1 Mu mwaka ogw'amakumi abiri mu musanvu ogwa Yero'bowmu kabaka wa Isiraeri Azaliya mutabani wa Amaziya kabaka wa Yuda n’atanula okufuga.
2 Yali ykamaze emyaka kkumi na mukga bwe yatanula okufuga; n'afugira emyaka amakumi atno mu ebiri mu Yeruslemi: ne nnyina erinnya lye yali Yekoliya ow'e Yeruslemi.
3 N'akola ebyali mu mso ga Mukama ebirungi nga byonna bwe biri kitwe Amaziya bye yakolanga.
4 Naye ebifo ebigulumivu tebyaggibwawo: abantu nga bakyaweerayo ssaddka era nga bootereza obubne ku bifo ebigulumivu.
5 Awo Mukama n'alwaza kabaka n'okugengewala n'agengewala okutuusa ku lunaku kwe yafiira, n'asulanga mu nnyumba eyayawulwa. Era Yosamu mutabani wa kabaka ye yali sbakki ng'asalira abantu ab'omu nsi emisango.
6 Era ebikolwa ebirala byonna ebya Azaliya ne byonna bye yakola tebyawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Yuda?
7 Azaliya ne yeebakira wamu ne, bajjajjbe; ne bamuziikira wamu nel bajjajjbe mu kibuga kya Dawudi: Yosamu mutabani we n'afuga mui kifo kye.
8 Mu mwaka ogw'amakumi asatu' mu munna ogwa Azaliya kabaka wa Yuda Zekkaliya mutabani wa Yerobowmu n'afugira Isiraeri mu Samaliya emyezi mukga.
9 N'akola ebyali mu mso ga Mukama ebibi nga bajjajjbe bwe bkolanga: teyava mu bibi bya Yerobowmu mutabani wa Nebati bye yayonoonyesa Isiraeri.
10 Awo Sallumu mutabani wa Yabesi n'amwekobna n'amufumitira mu mso g'abantu n'amutta, n'afuga mu kifo kye.
11 Era ebikolwa ebirala byonna ebya Zekkaliya, laba, byaws:.diikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Isi raeri.
12 Ekyo kye kyali ekigambo kya Mukama kye yagamba Yeeku nti Batabani bo balituusa emirembe egy'okuna okutuula ku ntebe yal Isiraeri. Era ne kituukirira bwe kityo.
13 Awo Sallumu mutabani wa, Yabesi n'atanula okufuga mu mwaka ogw'amakumi asatu mu mwenda, ogwa Uzziya kabaka wa Yuda; n'afugira ebbanga ery'omwezi mu Samaliya.
14 Awo Menakemu mutabani wa Gdi n'ayambuka ng'ava e Tiruza n'ajja e Samaliya n'afumitira Sallumu mutabani wa Yabesi mu Samaliya, n'amutta n'afuga mu kifo kye.
15 Era ebikolwa ebirala byonna ebya Sallumu n'okwekoba kwe kwe yeekoba, laba, byawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Isiraeri.
16 Awo Menakemu n'akuba Tifusa ne bonna abkirimu, n'ensalo zkyo okuva e Tiruza: kubanga tebmuggulirawo, kyeyava akikuba; abakazi bonna abkirimu abli embuto n'ababga.
17 Mu mwaka ogw'amakumi asatu mu mwenda ogwa Azaliya kabaka wa Yuda Menakemu mutabani wa Gdi' n'atanula okufuga Isiraeri, n'afugira emyaka kkumi mu Samaliya.
18 N'akola ebyali mu mso ga Mukama ebibi r ennaku ze zonna nga tava mu bibi bya Yerobowmu mutabani wa Nebati bye yayonoonyesa Isiraeri:
19 Puli kabaka w'e Bwasuli n'atabla ensi; Menakemu n'awa Puli talanta za ffeeza lukumi, omukono gwe gubeerenga naye okunyweza obwakabaka mu mukono gwe.
