Home |  | Audio |  | Index |  | Verses

Okubala Numbers

Chapter : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29 30 31 32 33 34 35 36
1 Mukama n'agamba Musa nti
2 Gamba abaana ba Isiraeri, obaggyeko emiggo, buli nnyumba ya bakitaabwe gumu, ku bakulu baabwe bonna ng'ennyumba za bakitaabwe bwe ziri, emiggo kkumi n'ebiri: waadiika erinnya lya buli muntu ku muggo gwe.
3 Eraonoowandiika erinnya lya Alooni ku muggo gwa Leevi: kubanga buli; mutwe gw'ennyumba za bakitaabwe omuggo gunaaba gumu.
4 Era onoogitereka mu weema ey'okusisinkanirangamu mu maaso g'obujulirwa, we nsisinkanira nammwe.
5 Kale olunaatuuka, omuntu gwe nnaalonda omuggo gwe gunaaloka: nange naamalawo gye ndi okwemulugunya kw'abaana ba Isiraeri, kwe babeemulugunyiza.
6 Musa n'agamba abaana ba Isiraeri, abakulu baabwe bonna ne bamuwa emiggo, buli mukulu gumu, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe ziri, gy'emiggo kkumi n'ebiri: n'omuggo gwa Alooni gwali mu miggo gyabwe.
7 Musa n'atereka emiggo mu maaso ga Mukama mu weema ey'obujulirwa.
8 Awo olwatuuka enkya Musa n'ayiagira mu weema ey'obujulirwa; era, laba, omuggo gwa Alooni ogw'omu nnyumba ya Leevi nga gumeze ne guloka ne gusansula ne gubala amaloozi amengevu.
9 Musa n'afwumya emiggo gyonna eri abaana ba Isiraeri bonna ng'agiggya mu maaso ga Mukama: ne balaba, ne baddira buli muntu omuggo gwe.
10 Mukama n'agamba Musa nti Zzaayo omuggo gwa Alooai mu manso g'obujulirwa, okukuumibwanga okuba akobonero eri abaana b'obujeemu; omalewo okwemulugunya kwabwe ku nze, baleme okufa.
11 Musa bwe yakola bw'atyo: nga Mukama bwe yamulagira, bwe yakola.
12 Abaana ba Isiraeri ae bagamba Musa nti Laba, tuzikirira, tufudde, fenna tufudde.
13 Buli anaasemberanga, anaasemberanga ku nnyumba ya Mukama, anaafanga: fenna tulizikirira

Top |  | Next Page  |  | Index |  | Home
Full online version here [with search engine, multilingual display and audio Bible]