1 Mukama n'agamba Alooni nti Ggwe ne batabani bo n'ennyumba ya bakitamwe wamu naawe munaabangako obutali butuukirivu bw'awatukuvu: era ggwe ne batabani bo wamu naawe munaabangako obutali butuukirivu bw'obwakabona bwammwe.
2 Ne baganda bo nabo, ekika kya Leevi, ekika kya kitaawo, basembeze wamu naawe, bagattibwe naawe bakuweerezenga: naye ggwe ne batabani bo wamu naawe munaabanga mu maaso g'eweema ey'obujulirwa.
3 Era banaakuumanga bye wateresebwa, n'ebiteresebwa eby'Eweema yonna: kyokka tebasembereranga bintu bya mu watukuvu n'ekyoto, baleme okufa, bo newakubadde mmwe.
4 Era baligattibwa naawe ne bakuuma eweema ey'okusisinkanirangamu nga bwe baateresebwa, olw'okuweereza kwonna okw'omu Weema: ne munnaggwanga tabasembereranga.
5 Era munaakuumanga awatukuvu nga bwe mwateresebwa, n'ekyoto nga bwe mwateresebwa: walemenga okuba obusungu nate ku baana ba Isiraeri.
6 Naage, laba, nze nziye baganda bammwe Abaleevi mu baana ba Isiraeri: bo kirabo gye muli, ekiweereddwa eri Mukama, okukolanga okuweereza okw'omu weema ey'okusisinkanirangamu.
7 Naawe ne batabani bo wamu naawe munaakuumiranga obwakabona bwammwe buli kintu eky'ekyoto n'ebyo ebiri munda w'egglgi; era munaaweerezanga: mbawa obwakabona okuba okuweereza kwe muweereddwa: ne munnaggwanga anaasemberanga anattibwanga.
8 Mukama n'agamba Alooni nti Nange, laba, nze nkuteresezza ebiweebwayo gye ndi ebisitulibwa, ebintu byonna eby'abaana ba Isiraeri ebitukuzibwa, ggwe mbiwadde olw'okufukibwako amafuta, ne batabani bo, okuba ebbanja ennaku zonna.
9 Bino bye binaabanga ebibyo ku bintu ebitukuvu ennyo, ebinaafikkangawo ku muliro: but kitone kyabwe, buli kye bawaayo eky'obutta, na buli kye bawaayo olw'ekibi, na buli kye bawaayo olw'omusango, bye banansasulanga, binaabanga bitukuvu nnyo, bibyo era bya batabani bo.
10 Onoolyangako ng'ebintu ebitukuvu ennyo; buli musajja anaalyangako: binaabanga bitukuvu gy'oli.
11 Era bino bibyo: ekirabo kyabwe kye bawaa. yo ekisitulibwa, byonna abaana ba Isiraeri bye bawaayo ebiwuubibwawuubibwa: mbikuwadde ggwe ne batabani bo ne bawala bo wami naawe, okuba ebbanja ennaku zonna: buli muntu omulongoofu mu nnyumba yo anaalyangako
12 Amafuta gonna agasinga obu lungi ne zabbibu zonna ezisinga obulungi, ne ku ŋŋaano, ebiberebezye ku byo bye banaawanga Mukama, ggwe mbiwadde.
13 Ebibala ebinaasookanga okwengera ku byonna ebiri mu nsi yaabwe, bye banaaleeteranga Mukama, binaabanga bibyo; buli muntu omulongoofu ali mu nnyumba yo anaalyangako.
14 Buli kintu ekinaawongebwanga mu Isiraeri kinaabanga kikyo.
15 Buli ekinaggulanga enda, ku byonna ebirina omubiri bye bawaayo eri Mukama, oba nga muntu oba nga nsolo, binaabanga bibyo: naye omubereberye w'omuntu tolemanga kununula, n'embereberye z'ensolo ezitali nnongoofu onoonunulanga.
16 N'ebyo ebinaabanga eby'okununulibwa ku byo ebyakamaze omwezi ogumu onoonunulanga, ng'okubala kwo bwe kunaabanga, n'omuwendo ogwa sekeri ttaano, nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri eyo ze gera abiri.
