Home |  | Audio |  | Index |  | Verses

2 Bassekabaka 2 Kings

Chapter : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25
1 Yosiya yali yaakamaze emyaka munaana bwe yatanula okufuga; n'afugira emyaka amakumi asatu mu gumu mu Yerusaalemi: ne nnyina erinnya lye yali Yedida muwala wa Adaya ow'e Bozukasi.
2 N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebirungi n'atambulira mu kkubo lyonna erya Dawudi jjajjaawe n'atakyamira ku mukono ogwa ddyo newakubadde ku gwa kkono.
3 Awo olwatuuka mu mwaka ogw'ekkumi n'omunaana ogwa kabaka Yosiya kabaka n'atuma Safani mutabani wa Azaliya mutabani wa Mesullamu omuwandiisi eri ennyumba ya Mukama ng'ayogera nti
4 Mwambuke eri Kirukiya kabona asinga obukulu, abale effeeza ezireetebwa mu nnyumba ya Mukama, abaggazi ze baakasolooza ku bantu:
5 baziweeyo mu mukono gw'abakozi b'emirimu abalabirira ennyumba ya Mukama: baziwe abakozi b'emirimu abali mu nnyumba ya Mukama okuddaabiriza ebituli by'ennyumba;
6 ababazzi n'abazimbi n'abazimbi b'amayinja; era olw'okugula emiti n'amayinja amabajje okuddaabiriza ennyumba.
7 Naye tebaabalirira muwendo eri abo ogw'effeeza ezaaweebwa mu mukono gwabwe; kubanga baakolanga n'obwesigwa.
8 Awo Kirukiya kabona asinga obukulu n’agamba Safani omuwandiisi nti Nzudde ekitabo eky'amateeka mu nnyumba ya Mukama. Awo Kirukiya n'awa Safani ekitabo n'akisoma.
9 Awo Safani omuwandiisi n'ajja eri kabaka n'addiza kabaka ebigambo n'ayogera nti Abaddu bo baggyeemu effeeza ezirabise mu nnyumba, ne baziwa mu mukono gw'abakozi b'emirimu abalabirira ennyumba ya Mukama.
10 Awo Safani omuwandiisi n'agamba kabaka nti Kirukiya kabona ampadde ekitabo. Safani n'akisoma mu maaso ga kabaka.
11 Awo olwatuuka kabaka bwe yawulirA ebigambo eby'ekitabo eky'amateeka, n'ayuza ebyambalo bye.
12 Awo kabaka n'alagira Kirukiya kabona ne Akikamu mutabani wa Safani ne Akuboli mutabani wa Mikaaya ne Safani omuwandiisi ne Asaya omuddu wa kabaka ng'ayogera nti
13 Mugende mumbuulirize Mukama nze n'abantu ne Yuda yenna eby'ebigambo eby'ekitabo kino ekizuuliddwa: kubanga obusungu bwa Mukama obubuubuuse eri ffe bungi kubanga bajjajjaffe tebaawulira bigambo bya kitabo kino okukola nga byonna bwe biri ebyatuwandiikirwa.
14 Awo Kirukiya kabona ne Akikamu ne Akuboli ne Safani ne Asaya ne bagenda eri Kuluda nnabbi omukazi muka Sallumu mutabani wa Tikuva mutabani wa Kalukasi omuwanika w'ebyambalo; (oyo yabeeranga mu Yerusaalemi ku luuyi olw'okubiri;) ne bateesa naye.
15 Awo n'abagamba nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri nti Mumugambe omusajja abatumye gye ndi nti
16 Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Laba, ndireeta obubi ku kifo kino ne ku abo abakibeeramu, ebigambo byonna eby'ekitabo kabaka wa Yuda ky'asomye:
17 kubanga banvuddeko ne bookera obubaane eri bakatonda abalala bansunguwaze n'omulimu gwonna ogw'engalo zaabwe; obusungu bwange kyebuliva bubuubuuka ku kifo kino so tebulizikira.
18 Naye kabaka wa Yuda abatumye okubuuza Mukama bwe mutyo bwe muba mumugamba nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri nii Olw'ebigambo by'owulidde,
19 kubanga omutima gwo gubadde mugonvu ne weetoowaliza mu maaso ga Mukama bw'owulidde bye nnayogera ku kifo kino ne ku abo abakibeeramu, nga balifuuka amaiongo n'ekikolimo, n'oyuza ebyambalo byo n'okaaba amaziga mu maaso gange; nange nkuwulidde, bw'ayogera Mukama.
20 Laba, kyendiva nkukuŋŋaanya eri bajjajjaabo n'okuŋŋaanyizibwa mu ntaana yo mirembe, so n'amaaso go tegaliraba bubi bwonna bwe ndireeta ku kifo kino. Ne baddiza kabaka ebigambo.

Top |  | Next Page  |  | Index |  | Home
Full online version here [with search engine, multilingual display and audio Bible]