1 Mukama n'agambira Musa mu ddungu lya Sinaayi, mu mwezi ogw'olubereberye ogw'omwaka ogw'okubiri nga bamaze okuva mu nsi y'e Misiri, nti
2 Era abaana ba Isiraeri bakwatenga Okuyitako mu atuuko zaakwo ezaalagirwa.
3 Ku lunaku olw'ekkumi n'ennya olw'omwezi guno, akawungeezi, kwe munaakukwatiranga mu ntuuko zaakwo ezaalagirwa: ng'amateeka gaakwo gonna n'obulombolombo bwakwo bwonna bwe buli, bwe munaakukwatanga bwe mutyo.
4 Musa n'agamba abaana ba Isiraeri bakwatenga Okuyitako.
5 Ne bakwatira Okuyitako mu mwezi ogw'olubereberye, ku lunaku olw'ekkumi n'ennya olw'omwezi, akawungeezi, mu ddungu lya Sinaayi: nga byonna bwe byali Mukama bye yalagira Musa, bwe batyo bwe baakola abaana ba Isiraeri.
6 Awo ne wabaawo abantu abaali nga si balongoofu olw'omulambo gw'omuntu, n'obutayinza ne batayinza kukwatira Kuyitako ku lunaku olwo: ne bajja mu maaso ga Musa ne Alooni ku lunaku olwo:
7 abantu abo ne bamugamba nti Tetuli balongoofu olw'omulambo gw'omuntu: ekituziyiza kiki okuwaayo ekitone kya Mukama mu ntuuko zaakyo mu baana ba Isiraeri?
8 Musa n'abagamba nti Musooke muleke; ndyoke mpulire Mukama ky'anaalagira ku mmwe.
9 Mukama n'agamba Musa nti
10 Gamba abaana ba Isiraeri nti Omuntu yenna ku mmwe oba ku mirembe gyammwe bw'anaabanga si mulongoofu olw'omulambo, oba bw'anaabanga ali mu lugendo ewala, naye anaakwatanga Okuyitako eri Mukama:
11 mu mwezi ogw'okubiri ku lunaku olw'ekkumi n'ennya akawungeezi kwe banaaku kwatiranga; banaakulyanga n'emigaati egitazimbulukuswa n'enva ezikaawa:
12 tebasigazangako okutuusa enkya, so tebamenyanga ggumba lyakwo: ng'etteeka lyonna ery'Okuyitako bwe liri bwe banaakukwatanga bwe batyo.
13 Naye omuntu omulongoofu so atali mu lugendo, n'aleka okukwata Okuyitako, obulamu obwo bunaazikirizibwanga mu bantu be: kubanga tawaddeeyo kitone kya Mukama mu ntuuko zaakyo ezaalagirwa, omuntu oyo anaabangako ekibi kye.
14 Era omugenyi bw'anaatuulanga mu mmwe, n'ayagala okukwata Okuyitako eri Mukama; ng'etteeka ery'Okuyitako n'obulombolombo bwakwo bwe buli, bw'anaakolanga bw'atyo: munaabanga n'etteeka limu eri omugenyi era n'eri oyo eyazaalirwa mu nsi.
15 Awo ku lunaku enayumba kwe yasimbirwa ekire ne kibikka ku nnyumba y'eweema ey'obujulirwa: era akawungeezi ne kiba ku nnyumba ng'ekifaananyi ky'omuliro, okutuusa enkya.
16 Bwe kyabanga bwe kityo ennaku zonna: ekire kyagibikkangako, n'ekifaananyi ky'omuliro ekiro.
17 Era buli ekire lwe kyaggibwangako ku Weema, awo abaana ba Isiraeri ne balyoka batambula: ne mu kifo ekire mwe kyabeeranga, awo abaana ba Isiraeri we baasiisiranga.
18 Abaana ba Isiraeri baatambulanga lwa kiragiro kya Mukama, era baasiisiranga lwa kiragiro kya Mukama: ekiseera kyonna ekire kye kyamalanga ku nnyumba baatuulanga mu lusiisira.
19 Era ekire bwe kyalwanga ennaku nnyingi ku nnyumba, awo abaana ba Isiraeri ne bakwatanga ekiragiro kya Mukama, ne batatambula.
20 Era oluusi ekire kyamalanga ennaku ntono ku nnyumba; awo ng'ekiragiro kya Mukama bwe kyali ne batuulanga mu lusiisira, era ng'ekiragiro kya Mukama bwe kyali baatambulanga.
21 Era oluusi ekire kyabangako okusooka akawungeezi okutuusa enkya; era ekire bwe kyaggibwangako enkya ne batambula: oba bwe kyabangako emisana n'ekiro, ekire bwe kyaggibwangako, ne batambula.
22 Oba nga nnaku bbiri oba nga mwezi oba nga mwaka, ekire bwe kyalwanga ku nnyumba, nga kibeera okwo, abaana ba Isiraeri ne batuulanga mu lusiisira, ne batatambula: naye bwe kyaggibwangako, ne batambulanga.
23 Baasiisiranga lwa kiragiro kya Mukama, era baatambulanga lwa kiragiro kya Mukama: baakwatanga ebyo Mukama bye yakuutira, olw'ekiragiro kya Mukama mu mukono gwa Musa.