1 Awo abaana ba Isiraeri, ekibiina kyonna, ne batuuka mu ddungu lya Zini mu mwezi ogw'olu bereberye: abantu ne batuula mu Kadesi; Miryamu n'afiira eyo n'aziikibwa eyo.
2 Ne wataba mazzi ga kibiina: ne beekuŋŋaanyiza ku Musa ne ku Alooni.
3 Abantu ne bawakana ne Musa ne boogera nti Singa twafa baganda baffe bwe baafiira mu maaso ga Mukama!
4 Era mw'aleetera ki ekibiina kya Mukama mu ddungu muno, tufiire omwo, ffe n'ebisibo byaffe?
5 Era mwatuggira ki mu Misiri okutulinnyisa okutuyingiza mu kifo kino ekibi? si kifo kya nsigo, so si kya ttiini, so si kya mizabbibu, so si kya mikomamawanga; so tewali mazzi ga kunywa.
6 Musa ne Alooni ne bava mu maaso g'ekibiina ne bagenda ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu, ne bavuunama amaaso gaabwe: ekitiibwa kya Mukama ne kibalabikira.
7 Mukama n'agamba Musa nti
8 Ddira omuggo ogwo, okuŋŋaanye ekibiina, ggwe ne Alooni muganda wo, mugambire olwazi mu maaso gaabwe, luleete amazzi gaalwo; onobaggira amazzi mu lwazi: bw'otyo bw'onoonywesa ekibiina n'ebisibo byabwe.
9 Musa n'addira omuggo ng'aguggya mu maaso ga Mukama, nga bwe yamulagira.
10 Musa ne Alooni ne bakuŋŋaanyiza ekibiina mu maaso g'olwazi, n'abagamba nti Muwulire nno, mmwe abajeemu; ffe tunaabaggira amaizi mu lwazi muno?
11 Musa n'ayimusa omukono gwe, n’akuba olwazi n'omuggo gwe emirundi ebiri: amazzi mangi ne gavaamu, ekibiina ne banywa n'ebisibo byabwe.
12 Mukama n'agamba Musa ne Alooni nti Kubanga temunzikirizza, okuntukuza mu maaso g'abaana ba Isiraeri, kyemuliva mulema okuyingiza ekibiina kino mu nsi gye mbawadde.
13 Ago ge mazzi ag'e Meriba; kubanga abaana ba Isiraeri baawakana ne Mukama, n'atukuzibwa mu bo.
14 Musa n'aiuma ababaka ng'ayima e Kadesi eri Kabaka w’e Edomu, nti Bw'atyo bw'ayogera Isiraeri muganda wo, nti Omanyi ennaku zonna ezaatubaako:
15 bakitaffe bwe baaserengeta mu Misiri, ne tumala mu Misiri ebiro bingi Abamisiri ne batukola bubi ne bakitaffe:
16 awo bwe twakaabira Mukama, n'awulira eddoboozi lyaffe, n'atuma malayika, n'atuggya mu Misiri: era, laba, tuli mu Kadesi; ekibuga ekiri ku nsalo yo enkomerero:
17 ka tuyite, nkwegayiridde, mu nsi yo: tetuliyita mu nnimiro newakubadde mu lusuku lw'emizabbibu, so tetulinywa ku mazzi ag'omu nzizi: tunaatambuliranga mu luguudo lwa kabaka, tetulikyamira ku mukono ogwa ddyo, newakubadde ogwa kkono, okutuusa lwe tuliyita ku nsalo yo.
18 Edomu n'amugamba nti Toliyita mu nze, nneme okukutabaala n'ekitala.
19 Abaana ba Isiraeri ne bamugamba nti Tulirinnyira mu luguudo: bwe tunaanywanga ku mazzi go, nze n'ebisibo byange, kale n'awanga omuweado gwago: ka mpitemu buyisi n'ebigere.
20 N'agamba nti Toli yitamu. Edomu n'amutabaala n'eggye lingi, n'omukono ogw'amaanyi.
21 Bw'atyo Edomu n'agaana okuyisa Isiraeri mu nsalo ye Isiraeri kyeyava akyuka okuva gy'ali.
22 Ne basitula e Kadesi ne batambula: abaana ba Isiraeri, ekibiiaa kyonna, ne batuuka ku lusozi Koola.
23 Mukama n'agambira Musa ne Alooni ku lusozi Koola, ku nsalo yensi ya Edomu, ng'ayogera
24 nti Alooni anaakuŋŋaanyizibwa eri abantu be: kubanga taliyingira mu nsi gye mpadde abaana ba Isiraeri, kubaaga mwajeemera ekigambo kyange ku mazzi ag'e Meriba.
25 Twala Alooni ne Eriyazaali mutabaai we, obalinnyise ku lusozi Koola:
26 Alooni omwambuleko ebyambalo bye, obimwambaze Eriyazaali mutabani we: kale Alooni anaakuŋŋaanyizibwa eri abantu be, era aaaafiira eyo.
27 Musa n'akola nga Mukama bwe yalagira: ne balinnya ku lusozi Koola mu maaso g'ekibiina kyonna.
28 Musa n'ayambula Alooni ebyambalo bye, n'abyambaza Eriyazaali mutabani we; Alooni n’afiira eyo ku ntikko y'olusozi: Musa ne Eriyazaali ne baserengeta ne bava ku lusozi.
29 Awo ekibiina kyonna bwe baalaba nga Alooni afudde, ne bamala ennaku asatu nga bakaabira Alooni, ennyumba ya Isiraeri yonna.