1 Mukama n'agamba Musa nti
2 Lagira abaana ba Isiraeri obagambe nti Bwe muliyingira mu nsi ya Kanani, (eyo ye nsi eribagwira okuba obusika, ensi ya Kanani ng'ensalo zaayo bwe ziri,)
3 kale oluuyi lwammwe olw'obukiika obwa ddyo luliva ku ddungu Zini ne luyita ku mabbali ga Edomu, n'ensalo yammwe ey'obukiika obwa ddyo eriva ku nkomerero y'Ennyanja Eyomunnyo ebuvanjuba:
4 n'ensalo yammwe erikyukira ku luuyi olw'obukiika obwa ddyo olw'ekkubo eririnnya ku Akulabbimu, n'eyita n'etuuka Ezini: n'enkomerero yaayo eriba ku luuyi olw'obukiika olwa ddyo olw'e Kadesubanea; era erifuluma okutuuka e Kazaladali, n'eyita n'etuuka e Yazimoni:
5 era ensalo erikyukira okuva e Yazimoni okutuuka ku mugga ogw'e Misiri, n'enkomerero yaayo eriba ku nnyanja.
6 N'okuba ensalo ey'ebugwanjuba, muliba n'ennyanja ennene n'ensalo yaayo: eyo y'eriba ensalo yammwe ey'ebugwanjuba.
7 N'eno y'eriba ensalo yammwe ey'obukiika obwa kkono: okuva ku nnyaaja ennene mulyerambira olusozi Koola:
8 okuva ku lusozi Koola muliramba okutuuka w'oyingirira e Kamasi; n'enkomerero y'ensalo eriba ku Zedada:
9 era easalo erifuluma okuruuka e Zifuloni, n'enkomerero yaayo eriba ku Kazalenaani: eyo y'eriba ensalo yammwe ey'obukiika obwa kkono.
10 Era muliramba ensalo yammwe ey'ebuvanjuba okuva e Kazalenaani okuruuka e Sefamu:
11 era ensalo eriva e Sefamu n'ekka e Libula ku luuyi olw'ebuvanjuba olw'e Yaini; era ensalo erikka, n'etuuka ku lubalama lw'ennyanja ey'e Kianeresi ebuvanjuba:
12 era ensalo erikka n'etuuka ku Yoludaani, n'enkomerero yaayo eriba ku Nnyanja Eyomunnyo: eyo y'e riba ensi yammwe ng'easalo zaayo bwe ziriba enjuyi zonna.
13 Musa n'alagira abaana ba Isiraeri ng'ayogera nti Eyo ye nsi gye mulisikira n'obululu, Mukama gy'alagidde okuwa ebika omwenda n'ekika eky'ekitundu:
14 kubanga ekika ky'abaana' ba Lewubeeni ng'ennyumba za bakitaabwe bwe ziri, n'ekika ky'abaana ba Gaadi ng'ennyumba za bakitaabwe bwe ziri, baamala okuweebwa obusika bwabwe n'ekika eky'ekitundu ekya Manase baamala okubuweebwa:
15 ebika ebibiri n'ekika eky'ekitundu baamala okuweebwa obusika bwabwe emitala wa Yoludaani e Yeriko ebuvanjuba enjuba gy'eva.
16 Mukama n'agamba Musa nti
17 Gano ge mannya g'abasajja abalibagabira ensi okuba obusika: Eriyazaali kabona ne Yoswa mutabani wa Nuni.
18 Era mulitwala omukulu omu ku buli kika, okugaba ensi okuba obusika.
19 Era gano ge manaya g'abasajja: ku kika kya Yuda Kalebu mutabani wa Yefune.
20 Ne ku kika ky'abaaaa ba Simyoni Semweri mutabani wa Ammikudi.
21 Ku kika kya Benyamiai, Eridaadi mutabani wa Kisuloni.
22 Ne ku kika ky'abaana ba Ddaani, omukulu omu Buki mutabani wa Yoguli.
23 Ku baana ba Yusufu: ku kika ky'abaana ba Manase, omukulu omu Kanieri mutabani wa Efodi;
24 ne ku kika ky'abaana ba Efulayimu omukulu omu Kamueri mutabani wa Sifutani.
25 Ne ku kika ky'abaana ba Zebbulooni, omukulu omu Erizafani mutabani wa Palunaki.
26 Ne ku kika ky'abaana ba Isakaali, omukulu omu Palutieri mutabani wa Azani.
27 Ne ku kika ky'abaana ba Aseri, omukulu omu Akikuda mutabaai wa Seromi.
28 Ne ku kika ky'abaana ba Nafutaali, omukulu omu Pedakeri mutabani wa Ammikudi.
29 Abo be baabo Mukama be yalagira okugabira abaana ba Isiraeri obusika mu nsi ya Kanaani.