1 Awo Akabu yalina batabani be nsanvu mu Samaliya. Yeeku n'awandiika ebbaluwa n'atumira Samaliya eri abakulu w’e Yezuleeri, be bakadde, n'eri abo ablera batabani ba Akabu ng'ayogera nti
2 Kale nno ebbaluwa eno nga kyejje etuuke gye muli, kubanga abna ba mukama wammwe bali nammwe, era mulina amagli n'e mbalsi, era n'ekibuga ekiriko enkomera n'ebyokulwanyisa;
3 munoonye ku bna ba mukama wammwe asinga obulungi n'okusna, mumuteeke ku ntebe ya kitwe, mulwanirire ennyumba ya mukama wammwe.
4 Naye ne batya nnyo ne boogera nti Laba, bakabaka abo ababiri tebyimirira mu mso ge: kale ffe tunyimirira tutya?
5 Awo omukulu w'abo mu nnyumba n'omukulu w'ekibuga, era n'abakadde n'abo ablera abna, ne batumira Yeeku nga boogera nti Tuli baddu bo, era tunkola byonna by'onooiulagira: tetujja kufuula muntu yenna kabaka: okolanga ekinba ekirungi mu mso go.
6 Awo n'abawandiikira ebbaluwa omuluadi ogw'okubiri ng'ayogera nti Oba nga muli ku lwange ne mukkiriza okuwulira eddoboozi lyange, mutwale emitwe gy'abasajja batabani ba mukama wammwe, mujje gye ndi e Yezuleeri enkya bwe buliba nga, kampegno. Awo batabani ba kabaka abantu nsanvu bli n'abakulu b'ekibuga abbalera.
7 Awo olwatuuka ebbaluwa bwe yatuuka gye bli, ne batwala batabani ba kabaka ne babatta, abantu nsanvu, ne bateeka emitwe gyabwe mu bisero, ne bagimuweereza e Yezuleeri.
8 Omubaka n'ajja n'amubuulira nti Baleese emitwe gya batabani ba kabaka. N'ayogera nti Mugituume entuumo bbiri awayingirirwa mu wankki okutuusa enkya.
9 Awo olwatuuka enkya n'afuluma n'ayimirira n'agamba abantu bonna nti Mmwe muli batuukirivu: laba, neekobna mukama wange ne mmutta: naye ani asse bano bonna? Mutegeere nno nga ku kigambo kya Mukama tekuligwa wansi na kimu Mukama kye yayogera ku nnyumba ya Akabu: kubanga Mukama akoze ekyo kye yayogerera mu muddu we Eriya.
10 Mutegeere nno nga ku kigambo kya Mukama tekuligwa wansi na kimu Mukama kye yayogera ku nnyumba ya Akabu: kubanga Mukama akoze ekyo kye yayogerera mu muddu we Eriya.
11 Bw'atyo Yeeku n'akuba n'abo absigala ku nnyumba ya Akabu mu Yezuleeri n'abakulu be bonna, ne baganzi be ne bakabona be okutuusa lw'atmulekerawo n'omu eyasigala.
12 Awo n'agolokoka n'agenda n'ajja e Samaliya. Awo bwe yali ali mu kkubo ku nnyumba ey'okusaliramu ebyoya by'endiga ey'abasumba,
13 Yeeku n'asanga, baganda ba Akaziya kabaka wa Yuda, n'ayogera nti Mmwe muli' b'ani? Ne bamuddamu nti Tuli baganda ba Akaziya: era tuserengeta okulamusa abna ba kabaka n'abna ba nnamasole.
14 N'ayogera nti Mubakwate nga balamu. Ne babakwata nga balamu, ne babattira ku bunnya obw'ennyumba ey'okusaliramu ebyoya by'endiga, abasajja amakumi ana mu babiri; so teyafisswo n'omu ku bo.
15 Awo bwe yavyo n'asanga Yekonadabu mutabani wa Lekabu ng'ajja okumusisinkana: n'amulamusa n'amugamba nti Omutima gwo mulungi ng'omutima gwange bwe guli eri omutima gwo? Yekonadabu n'addamu nti Mulungi. Oba nga mulungi, mpa omukono gwo. N'amuwa omukono gwe; n'amutinnyisa gy'ali mu ggli.