17 Naye embereberye y'ente, oba embereberye y'endiga, oba embereberye y'embuzi, tonunulanga; ezo ntukuvu: onoomansiranga omusaayi gwazo ku kyoto, n'oyokya amasavu gaazo okuba ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro, okuba evvumbe eddungi eri Mukama.
18 N'ennyama yaazo eneebanga yiyo, ng'ekifuba ekiwuubibwawuubibwa era ng'ekisambi ekya ddyo, eneebanga yiyo.
19 Byonna ebisitulibwa ebiweebwayo ku bintu ebitukuvu, abaana ba Isiraeri bye bawaayo eri Mukama, nkubiwadde ggwe ne batabani bo ne bawala bo wamu naawe, okuba ebbanja ennaku zonna: ye ndagaano ey'omunnyo eteriggwaawo mu maaso ga Mukama eri ggwe n'eri ezzadde lyo awamu naawe.
20 Mukama n'agamba Alooni nti Toobenga na busika mu nsi yaabwe, so toobeaga na mugabo gwonna mu bo: nze mugabo gwo n'obusika bwo mu baana ba Isiraeri.
21 Era abaana ba Leevi, laba, mbawadde ebitundu byonna eby'ekkumi eby'omu Isiraeri okuba obusika, okuba empeera y'okuweereza kwabwe kwe baweereza, kwe kuweereza okw'omu weema ey'okusisinkanirangamu.
22 N'okuva leero abaana ba Isiraeri tebaasembererenga weema ya kusisinkaiurangamu, balemenga okubaako ekibi ne bafa.
23 Naye Abaleevi banaakolanga okuweereza okw'omu weema ey'okusisinkanirangamu, nabo banaabangako obutali butuukirivu bwabwe: lino linaabanga tteeka eritaliggwaawo mu mirembe gyammwe gyonna, era mu baana ba Isiraeri tebabanga na busika.
24 Kubanga ebitundu eby'ekkumi eby'abaana ba Isiraeri, bye bawaayo okuba ekiweebwayo ekisitulibwa eri Mukama, bye mbawadde Abaleevi okuba obusika: kyenvudde mbagamba nti Mu baana ba Isiraeri tebabanga na busika.
25 Mukama n'agamba Musa nti
26 Era nate onooyogera n'Abaleevi n'obagamba nti Bwe munaasoloozanga ku baana ba Isiraeri ebitundu eby'ekkumi bye mbawadde ku bc okuba obusika bwammwe, kale munaawangayo ku byo ekiweebwaye ekisitulibwa eri Mukama, ekitundu eky'ekkumi eky'ebitundu eby'ekkumi.
27 Era kye muwaayo ekisitulibwa kinaabalibwanga gye muli, ng'emmere enkalu ey'omuguuliro, era ng'ebikula mu ssogolero.
28 Bwe mutyo nammwe munaggyanga ku bitundu byammwe byonna eby'ekkumi abaana ba Isiraeri bye babawa, okuwaayo ekiweebwayo ekisitulibwa eri Mukama; era munaggyanga ku byo okuwa Alooni kabona ekiweebwayo ekya Muksma ekisitulibwa.
29 Ku birabo byammwe byonna kwe munaggyanga buli ekiweebwayo ekya Multama ekisitulibwa, ku ebyo byonna ebisinga obulungi, kye kitundu kyabyo ekitukuzibwa kye muggya ku byo.
30 Kyonoova obagamba nti Bwe munaasitulanga ebisinga obulungi ku byo, kale binaabalibwanga eri Abaleevi ng'ekyengera eky'omu gguuliro, era ng'ekyengera eky'omu ssogolero.
31 Era munaabiriiranga mu buli kifo, mmwe n'ennyumba zammwe: kubanga y'empeera yammwe olw'okuweereza kwammwe okw'omu weema ey'okusisinkanirangamu.
32 So temuubengako kibi olw'ebyo, bwe munaamalanga okusitula ku byo ebisinga obulungi ku byo: so temuvumisanga bintu bitukuvu by'abaana ba Isiraeri; mulemenga okivfa.