1 Awo Erisa n'ayogera nti Muwulire ekigambo kya Mukama: bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Enkya bwe bunaaba nga kampegaano ekigero ky'obutta obulungi kiritundibwa sekeri, n'ebigero bibiri ebya sayiri sekeri mu wankaaki We Samaliya.
2 Awo omwami kabaka gwe yeesigamanga ku mukono gwe n'addamu omusajja wa Katonda n'ayogera nti Laba, Mukama bw'anaakola ebituli mu ggulu, ekigambo ekyo kyandiyinzise okubaawo? N'ayogera nti Laba, olikiriba n'amaaso go, naye toliryako.
3 Awo waaliwo abasajja bana abagenge awayingirirwa mu wankaaki: ne bagambagana nti Kiki ekitutuuza wano okutuusa lwe tulifa?
4 Oba nga tunaagamba nti Tunaayingira mu kibuga, kale enjala ng'eri mu kibuga, kale tunaafiira omwo: era oba nga tunaatuula wano butuuzi, era tunaafa. Kale nno mujje tusenge eggye ly'Abasuuli: bwe banaatuwonya nga balamu, kale ruliba balamu; era bwe banaatutta, tunaamala gafa.
5 Awo ne bagolokoka ekiro okugenda mu lusiisira olw'Abasuuli: awo bwe baatuuka ku lusiisira olw'Abasuuli we lukoma, laba, nga teriiyo muntu.
6 Kubanga Mukama yali awulizizza eggye ly'Abasuuli eddoboozi ly'amagaali n'eddoboozi ly'embalaasi, eddoboozi ly'eggye eringi: ne bagambagana nti Laba, kabaka wa Isiraeri atuweereddeko bakabaka b'Abakiiti ne bakabaka b'Abamisiri okututabaala.
7 Awo ne bagolokoka ne badduka kiro, ne baleka eweema zaabwe n'embalaasi zaabwe, n'endogoyi zaabwe, olusiisira nga bwe lwali, ne badduka olw'obulamu bwabwe.
8 Awo abagenge abo bwe baatuuka ku lusiisira we lukoma, ne bayingira mu weema emu ne balya ne banywa; ne baggyamu effeeza n'ezaabu n'ebyambalo, ne bagenda ne babikweka; ne bakomawo ne bayingira mu weema endala ne baggya n'omwo ne bagenda ne bakweka.
9 Awo ne bagambagana nti Tetukola bulungi: leero lunaku lwa bigambo birungi naffe tusirika: bwe tunaalindirira obudde ne bukya, tunajjirwa okubonerezebwa: kale nno mujje tugende tubuulire ab'omu nnyumba ya kabaka.
10 Awo ne bajja ne bakoowoola omuggazi w'ekibuga: ne bababuulira nti Twatuuse mu lusiisira lw'Abasuuli, kale, laba, nga temuli muntu newakubadde eddoboozi ly'omuntu, naye embalaasi nga zisibiddwa n'eadogoyi nga zisibiddwa n'eweema nga bwe zaali.
11 Awo n'ayita abaggazi; ne babuulira ab'omu nnyumba ya kabaka munda.
12 Awo kabaka n'agolokoka kiro n'agamba abaddu be nti Kaakano naabategeeza Abasuuli kye' batukoze. Bamanyi ng'enjala etuluma; kyebavudde bava mu lusiisira okwekweka mu nsiko nga boogera nti Bwe banaava mu kibuga tunaabawamba nga balamu, ne tuyingira mu kibuga.
13 Awo omu ku baddu be n'addamu n'ayogera nti Batwale ku mbalaasi ezisigadde ettaano, nkwegayiridde, ezisigadde mu kibuga, (laba, ziri ng'ekibiina kyonna! ekya Isiraeri ekisigadde mu kyolaba, ziri ng'elubiina kyonna ekya Isiraeri ekimaliddwawo:) tutume tulabe.
14 Awo ne batwala amagaali abiri n'embalaasi; kabaka n'atuma okugoberera eggye ly'Abasuuli ng'ayogera nti Mugende mulabe.
15 Ne babagoberera okutuuka ku Yoludaani: kale, laba, ekkubo lyonna nga lijjudde ebyambalo n'ebintu Abasuuli bye basudde nga banguwa. Ababaka ne bakomawo ne babuulira kabaka.
16 Awo abancu ne bafuluma ne banyaga olusiisira olw'Abasuuli. Awo ekigero ky'obutta obulungi ne babutunda sekeri, n’ebigero ebya sayiri bibiri sekeri, ng'ekigambo kya Mukama bwe kyali.
17 Awo kabaka n'assaawo omwami gwe yeesigamanga ku mukono gwe Ilokulabirira wankaaki, abantu ne bamulinnyiririra ma mulyango n'afa ng'omusajja wa Katonda bwe yagamba eyayogera kabaka bwe yaserengeta gy'ali.
18 Awo ne kituukirira ng'omusajja wa Katonda bwe yagamba kabaka nti Ebigero ebya sayiri bibiri bya sekeri, n'ekigero ky'obutta obulungi kya sekeri, bwe kiriba bwe kityo mu mulyango gw'e Samaliya enkya bwe butiba nga kampegaano;
19 omwami oyo n'addamu omusajja wa Katonda n'ayogera nti Laba nno, Mukama bw'anaakola ebituli mu ggulu, ekigambo ekyenkanidde awo kyandiyinzise okubaawo? n'ayogera nti Laba, olikiraba n'amaaso go, naye toliryako:
20 ne lutuukirira gy'ali bwe kityo; kubanga abantu baamulinnyiririra mu mulyango n'afa.