1 Awo Mukama n'agamba Musa ne Alooni nti
2 Abaana ba Isiraeri banaasiisiranga buli muntu okuliraana n'ebendera ye, awali obubonero bw'ennyumba za bakitaabwe: banaasiisiranga okwolekera eweema ey'okusisinkanirangamu enjuyi zonna.
3 Era abo abasiisira ku luuyi olw'ebuvanjuba okutunuulira enjuba gy'eva banaabanga ba bendera ya lusiisira lwa Yuda, ng'eggye lyabwe bwe liri: era Nakusoni mutabani wa Amminadaabu ye anaabanga omukulu w'abaana ba Yuda.
4 Era eggye lye n'abo abaabalibwa ku bo baali obukumi musanvu mu lukaaga.
5 N'ekika kya Isakaali be banaasiisiranga okumuliraana: era Nesaneeri mutabani wa Zuwaali ye anaabanga omukulu w'abaana ba Isakaali:
6 n'eggye lye n'abo abaabalibwa ku lyo baali obukumi butaano mu enkumi nnya mu bina:
7 n'ekika kya Zebbulooni: era Eriyaabu mutabani wa Keroni ye anaabanga omukulu w'abaana ba Zebbulooni:
8 n'eggye lye n'abo abaabalibwa ku lyo baali obukumi butaano mu kasanvu mu bina.
9 Bonna abaabalibwa ku lusiisira lwa Yuda baali kasiriivu mu obukumi munaana mu lukaaga mu bina, ng'eggye lyabwe bwe lyali. Be banaasookanga okusitula.
10 Ku luuyi olw'obukiika obwa ddyo we wanaabanga ebendera ey'olusiisira lwa Lewubeeni ng'eggye lyabwe bwe liri: era Erizuuli mutabani wa Sedewuli ye anaabanga omukulu w'abaana ba Lewubeeni.
11 N'eggye lye n'abo abaabalibwa ku lyo baali obukumi buna mu kakaaga mu bitaano.
12 N'ekika kya Simyoni be banaasiisiranga okumuliraana: era Serumyeri mutabani wa Zulisadaayi ye anaabanga omukulu w'abaana ba Simyoni:
13 n'eggye lye n'abo abaabalibwa ku bo baali obukumi butaano mu kenda mu bisatu:
14 n'ekika kya Gaadi: era Eriyasaafu mutabani wa Leweri ye anaabanga omukulu w'abaana ba Gaadi:
15 n'eggye lye n'abo abaabalibwa ku bo baali obuktuni buna mu enkumi ttaano mu lukaaga mu ataano.
16 Bonna abaabalibwa ku lusiisira lwa Lewubeeni baali kasiriivu mu obukumi butaano mu lukumi mu bina mu ataano, ng'eggye lyabwe bwe lyali. Be banaddiriranga bali okusitula.
17 Eweema ey'okusisinkanirangamu n'eryoka etambulanga, wamu n'olusiisira lw'Abaleevi wakati mu nsiisira; nga bwe basiisira, bwe banaasitulanga bwe batyo, buli muntu mu kifo kye, awali ebendera zaabwe.
18 Ku luuyi olw'ebugwanjuba we wanaabanga ebendera ey'olusiisira lwa Efulayimu ng'eggye lyabwe bwe lizi: era Erisaama mutabani wa Amaiikudi ye anaabanga omukulu w'abaana ba Efulayimu.
19 N'eggye lye n'abo abaabalibwa ku bo, baali obukumi buna mu bitaano.
20 N'ekika kya Manase kye kinaamuddiriranga: era Gamalyeri mutabani wa Pedazuuli ye anaabanga omukulu w'abaana ba Manase;
21 n'eggye lye n'abo abaabalibwa ku bo baali obukumi busatu mu enkumi bbiri mu bibiri:
22 n'ekika kya Benyamini: era Abidaani mutabani wa Gidiyooni ye anaabanga omukulu w'abaana ba Benyamini:
23 n'eggye lye n'abo abaabalibwa ku bo baali abukumi busaru mu enkumi ttaano mu bina.
24 Bonna abaabalibwa ku lusiisira lwa Efulayimu baali kasiriivu mu kanaana mu kikumi, ng'eggye lyabwe bwe lyali. Be banaddiriranga bali nate okusitula.
25 Ku luuyi olw'obukiika obwa kkono we wanaabanga ebendera ey'olusiisira lwa Ddaani ng'eggyel lyabwe bwe liri: era Akiyezeeri mutabani wa Amisadaayi ye anaabanga omukulu w'abaana ba Ddaani.
26 N'eggye lye n'abo abaabalibwa ku bo baali obukumi mukaaga mu enkumi bbiri mu lusanvu.
27 N'ekika kya Aseri be banaasiisiranga okumuliraana: era Pagiyeeri mutabani wa Okulaani ye anaabanga omukulu w'abaana ba Aseri:
28 n'eggye lye n'abo abaabalibwa ku bo baali obukumi buna mu' lukumi mu bitaano:
29 n'eluka kya Nafutaali: era Akira mutabani wa Enani ye anaabanga omukulu w'abaana ba Nafutaali:
30 n'eggye lye n'abo abaabalibwa ku bo baali obukumi butaano mu enkumi ssatu mu bina.
31 Bonna abaabalibwa ku lusiisira lwa Ddaani baali kasiriivu mu obukumi butaano mu kasanvu mu lukaaga. Be banaasembanga ng'ebendera bwe ziri.
32 Abo be baabalibwa ku baana ba Isiraeri ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali: bonna abaabalibwa ku nsiisira ng'eggye lyabwe bwe lyali baali obusiriivu mukaaga mu enkumi ssatu mu bitaano mu ataano.
33 Naye Abaleevi tebaabalibwa mu baana ba Isiraeri; nga Mukama bwe yalagira Musa.
34 Abaana ba Isiraeri bwe baakola bwe batyo; nga byonna bwe byali Mukama bye yalagira Musa, bwe baasiisiranga bwe batyo awali ebendera zaabwe, era bwe batyo bwe baasitulanga, buli muntu ag'enda zaabwe bwe zaali, ng'ennyumba ya bakitaabwe bwe zaali.