1 Mu mwaka ogw'ekkumi n'omusanvu ogwa Peka mutabani wa Lemaliya Akazi mutabani we Yosamu kabaka wa Yuda n'atanula okufuga.
2 Akazi Yali ykamaze emYaka amakumi abiri bwe yatanula okufuga; n'afugira emyaka kkumi na mukga mu Yeruslemi: n'atakola ebyali mu mso ga Mukama Katonda we ebirungi nga Dawudi kitwe.
3 Naye n'atambulira mu kkubo lya bassekabaka ba Isiraeri, n'okuyisa n'ayisa mutabani we mu muliro ng'eby'emizizo bwe byali eby'ab'amawanga Mukama be yagoba mu mso g'abna ba Isiraeri.
4 N'awangayo ssaddka n'ayoterezanga obubne ku bifo ebigulumivu ne ku nsozi ne wansi wa buli muti omubisi.
5 Awo Lezini kabaka We Busuuli ne Peka mutabani wa Lemaliya kabaka wa Isiraeri ne bambuka e Yeruslemi okulwana: ne bazingiza Akazi, naye ne batayinza kumuwangula.
6 Mu biro ebyo Lezini kabaka w'e Busuuli mwe yakomerezwo Obusuuli e Erasi n'agoba Abayudya mu Erasi: Abasuuli ne bajja e Erasi ne babeera eyo ne leero.
7 Awo Akazi n'atumira Tigulasupireseri kabaka w'e Bwasuli ababaka ng'ayogera nti Nze ndi muddu wo era ndi mwana wo : yambuka omponye mu mukono gwa kabaka w'e Busuuli ne mu mukono gwa kabaka wa Isiraeri abangolokokeddeko.
8 Awo Akazi n'addira ezbu n’effeeza ezlabika mu nnyumba ya Mukama ne mu by'obugagga eby'omu nnyumba ya kabaka, n'abiweereza kabaka w'e Bwasuli okuba ekirabo.
9 Awo kabaka We Bwasuli n'amuwulira: kabaka w'e Bwasuli n'atabla Ddamasiko n'akimenya, n'atwala abyo nga basibe e Kiri, n'atta Lezini.
10 Awo kabaka Akazi n'agenda e Ddamasiko okusisinkana ne Tigulasupireseri kabaka w'e Bwasuli, n'alaba ekyoto ekyali e Ddamasiko: kabaka Akazi n'aweereza Uliya kabona embala y'ekyoto n'engeri ykyo ng'omulimu gwakyo gwonna bwe gwali.
11 Awo Uliya kabona n'azimba ekyoto: nga byonna bwe byali kabaka Akazi bye yaweezeza ng'ayima e Ddamasiko bw'atyo Uliya kabona bwe yakikola kabaka Akazi akisange ng'avudde e Ddamasiko.
12 Awo kabaka bwe yajja okuva e Ddamasiko, kabaka n’alaba ekyoto: kabaka n'asemberera ekyoto n'eweerayo ku kyo ssaddka.
13 N'ayokya ekyo kye yawyo ekyokebwa n'ekyo kye yawyo eky'obutta n'afuka ekyo kye yawyo ekyokunywa, n'amansira omusasyi gw'ebyo bye yawyo olw'emirembe ku kyoto.
14 Era ekyoto eky'ekikomo ekyali mu mso ga Mukama n'akiggya mu bwenyi bw'ennyumba wakati w'ekyoto kye n'ennyumba ya Mukama, n'akiteeka ku luuyi olw'obukiika obwa kkono olw'ekyoto kye.
15 Awo kabaka Akazi n'alagira Uliya kabona ng'ayogera nti Oyokeranga ku kyoto ekinene ekiweebwayo ekyokebwa eky'enkya n'ekiweebwayo eky'obutta eky'akawungeezi n'ekiweebwayo ekyokebwal ekya kabaka n'ekikye ekiweebwayo eky'obutta, wamu n'ekiweebwayo ekyokebwa eky'abantu bonna ab'omu nsi eyo n'ekyabwe ekiweebwayo eky'obutta n'ebyabwe ebiweebwayo ebyokunywa; omansirangako omusyi gwonna ogw'ekiweebwayo ekyokebwa n'omusyi gwonna ogwa ssaddka: naye ekyoto eky'ekikomo kinbanga kya kulagulirako gye ndi.
16 Bw'atyo Uliya kabona n'akola nga byonna bwe byali kabaka Akazi bye yalagira.
17 Awo kabaka Akazi n'asalako emigo gy'entebe n'aggya ekinbirwamu ku zo; n'assa ennyanja ng'agiggya ku nte ez'ebikomo ezli wansi wyo, n'agiteeka ku mayinja amliire.
18 N'ekkubo eryabikkibwako erya ssabbiiti lye bli bazimbye mu nnyumba n'omulyango gwa kabaka ebweru n'alyetoolooza ennyumba ya Mukama olwa kabaka w'e Bwasuli.
19 Era ebikolwa ebirala byonna ebya Akazi bye yakola tebyawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Yuda?
20 Akazi ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe mu kibuga kya Dawudi: Keezeekiya mutabani we n'afuga mu kifo kye.