1 Mukama n'agamba Musa nti
2 Woolera eggwanga ly'abaana ba Isiraeri ku Bamidiyaani; oluvannyuma olyoke okuŋŋaanyizibwe eri abantu bo.
3 Musa n'agamba abantu nti Muggye mu mmwe abasajja mubawe eby'okulwanyisa olw'entalo, batabaale Midiyaani, okuwoolera eggwanga lya Mukama ku Midiyaaai.
4 Munaggya ku buli kika lukumi okubunya ebika byonna ebya Isiraeri, ne mubatuma okutabaala.
5 Awo ne baleeta ku nkumi za Isiraeri, ku buli kika lukumi, kakumi mu enkumi bbiri nga balina ebyokulwanyisa olw'entalo.
6 Musa n'abasindika okutabaala, ku buli kika lukumi, bo ne Finekaasi mutabani wa Eriyazaali kabona, okutabaala, awamu n'ebintu eby'omu watukuvu n'amakondeere agalawa mu mukono gwe.
7 Ne balwana ne Midiyaani, nga Mukama bwe yalagira Musa; ne batta buli musajja.
8 Ne batta bakabaka ba Midiyaani wamu n'abalala abattibwa; Evi ne Lekemu, ne Zuuli, ne Kuula, ne Leeba, bakabaka ba Midiyaani abataano: ne Balamu mutabani wa Byoli baamutta n'ekitala.
9 Abaana ba Isiraeri ne banyaga abakazi ba Midiyaaai n'abaana baabwe abato; n'ebisibo byabwe byonna, n'embuzi zaabwe zonna, n'ebintu byabwe byonna ne babitwala okuba omunyago.
10 N'ebibuga byabwe byonna mu bifo mwe baasulanga, n'ensiisira zaabwe zonna, ne babyokya omuliro.
11 Ne batwala omunyago gwonna ne bye baafuna byonna, oba nga bantu oba nga nsolo.
12 Ne baleeta omwandu ne bye baafuna n'omunyago eri Musa n'eri Eriyazaali kabona a'eri ekibiina ky'abaana ba Isiraeri, eri olusiisira olwali mu nsenyi za Mowaabu, eziri ku Yoludaani e Yeriko.
13 Awo Musa ne Eriyazaali kabona n'abakulu bonna ab'ekibiina ne bafuluma okubasisinkana ebweru w'olusiisira.
14 Musa n'asuguwalira abaami b'eggye, abaami b'enkumi n'abaami b'ebikumi, abaava mu kuweereza mu lutabaalo.
15 Musa n'abagamba nti Abakazi bonna mubawonyezza okufa?
16 Laba, bano be baasobesa abaana ba Isiraeri ku Mukama, olw'okuteesa kwa Balamu, mu bigambo bya Peoli, bw'atyo kawumpuli n'aba mu kibiina kya Mukama.
17 Kale ano kaakano mutte buli musajja ku baana abato, era mutte buli mukazi eyamanya omusajja ng'asula naye.
18 Naye abaana abato ab'obuwala, abatamanyanga musajja nga basula naye, mubeewonyeze obutafa.
19 Era musiisire ebweru w'olusiisira ennaku musanvu: buli eyatta omuntu yenna, era buli eyakoma ku muntu yenna eyattibwa, mwerongoose ku lunaku olw'okusatu ne ku lunaku olw'omusanvu, mmwe n'omwandu gwammwe.
20 Na buli kyambalo na buli kintu eky'eddiba, n'omulimu gwonna ogw'ebikuzzi by'embuzi, n'ebintu byonna eby'emiti, muneerongoosa.
21 Eriyazaali kabona n'agamba abasajja abatabaazi abaatabaala nti Lino lye tteeka ery'ekiragiro Mukama ky'alagidde Musa:
22 naye zaabu ne ffeeza, ekikomo, ekyuma, ebbaati, n'erisasi,
23 buli kintu ekiyinza omuliro, munaakiyisa mu muliro, ne kiba kirongoofu; naye kinaalongoosebwa n'amazzi ag'okwawula: n'ebyo byonna ebitayinza muliro munaabiyisa mu mazzi.
