Home |  | Audio |  | Index |  | Verses

2 Bassekabaka 2 Kings

Chapter : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25
1 Awo Mowaabu n'ajeemera Isiraeri Akabu ng'amaze okufa.
2 Akaziya n'agwa mu kituli ekiruke ekyali mu kisenge kye ekya waggulu ekyali mu Samaliya, n'alwala: n'atuma ababaka, n'abagamba nti Mugende mulagulwe eri Baaluzebubi katonda ow'e Ekuloni oba nga ndiwona endwadde eno.
3 Naye malayika wa Mukama n'agamba Eriya Omutisubi nti Golokoka osisinkane ababaka ba kabaka w'e Samaliya obagambe nti Kubanga tewali Katonda mu Isiraeri kyemuva mugenda okulagulwa eri Baaluzebubi katonda ow'e Ekuloni?
4 Kale nno, bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Toliva ku kitanda ky'olinnyeeko, naye tolirema kufa. Eriya n'agenda.
5 Ababaka ne bakomawo gy'ali, n'abagamba nti Kiki ekibakomezzaawo?
6 Ne bamugamba nti Wazze omusajja okutusisinkana n'atugamba nti Mugende muddeeyo eri kabaka abatumye, mumugambe nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Kubanga tewali Katonda mu Isiraeri kyova otuma okulagulwa eri Baaluzebubi katonda ow'e Ekuloni? kyoliva olema okuva ku kitanda ky'olinnyeeko, naye tolirema kufa.
7 N'abagamba nti Omusajja azze okubasisinkana n'ababuulira ebigambo ebyo afaananye atya?
8 Ne bamuddamu nti Yali musajja wa bwoya bungi, era nga yeesibye olukoba olw'eddiba mu kiwato kye.
9 Awo kabaka n'atuma gy'ali omwami w'ataano n'abasajja be ataano. N'ayambuka gy'ali: kale, laba, ng'atudde ku ntikko y'olusozi. N'ayogera naye nti Ggwe omusajja wa Katonda, kabaka ayogedde nti Serengeta.
10 Awo Eriya n'addamu n'agamba omwami w'ataano nti Oba ndi musajja wa Katonda, omuliro guve mu ggulu gwokye ggwe n'abasajja' bo ataano. Omuliro ne guva mu'I ggulu ne gumwokya ye n'abasajja be ataano.
11 Awo n'atuma nate gy'ali omwami w'ataano omulala n'abasajja be ataano. N'addamu n'amugamba nti Ggwe omusajja wa Katonda, bw'atyo kabaka bw'ayogedde nti Yanguwa okuserengeta.
12 Awo Eriya n'addamu n'abagamba nti Oba nga ndi musajja wa Katonda, omuliro guve mu ggulu gwokye ggwe n'abasajja bo ataano. Omuliro gwa Katonda ne guva mu ggulu ne gumwokya ye n'abasajja be ataano.
13 Awo n'atuma nate omwami w'ataano abalala n'abasajja be ataano. Omwami w'ataano ow'okusatu n'ayambuka n'ajja n'afukamira ku maviivi ge mu maaso ga Eriya, n'amwegayirira n'amugamba nti Ggwe omusajja wa Katonda, nkwegayiridde, obulamu bwange n'obulamu bwa bano ataano abaddu bo bube bwa muwendo mungi mu maaso go.
14 Laba, omuliro gwavudde mu ggulu ne gwokya abaami b'ataano bombi abaasoose n'abasajja baabwe ataano: naye kaakano obulamu bwange bube bwa muwendo mungi mu maaso go.
15 Awo malayika wa Mukama n'agamba Eriya nti Serengeta naye tomutya. N'agolokoka n'aserengeta naye n'agenda eri kabaka.
16 N'amugamba nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Kubanga watuma ababaka okulagulwa eri Baaluzebubi katonda ow'e Ekuloni, kubanga tewali katonda mu Isiraeri okulagulwa eri ekigambo kye kyewava okola bw'otyo? kyoliva olema okuva ku kitanda ky'olinnyeeko, naye tolirema kufa.
17 Awo n'afa ng'ekigambo kya Mukama bwe kyali Eriya kye yayogera. Yekolaamu n'atanula okufuga mu kifo kye mu mwaka ogw'okubiri ogwa Yekolaamu mutabani wa Yekosafaati kabaka wa Yuda; kubanga teyalina mwana wa bulenzi.
18 Era ebikolwa ebirala byonna ebya Akaziya bye yakola tebyawandiikibwa mu kitabo eky'e by'omu mirembe gya bassekabaka ba Isiraeri?

Top |  | Next Page  |  | Index |  | Home
Full online version here [with search engine, multilingual display and audio Bible]