1 Mukama n'agamba Musa nti
2 Lagira abaana ba Isiraeri obagambe nti Ekirabo kyange, ebyange ebyokulya olw'ebyange ebiweebwayo ebikolebwa n'omuliro, eby'ewumbe eddungi gye ndi, munaakwatanga okubiwaayo gye ndi mu ntuuko zaabyo.
3 Era onoobagamba nti Kino kye kiweebwayo ekikolebwa n'omuliro kye munaawangayo eri Mukama; abaana b'endiga abalume abatannamala mwaka gumu abataliiko bulema, buli lunaku babiri, okuba ekiweebwayo ekyokebwa ekitaliggwaawo.
4 Omwana gw'endiga ogumu onoowangayo enkya, n'omwana gw'endiga omulala onoowangayo akawungeezi;
5 n'ekitundu eky'ekkumi ekya efa ey'obutta obulungi okuba ekiweebwayo eky'obutta, ekitabuddwamu ekitundu eky'okuna ekya ini ey'amafuta amakube.
6 Ekyo kye kiweebwayo ekyokebwa ekitaliggwaawo, ekyalagirwa ku lusozi Sinaayi okuba ewumbe eddungi, ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama.
7 N'ekiweebwayo ekyokunywa ekyako kinaabanga kitundu kya kuna kya ini olw'omwana gw'endiga ogumu: mu watukuvu mw'onoofukiranga ekiweebwayo ekyokunywa ekika eri Mukama.
8 N'omwana gw'endiga ogw'okubiri onoowangayo akawungeezi: ng'ekiweebwayo ekyokunywa ekyako bwe biri, bw'onoogiwangayo bw'otyo, okuba ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro, eky'evvumbe eddungi eri Mukama.
9 Ne ku ssabbiiti abaana b'endiga babiri abalume abatannasnala mwaka gumu abataliiko bulema, n'ebitundu eby'ekkumi bibiri ebya efa ey'obutta obulungi okuba ekiweebwayo eky'obutta, obutabuddwamu amafuta, n'ekiweebwayo ekyokunywa ekyako:
10 ekyo kye kiweebwayo ekya buli ssabbiiti, obutassaako ekiweebwayo ekyokebwa ekitaliggwaawo, n'ekiweebwayo ekyokunywa ekyako.
11 Era emyezi gyammwe we ginaasookeranga munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama, ente envubuka bbiri, n'endiga ennume emu, abaana b'endiga abalume musanvu abatannamala mwaka gumu abataliiko bulema;
12 n'ebitundu eby'ekkumi bisaru ebya efa ey'obutta obulungi okuba ekiweebwayo eky'obutta, obutabuddwamu amafuta, olwa buli nte; n'ebitundu eby'ekkumi bibiri eby'obutta obulungi obutabuddwamu amafuta olw'endiga emu;
13 n'ekitundu ekirala eky'ekkumi eky'obutta obulungi obutabuddwamu amafuta okuba ekiweebwayo eky'obutta olwa buli mwana gw'endiga; okuba ekiweebwayo ekyokebwa eky'ewumbe eddungi, ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama.
14 N'ebiweebwayo ebyokunywa ebyako binaabanga kitundu kya ini ey'envinnyo olw'ente, n'ekitundu eky'okusatu eky'ekibya olw'endiga etmume, n'ekitundu eky'okuna ekya ini olw'omwana gw'endiga: ekyo kye kiweebwayo ekyokebwa ekya buli mwezi okumalako emyezi egy'omwaka.
15 N'embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi eri Mukama; eneeweebwangayo era n'ekiweebwayo ekyokebwa ekitaliggwaawo, n'ekiweebwayo ekyokunywa ekyako.
16 Era mu mwezi ogw'olubereberye, ku lunaku olw'omwezi olw'ekkumi n'ennya, wanaabangawo Okuyitako kwa Mukama.
17 Ne ku lunaku olw'ekkumi n'ettaano olw'omwezi ogwo wanaabangawo embaga: emigaati egitazimbulukuswa ginaaliirwanga ennaku musanvu.
18 Ku lunaku olw'olubereberye wanaabangawo okukuxnaana okutukuvu; temukolanga mulimu gwonna ogw'emikono:
19 naye munaawangayo ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro, ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama; ente envubuka bbiri, n'endiga ennume emu, n'abaana b'endiga abalume musanvu abatannamala mwaka gumu: banaabanga gye muli abataliiko bulema:
20 n'ekiweebwayo eky'obutta ekyako, obutta obulungi obutabuddwamu amafuta: munaawangayo ebitundu eby'ekkumi bisatu olw'ente, n'ebituadu eby'ekkumi bibiri olw'endiga ennume;
21 onoowangaye ekitundu ekirala eky'ekkumi olwa buli mwana gw'endiga ku baana b'endiga omusanvu;
22 n'embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi, okubatangirira.
23 Munaawangayo ebyo era n'ekiweebwayo ekyokebwa eky'enkya, ekinaabanga ekiweebwayo ekyokebwa ekitali ggwaawo.
24 Bwe mutyo bwe munaawangayo buli lunaku, okumalako ennaku musanvu, ekyokulya eky'ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro, eky'evvumbe eddungi eri Mukama: kinaaweebwangayo era n'ekiweebwayo ekyokebwa ekitaliggwaawo, n ekiweebwayo ekyokunywa ekyako.
25 Ne ku lunaku olw'omusanvu mutiaabanga n'okukuŋŋaana okutukuvu; tmukolanga mulimu gwonna ogw'emikono.
26 Era ne ku lunaku olw'ebibala ebibereberye, bwe munaawangayo ekiweebwayo eky'obutta 'obuggya eri Mukama mu mbaga yammwe eya ssabbiiti, kale munaabanga n'okukuŋŋaana okutukuvu; temukolanga mulimu gwonna ogw'emikono:
27 naye munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa okuba ewumbe eddungi eri Mukama; ente envubuka bbiri, endiga ennume emu, abaana b'endiga abalume musanvu abatannamala mwaka gumu;
28 n'ekiweebwayo eky'obutta ekyako, obutta obulungi obutabuddwamu amafuta, ebitundu eby'ekkumi bisatu olwa buli nte, ebitundu eby'ekkumi bibiri olw'endiga ennume emu,
29 ekitundu ekirala eky'ekkumi olwa buli mwana gw'endiga ku baana b'endiga omusanvu;
30 embuzi ennume emu okubatangirira.
31 Obutassaako ekiweebwayo ekyokebwa ekitaliggwaawo, n'ekiweebwayo ekyokunywa ekyako, munaawangayo n'ebyo (binaabanga gye muli ebitaliiko bulema), n'ebiweebwayo ebyokunywa ebyako.