Home |  | Audio |  | Index |  | Verses

2 Bassekabaka 2 Kings

Chapter : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25
1 Awo Asaliya nnyina Akaziya bwe yalaba omwana we ng'afudde, n'agolokoka n'azikiriza ezzadde lyonna erya kabaka.
2 Naye Yekoseba muwala wa kabaka Yolmu mwannyina Akaziya n'atwala Yowsi mutabani wa Akaziya n'amubba n’amuggya mu bna ba kabeka abattibwa, ye n'omulezi we n'abateeka mu kisenge eky'okusulamu; ne bamukweka Asaliya, aleme okuttibwa.
3 Awo n'abeetaka naye ng'akwekeddwa mu nnyumba ya Mukama n'amala emyaira mukga: Asaliya n’afuga ensi.
4 Awo mu mwaka ogw'omusanvu Yekoyda n'atuma n'akima abmi b'ebikumi ab'oku Bakali n'abambowa, n'abaleeta gy'ali mu nnyumba ya Mukama; n'alagna nabo endagno n'abalayiza ekirayiro mu nnyumba ya Mukama, n'abalaga omwana wa kabaka.
5 Awo n'abalagira ng'ayogera nti Ekigambo kino kye muba mukola: ekitundu kyammwe eky'okusatu abyingira ku ssabbiiti banba n'omulimu ogw'okukuuma ennyumba ya kabaka;
6 n'ekitundu eky'okusatu banba ku mulyango Suuli: n'ekitundu eky'okusatu banba ku mulyango ennyuma w'abambowa: bwe mutyo bwe munba n'omulimu ogw'okukuuma ennyumba, ne muba lukomera.
7 N'ebibiina byammwe ebibiri, bonnbfuIumaku ssabbiiti, muliba n'omulimu ogw'okukuuma ennyumba ya Mukama okwetooloola kabaka.
8 Era muneetooloola kabaka enjuyi zonna, buli muntu ng'akutte ebyokulwyisa bye mu mukoao gwe; n'oyo anyingira mu nayiriri attibwe: era mubenga ne 'rabaka bw'anfulumanga era bw'anyingiranga.
9 Abmi b'ebikuni ne bakola nga byonna bwe biri Yekoyda kabona by'alagidde: ne batwala buli muntu abasajja be, ab'okuyingira ku ssabbiiti wamu n'ab'okufuluma ku ssabbiiti, ne bajja eri Yekoyda kabona.
10 Awo abona n'abawa abmi b'ebikumi mafumu n'engabo ebyali ebya kabaka Dawudi, ebyali mu nnyumba a Mukama.
11 Awo abambowa ne bayimirira, buli muatu ng'akutte byokulwanyisa bye, okuva ku luuyi w'ennyumba olwa ddyo okutunka ku luuyi lw'ennyumba olwa kkono, kulirna ekyoto n'ennyumba awali kabaka enjuyi zonna.
12 Awo n'alumya omwana wa kabaka n'amutikkira engule ey'obwakabaka n’amuwa obujulirwa; ne bamufuula kabaka ne bamufukako amafuta; ne bakuba mu ngalo ne boogera nti Kabaka, abe mulamu.
13 Awo Asaliya bwe yawulira oluyoogno lw'abambowa n'olw'abantu, n’ajja eri abantu mu nnyumba ya Mukama:
14 n'atunula, kale, laba, kabaka ng'ayimiridde awali empagi ng'engeri bwe yabanga, n'abmi n'amakondeere nga balirnye kabaka; n'abantu bonna ab'ensi ne basanyuka ne bafuuwa amakondeere. Awo Asaliya n'ayuza ebyambalo bye n'ayogerera waggulu nti Bujeemu, bujeemu.
15 Awo Yekoyda kabona n'alagira abmi b'ebikumi abteekebwawo ku ggye, n'abagamba nti Mumufulumye wakati w'ennyiriri; n'oyo anmugoberera mumutte n'ekitala: kubanga kabona yayogera nti Aleme okuttirwa mu nnyumba ya Mukama.
16 Awo ne bamusegulira; n'ayita mu kkubo embalsi we ziyingirira, mu nnyumba ya kabaka: n'attirwa eyo.
17 Awo Yekoyda n'alagna endagno eri Mukama ne kabaka n'abantu, babeere abantu ba Mukama; era eri kabaka n'abantu.
18 Awo abantu bonna ab'omu nsi ne bagenda mu nnyumba ya Bli, ne bagimenyamenya; ebyoto bye n'ebifnanyi bye ne babimenyera ddala, ne battira Matani kabona wa Bli mu mso g'ebyoto. Awo kabona n'asswo abmi ab'oku nnyumba ya Mukama.
19 N'atwala abmi b'ebikumi n'Abakali, n'abambowa n'abantu bonna ab'omu nsi omwo; ne baserengesa kabaka nga bamuggya mu nnyumba ya Mukama, ne bajja nga bafuluma mu kkubo ery'omulyango gw'abambowa eri ennyumba ya kabaka.
20 Awo abantu bonna ab'omu nsi ne basanyuka, ekibuga ne kitereera: ne battira Asaliya n'ekitala awali ennyumba ya kabaka.
21 Yekoysi yali ykamaze emyaka musanvu bwe yatanula okufuga.

Top |  | Next Page  |  | Index |  | Home
Full online version here [with search engine, multilingual display and audio Bible]