20 Menakemu n'asolooza effeeza ku Isiraeri ku basajja bonna abagagga, ku buli musajja ffeeza sekeri amakumi atno, okuwa kabaka w'e Bwasuli. Awo kabaka w'e Bwasuli n'addayo n'ata beera eyo mu nsi.
21 Era ebikolwa ebirala byonna ebya Menakemu ne byonna bye yakola tebyawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Isiraeri?
22 Menakemu ne yeebakira wamu ne bajjajjbe; Pekakiya mutabani we n'afuga mu kifo kye.
23 Mu mwaka ogw'amakumi atno ogwa Azaliya kabaka wa Yuda Pekakiya mutabani wa Menakemu n'atanula okufuga Isiraeri mu Samaliya, n'afuga emyaka ebiri:
24 N'akola ebyali mu mso ga Mukama ebibi: teyava mu bibi bya Yerobowmu mutabani wa Nebati bye yayonoonyesa Isiraeri.
25 Awo Peka mutabani wa Lemaliya omwami we n'amwekobna n'amufumitira mu Samaliya mu kigo eky'omu nnyumba ya kabaka wamu ne Alugobu ne Aliye; era abasajja amakumi atno ab'oku Bagireydi ne baba wamu naye: n'amutta n'afuga mu kifo kye.
26 Era ebikolwa ebirala byonna ebya Pekakiya ne byonna bye yakola, laba, byawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Isiraeri.
27 Mu mwaka ogw'amakumi at, no mu ebiri ogwa Azaliya kabaka wa Yuda Peka mutabani wa Lemaliya n'atanula okufuga Isiraeri mu Samaliya, n'afugira emyaka amakumi abiri.
28 N'akola ebyali mu mso ga Mukama ebibi: teyava mu bibi bya Yerobowmu mutabani wa Nebati bye yayonoonyesa Isiraeri.
29 Ku mirembe gya Peka kabaka wa Isiraeri Tigulasupireseri kabaka w’e Bwasuli n'ajja n'amenya Iyoni ne Aberubesumka nc Yanowa Kedesi ne Kazoli ne Gireydi Ggalirya, ensi yonna eya Nafutali; n'abatwala nga basibe e Bwasuli
30 Awo Koseya mutabani wa Era ne yeekobna Peka mutabani wa Lamaliya, n'amufumita n'amutta n'a fuga mu kifo kye mu mwaka ogw’amakumi abiri ogwa Yosamu mutabani wa Uzziya.
31 Era ebikolwa ebirala byonna ebya Peka ne byonna bye yakola, laba, byawandiikibwa mu kitabo eky'ebyomumirembe gya bassekabaka ba Isiraeri.
32 Mu mwaka.ogw'okubiri ogwa Peka mutabani wa Lemaliya kabaka wa Isiraeri Yosamu mutabani wi Uzziya kabaka wa Yuda n'atanula okufuga.
33 Yali ykamaze emyaka amakumi abiri mu etno bwc yatanula okufuga; n'afugira emyaka kkumi na mukga mu Yeruslemi ne nnyina erinnya lye yali Yerusa muwala wa Zadooki.
34 N'akola ebyali mu mso ga Mukama ebirungi: yakola nga byonna bwe biri kitwe Uzziya bye yakola,
35 Naye ebifo ebigulumivu tebyaggibwawo: abantu nga bakyaweerayo ssaddka era nga bootereza obubne ku bifo ebigulumivu. N'azimba omulyango ogw'engulu ogw'omu nnyumba ya Mukama,
36 Era ebikolwa ebirala byonna ebya Yosamu ne byon bye yakola tebyawandiikibwa mu kitabo eky'ebyomumirembe gya bassekabaka ba Yuda?
37 Mu biro ebyo Mukama mwe yatanulira okusindil, Lezini kabaka We Busuuli ne Peka mutabani wa Lemaliya okulwana ne Yuda.
38 Awo Yosamu ne Yeebakira wamu ne bajjajjbe n'aziikirwa wamu ne bajjajjbe mu kibuga kya Dawudi kitwe: Akazi mutabani we n'afuga mu kifo kye.