24 Era mulyoza engoye zammwe ku lunaku olw'omusanvu, ne muba balongoofu, oluvannyuma ne mulyoka muyingira mu lusiisira.
25 Mukama n'agamba Musa nti
26 Bala omuwendo gw'omunyago ogwanyagibwa, abantu ' era n'ensolo, ggwe ne Eriyazaali kabona n'emitwe gy'ennyumba za bakitaabwe ez'ekibiina:
27 mwawulemu omunyago ebitundu bibiri; eky'abasajja abamanyi entalo abaatabaala, n'eky'ekibiina kyonna:
28 omusolooleze Mukama omusolo ku basajja abatabaazi abaatabaala: buli bitaano obulamu bumu, ku bantu ne ku nte ne ku ndogoyi ne ku mbuzi:
29 omusolooleze Mukama omusolo ku basajja abatabaazi abaatabaala: buli bitaano obulamu bumu, ku bantu ne ku nte ne ku ndogoyi ne ku mbuzi:
30 Ne ku kitundu eky'abaana ba Isiraeri onoggyako obumu obuggibwa ku buli ataano, ku bantu, ku nte, ku ndogoyi, ne ku mbuzi, ku nsolo zonna, n'obuwa Abaleevi, abakuuma ennyumba ya Mukama gye baateresebwa.
31 Musa ne Eriyazaali kabona ne bakola nga Mukama bwe yalagira Musa.
32 N'eby'okugereka ebyafikkawo ku munyago abasajja abatabaazi gwe baanyaga, byali endiga obusiriivu mukaaga mu obukumi musanvu mu enkumi ttaano,
33 n'ente obukumi musanvu mu enkumi bbiri,
34 n'endogoyi obukumi mukaaga mu lukumi,
35 n'abantu obukumi busatu mu enkumi bbiri okugatta bonna, ku bakazi abatamanyanga musajja nga basula naye.
36 abatamanyanga musajja nga basula naye.
36 N'ekitundu ekyali eky'abo abaatabaala, omuwendo gwakyo kyali endiga obusiriivu busatu mu obukumi busatu mu kasanvu mu bitaano:
37 n'omusolo gwa Mukama ogw'oku ndiga gwali lukaaga mu nsanvu mu ttaano.
38 N'ente zaali obukumi busatu mu kakaaga; ku ezo omusolo gwa Mukama gwali nsanvu mu bbiri.
39 N'endogoyi zaali obukumi busatu mu bitaano; ku ezo omusolo gwa Mukama gwali nkaaga mu emu.
40 N'abantu baali kakumi mu kakaaga; ku abo omusolo gwa Mukama gwali abantu asatu mu babiri.
41 Musa n'awa Eriyazaali kabona omusolo, kye kyali ekiweebwayo ekisitulibwa ekya Mukama, nga Mukama bwe yalagira Musa.
42 Musa n'aggya ku kitundu eky'abaana ba Isiraeri, Musa kye yayawula ng'akiggya ku basajja abaatabaala,
43 (era ekitundu eky'ekibiina kyali endiga obusiriivu busatu mu obukumi busatu mu kasanvu mu bitaano,
44 n'ente obukumi busatu mu kakaaga,
45 n'endogoyi obukumi busatu mu bitaano,
46 n'abantu kakumi mu kakaaga;)
47 ku kitundu eky'abaana ba Isiraeri Musa n'aggya obulamu bumu obnggibwa ku buli ataano, ku bantu era ne ku nsolo, n'abiwa Abaleevi abaakuumanga. ennyumba ya Mukama gye baateresebwa; nga Mukama bwe yalagira Musa.
48 N'abaami abaatwala enkumi ez'omu ggye, abaami b'enkumi n'abaami b'ebikumi, ne basemberera Musa:
49 ne bagamba Musa nti Abaddu bo babaze omuwendo gw'abasajja abatabaazi be tutwala, so tekubuzeeko muntu n'omu ku ffe.
50 Era tuleese ekirabo kya Mukama, buli muntu ky'afunye, ebyobuyonjo ebya zaabu, emikuufu egy'oku magulu, n'emisagga, empeta eziriko obubonero n'ez'omu matu, n'ebikomo, okutangirira obulamu bwaffe mu maaso ga Mukama
51 Musa ne Eriyazaali kabona ne babaggyako ezaabu, ebyobuyonjo 'byonna ebiweese.
52 Ne zaabu yonna ey'ekiweebwayo ekisitulibwa kye baawaayo eri Mukama; nga bagiggya ku baami b'enkumi ne ku baami b'ebikumi, yali sekeri kakumi mu kakaaga mu lusanvu mu ataano.
53 (Kubanga abasajja abatabaazi; baali beenyagidde ebintu, buli mu'ntu ebibye.)
54 Musa ne Eriyazaali kabona ne batwala ezaabu ey'abaami b'enkumi n'ab'ebikumi, ne bagireeta mu weema ey'okusisinkanirangamu, okuba nga ekijjukizo eri abaana ba Isiraeri mu maaso ga Mukama.