16 N'ayogera nti Jjangu tugende fembi olabe obuggya bwange olwa Mukama. Awo ne bamulinnyisa mu ggli lye:
17 Awo bwe yatuuka e Samaliya n'atta bonna absigalira Akabu mu Samaliya okutuusa lwe yamuzikiriza ng'ekigambo kya Mukama bwe kyali kye yagamba Eriya.
18 Awo Yeeku n'akuŋŋnya abantu bonna n'abagamba nti Akabu yaweerezanga Bli katono; naye Yeeku anmuweereza nnyo.
19 Kale nno muyite gye ndi bannabbi bonna aba Bli, abamusinza bonna ne bakabona be bonna; waleme okubulawo n'omu: kubanga nnina ssaddka enkulu gye nnweereza Bli; buli alibulawo taliba mulamu. Naye Yeeku yakola bw'atyo ng'asala lukwe alyoke azikirize absinza Bli.
20 Awo Yeeku n'ayogera nti Mutukuze okukuŋŋna okutukuvu eri Bli. Ne bakulangira.
21 Awo Yeeku n'atuma okubunya Isiraeri yonna: absinza Bli bonna ne bajja n'okusigala n'etasigala muntu atajja. Ne bajja mu nnyunba ya Bli; ennyumba ya Bli n'ejjula okuva ku mulyango okutuuka ku buziizi.
22 Awo n'agamba omukulu w'ennyumba eyambalirwamu nti Fulumya ebyambalo eri bonna abasinza Bli. N'afulumya ebyambalo eri bo.
23 Yeeku ne Yekonadabu mutabani wa Lekabu ne bayingira mu nnyumba ya Bli; n'agamba abasinza Bli nti Munoonye mulabe muleme okuba muno nammwe ku baddu ba Mukama, wabula abasinza Bli bokka.
24 Awo ne bayingira okuwyo ssaddka n'ebiweebwayo ebyokebwa. Era Yeeku yali ataiddewo abasajja kinna ebweru n'ayogera nti Ku basajja be nnIleeta mu mikono gyammwe bwe kunbulako n'omu, amuta obuIlamu bwe bunba mu kifo ky'obulamu bw'oyo.
25 Awo olwatuuka bwe yamala okuwyo ekiweebwayo 'ekyokebwa, Yeeku n'agamba abambowa n'abmi nti Muyingire mubatte; waleme okufuluma n'omu. Ne babatta n'obwogi bw'ekitala: awo abambowa n'abmi ne babasuula ebweru ne bagenda mu kibuga eky'essabo lya Bli.
26 Awo ne baggya empagi ezli mu nnyumba ya Bli ne bazookya.
27 Ne bamenyamenya empagi ya Bli ne bamenyamenya essabo lya Bli ne balifuula ekiyigo ne leero.
28 Bw'atyo Yeeku bwe yazikiriza Bli okumumalawo mu Isiraeri.
29 Era naye Yeeku teyaleka kugoberera bibi bya Yerobowmu mutabani wa Nebati bye yayonoonyesa Isiraeri, ennyana eza zbu ezli mu Beseri n'ezli mu Ddn i.
30 Mukama n'agamba Yeeku nti Kubanga okoze bulungi ng'otuukirizza ebiri mu mso gange ebirungi, n'okola ennyumba ya Akabw 'nga byonna bwe biri ebyali mu mutima gwange, batabani bo bannakana kyebaliva batuula ku ntebe ya Isiraeri.
31 Naye Yeeku n'atassesyo mwoyo okutambulira mu mateeka ga Mukama Katonda wa Isiraeri n'omutima gwe gwonna; teyava mu bibi bya Yerobowmu bye yayonoonyesa Isiraeri.
32 Mu biro ebyo Mukama n'atanula okukendeeza Isiraeri: Kerayeeri n'abakubira mu nsalo zonna eza Isiraeri;
33 okuva ku Yoludni ebuvanjuba, ensi yonna ey'e Gireydi, Abagdi n'Abalewubeeni n'Abamanase, okuva ku Aloweri ekirirnye ekiwonvu kya Alunoni, Gireydi ne Basani.
34 Era ebikolwa ebirala byonna ebya Yeeku ne byonma bye yakola, n'amnyi ge gonna tebyawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Isiraeri?
35 Yeeku ne yeebakira wamu ne bajjajjbe: ne bamuziika mu Samaliya. Yekoyakzi mutabani we n'afuga mu kifo kye.
36 Era ebiro Yeeku bye Yafugira Isiraeri mu Samaliya byali emyaka amakumi abiri mu munna.