Home |  | Audio |  | Index |  | Verses

Okubala Numbers

Chapter : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29 30 31 32 33 34 35 36
1 Awo Balamu bwe yalaba nga Mukama asiimye okuwa Isiraeri omukisa, n'atageada, ng'olulala, okunoonya eddogo, naye n'ayolekeza amaaso ge olukoola.
2 Balamu n'alyimusa amaaso ge, n'alaba Isiraeri nga batudde ag'ebika byabwe bwe byali; omwoyo gwa Katonda ne gumujjako.
3 N'agera olugero lwe, n'ayogera nti Balamu, mutabani wa Byoli, ayogera, Era omusajja eyazibwa amaaso ayogera:
4 Ayogera oyo awulira ebigambo bya Katonda, Alaba okwolesebwa kw'Omuyinza w'ebintu byonna, Ng'agwa wansi, n’amaaso ge nga gatunula:
5 Nti Eweema zo nga naungi, ggwe Yakobo, Ennyuniba zo, ggwe Isiraeri
6 Zeeyaliiridde ng'ebiwoavu, Ng'ensuku eziri ku lubalama lw'omugga, Ng'emiti egy'omugavu Mukama gye yasimba, Ng'emiti emyerezi egiri ku lubalama lw'amazzi.
7 Amazzi ganaakulukutanga okuva mu nsuwa ze. N'ensigo ze zinaabanga awali amazzi amangi, Ne kabaka we anaasinganga Agagi obugulumivu, N'obwakabaka bwe bunaagulumizibwanga.
8 Katonda amuggya mu Misiri; Alina amaanyi ng'ag'embogo. Aliriira ddala amawanga abalabe be, Era alimenyamenya amagumba gaabwe, N'abakuba okubafumita n'obusaale bwe.
9 Yabwama, yagalamira ng'empologoma ennume, Era ng'empologoma enkazi; ani anaamusaggula? Aweebwenga omukisa buli anaakusabiranga omukisa, Era akolimirwenga buli anaakukolimiranga.
10 Awo obusungu bwa Balaki ne bubuubuukira Balamu, n'akuba mu ngalo: Balaki n'agamba Balamu nti Nakuyita okukolimira abalabe bange, era, laba, obasabiridde ddala omukisa emirundi gino gyonsatule.
11 Kale nno dduka oddeyo ewuwo: mbadde njagala okukukuza obeere n'ekitiibwa kingi nnyo; naye, laba, Mukama akuziyizizza okuba n'ekitiibwa.
12 Balamu n'agamba Balaki nti Era saagamba n'ababaka bo be wantumira
13 nti Balaki bw'alyagala okumpa ennyumba ye ng'ejjudde effeeza n'ezaabu, siyinza kuyita ku kigambo kya Mukama, okukola ebirungi newakubadde ebibi, nga nnyima mu magezi gange nze; Mukama ky'anaayogera nange kye nnaayogera?
14 Era kaakano, laba, ŋŋenda eri abantu bange: jjangu nkutegeeze abantu bano bye balikola abantu bo mu nnaku ez'oluvannyuma.
15 N'agera olugero lwe, n'ayogera nti Balamu mutabani wa Byoli ayogera, Era omusajja eyazibwa amaaso ayogera:
16 Oyo ayogera awulira ebigambo bya Katonda. Era amanyi okumanya kw'oyo ali waggulu ennyo, Alaba okwolesebwa kw'Omuyinza w'ebintu byonna, Ng'agwa wansi, n'amaaso ge nga gatunula:
17 Nti Mmulaba, naye si kaakano: Mmutunuulira, naye tandi kumpi: Muliva emmunyeenye mu Yakobo, N'omuggo ogw'obwakabaka guliyimuka mu Isiraeri, Gulikubira ddala ensonda za Mowaabu, Gulimenyera ddala abaana bonna ab'oluyoogaano.
18 Kale Edomu aliba butaka, Era ne Seyiri aliba butaka, abaali abalabe be; Isiraeri ng'akola eby'obuzira.
19 Era muliva mu Yakobo omu aliba n'okufuga, Alizikiriza abalifikkawo mu kibuga.
20 N'atunuulira Amaleki, n'agera olugero lwe n'ayogera nti Amaleki yali wa lubereberye mu mawanga; Naye enkomerero ye ey'oluvannyuma erituuka mu kuzikirira.
21 N'atunuulira Omukeeni, n'agera olugero lwe n'ayogera nti Ekifo kyo eky'okutuulamu kya maanyi, N'ekisu kyo kyateekebwa ku lwazi.
22 Naye Kayini alinyagibwa, Okutuusa Asuli lw'alikutwala mu busibe.
23 N'agera olugero lwe, n'ayogera nti Zitusanze, ani aliba omulamu Katonda bw'alikola kino?
24 Naye ebyombo biriva ku ttale ly'e Kittimu, Biribonereza Asuli, biribonereza ne Eberi, Era naye alituuka mu kuzikirira.
25 Balamu n'agolokoka, n'agenda n'addayo uiu kifo kye: ne Balaki n'addayo.

Top |  | Next Page  |  | Index |  | Home
Full online version here [with search engine, multilingual display and audio Bible]