ba Isiraeri.
9 N'abo abaafa kawumpuli baali obukumi bubiri mu enkumi nnya.
10 Mukama n'agamba Musa nti
11 Finekaasi mutabani wa Eriyazaali mutabani wa Alooai kabona akyusizza obusungu bwange okuva ku baana ba Isiraeri, kubanga akwatiddwa obuggya bwange mu bo, n'okuzikiriza ne sizikiriza baana ba Isiraeri mu buggya bwange.
12 Kyoaoova ogamba nti Laba, mmuwa endagaano yange ey'emirembe:
13 era eneebanga gy'ali, n'eri ezzadde lye erinaamuddiriranga, endagaano ey'obwakabona obutaliggwaawo; kubanga yakwatibwa obuggya olwa Katonda we, n'atangirira abaana ba Isiraeri.
14 Era omusajja Omuisiraeri eyattibwa, eyattirwa awamu n'omukazi Omumidiyaani, erinnya lye Zimuli, mutabani wa Salu, omukulu w'ennyumba ya bakitaabwe mu Basimyoni.
15 N'omukazi Omumidiyaani eyattibwa, erinnya lye Kozebi muwala wa Zuuli; oyo yali mutwe gw'abantu ab'omu nnyumba ya bakitaabwe mu Midiyaani.
16 Mukama n'agamba Musa nti
17 Beeraliikirize Abamidiyaani obatte:
18 kubanga babeeraliikiriza n'enkwe zaabwe, ze baasala ne babasendasenda mu bigambo bya Pyoli ne mu bigambo bya Kozebi, muwala w'omukulu wa Midiyaani, mwannyinaabwe, eyattibwa ku lunaku olwa kawumpuli olw'ebigambo bya Pyoli.