1 Awo ne wasembera bawala ba Zerofekadi, mutabani wa Keferi, mutabani wa Gireyaadi, mutabani wa Makiri, mutabani wa Manase, ab'oku nda za Manase mutabani wa Yusufu: ne gano ge mannya ga bawala be; Maala, Noowa ne Kogula ne Mirika ne Tiruza.
2 Ne bayimirira mu maaso ga Musa ne mu maaso ga Eriyazaali kabona ne mu maaso g'abakulu a'ekibiina kyonna, ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu, nga boogera nti
3 Kitaffe yafiira mu ddungu, so teyali mu kibiina ky'abo abeekuŋŋaanyiza ku Mukama mu kibiina kya Koola: naye yafiira mu kibi kye ye; so teyazaala baana ba bulenzi.
4 Ekinaaba kiggisaawo ki erinnya lya kitaffe ku nda ye, kubanga teyazaala mwana wa bulenzi? Mutuwe obutaka mu baganda ba kitaffe.
5 Musa n'atwala ensonga yaabwe mu maaso ga Mukama.
6 Mukama n'agamba Musa nti
7 Bawala ba Zerofekadi boogera bya nsonga: tolirema kubawa butaka bwa busika mu baganda ba kitaabwe; era olibasisa obusika bwa kitaabwe.
8 Era onoogamba abaana ba Isiraeri nti Omusajja bw'anaafanga nga tazadde mwana wa bulenzi, kale muwala we munaamusisanga obusika bwe.
9 Era bw'anaabanga talina mwana wa buwala, kale munaawanga baganda be obusika bwe.
10 Era bw'anaabanga talina ba luganda, kale munaawanga baganda ba kitaawe obusika.
11 Era kitaawe bw'anaabanga talina ba luganda, kale munaawanga obutaka bwe oyo amuli okumpi mu luganda ku nda ye, naye anaabulyanga: era linaabanga eri abaana ba Isiraeri tteeka lya musango, nga Mukama bwe yalagira Musa.
12 Awo Mukama n'agamba Musa nti Linnya ku lusozi luno Abalimu, olengere ensi gye mpadde abaana ba Isiraeri.
13 Kale bw'onoomala okugirengera, naawe olikutlgaanyizibwa eri abantu bo, nga Alooni muganda wo bwe yakutl0aanyizibwa:
14 kubanga mwajeemera ekigambo kyange mu ddungu Zini, mu kuwakana kw'ekibiina, okuntukuliza ku mazzi mu maaso gaabwe. (Ago ge mazzi ag'e Meriba e Kadesi mu dduagu Zini.)
15 Musa n'agamba Mukama nti
16 Mukama, Katonda w'emyoyo gya bonna abalina emibiri, alonde omusajja okufuga ekibiina,
17 anaafulumanga mu maaso gaabwe, era anaayingiranga mu maaso gaabwe, era anaabafulumyanga, era anaabayingizanga; ekibiinal kya Mukama kireme okuba ng'endiga ezitalina musumba.
18 Mukama n'agamba Musa nti Twala Yoswa mutabani wa Nuni, omusajja alina omwoyo, omuteekeko omukono gwo;
19 omuyimirize mu maaso ga Eriyazaali kabona ne mu maaso g'ekibiina kyonna; omukuutirire mu maaso gaabwe.
20 Era onoomuteekako ku kitiibwa kyo, ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri bawulirenga.
21 Era anaayimiriranga mu maaso ga Eriyazaali kabona, anaamubuulizanga olw'omusango gwa Ulimu mu maaso ga Mukama: banaafulumanga lwa kigambo kye, era banaayingiranga lwa kigambo kye, ye n'abaana ba Isiraeri bonna wamu naye, ekibiina kyonna.
22 Musa n'akola nga Mukama bwe yamulagira: n'atwala Yoswa, n'amuyimiriza mu maaso ga Eriyazaali kabona, ne mu maaso g'ekibiina kyonna:
23 n'amuteekako emikono, n'amukuutira, nga Mukama bwe yayogera n'omukono gwa Musa.