Home |  | Audio |  | Index |  | Verses

2 Bassekabaka 2 Kings

Chapter : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25
1 Awo omukazi omu ow'oku bakazi b'abaana ba bannabbi n'ayogerera waggulu eri Erisa ng'ayogera nti Omuddu wo baze yafa: era omanyi ng’omuddu wo yatyanga Mukama: era ow'ebbanja azze okwetwalira abaana bange bombi okuba abaddu
2 Erisa n'amugamba nti Naakukolera ki? mbuulira: olina ki mu nnyumba? N'ayogera nti Omuzaana wo talina kintu mu nnyumba wabula akasumbi ak'amafuta.
3 Awo n'ayogera nti Genda weeyazike ebintu ebweru mu banno bonna, ebintu ebyereere; weeyazike bingiko.
4 Awo n'oyingira weggalire ggwe ne batabani bo, ottululire mu bintu ebyo byonna; otereke ebijjudde.
5 Awo n'ava w'ali ne yeggalira ye ne batabani be; ne bamuleetera ebintu n'attulula.
6 Awo olwatuuka ebintu bwe byajjula n'agamba mutabani we nti Ndeetera nate ekintu. N'amugamba nti Tewakyali nate kintu. Amafuta ne gakoma.
7 Awo n’ajja n'abuulira omusajja wa Katonda. N'ayogera nti Genda otunde amafuta osasule ebbanja lyo, ebinaafikkawo bikutiiseaga ggwe ne batabatu bo.
8 Awo olunaku lwali lumu Erisa n'ayita n'agenda e Sunemu eyali omukazi omukulu; n'amuwaliriza okulya ku mmere. Awo olwatuukanga buli lwe yayitangawo n'akyamiranga omwo okulya ku mmere.
9 N'agamba bba nti Laba nno, ntegedde ag'ono musajja mutukuvu wa Katonda atuyitako buli kaseera.
10 Nkwegayiridde tukookere ku kisenge; tumuteekere eyo ekitanda n'emmeeza n'entebe n'eky'ettabaaza: awo olunaatuukanga bw'anajjanga gye tuli anaakyamiranga omwo.
11 Awo olunaku lwali lumu n'ajjayo n'akyamira mu nju n'agalamira omwo.
12 N'agamba Gekazi omuddu we nti Yita Omusu'nammu ono. Awo bwe yamuyita n'ayimirira mu maaso ge.
13 N'amugamba nti Mugambe nno nti Laba, watujjanjaba okujjanjaba okwenkana awo; kiki ekinaaba kikukolerwa? oyagala okwogererwa eri kabaka oba eri omukulu w'eggye? N'addamu nti Ntuula mu bantu bange nze.
14 N'ayogera nti Kale kiki ekinaaba kimukolerwa? Gekazi n'addamu nti Niazima talina mwana wa bulenzi ne bba mukadde.
15 N'ayogera nti Muyite. Awo bwe yamuyita n'ayimirira ku mulyango.
16 N'ayogera nti Mu kiseera kino ebiro bwe biridda, oliwambaatira omwana ow'obulenzi. N'ayogera nti Nedda, mukama wange, ggwe omusajja wa Katonda, tolimba muzaana wo.
17 Omukazi n'aba olubuto n'azaalira omwana ow'obulenzi mu kiseera ekyo ebiro bwe byadda nga Erisa bwe yamugamba.
18 Awo omwana bwe yakula olunaku lwali lumu n'afuluma n'agenda eri kitaawe eri abakunguzi.
19 N'agamba kitaawe nti Omutwe gwange, omutwe gwange. N'agamba omuddu we nti Musitule omutwale eri nnyina.
20 Awo bwe yamutwala n'amutuusa eri nnyina, n'atuula ku maviivi ge okutuusa ettuntu n'alyoka afa.
21 N'alinnya n'amugalamiza. ku kitanda ky'omusajja wa Katonda, n'amuggalira oluggi n'afuluma.
22 N'ayita bba n'ayogera nti Nkwegayiridde, mpeereza omu ku baddu n'emu ku ndogoyi ŋŋende mbiro eri omusajja wa Katonda nkomewo.
23 N'ayogera nti Kiki ekikwagaza okugenda gy'ali leero? si lunaku lwa mwezi ogwakaboneka so si ssabbiiti. N'ayogera nti Mirembe.
24 Awo n'atandiika endogoyi n'agamba omuddu we nti Goba otambule; totta ku bigere wabula nga nkugambye.
25 Awo n'agenda n'atuuka eri omusajja wa Katonda ku lusozi Kalumeeri. Awo olwatuuka omusajja wa Katonda bwe yamulengera ng'akyali wala, n'agamba Gekazi omuddu we nti Laba. Omu sunammu wuuyo:
26 nkwegayiridde, dduka nno mbiro omusisinkane omugambe nti Oli bulungi? balo ali bulungi? omwana ali bulungi? N'addamu nti Bulungi.
27 Awo bwe yatuuka eri omusajja wa Katonda ku lusozi, n'amukwata ku bigere. Gekazi n'asembera okumusindika; naye omusajja wa Katonda n'ayogera nti Muleke: kubanga emmeeme ye enyiikaddel munda mu ye; era Mukama akinkisizza so tambuulidde.
28 Awo n'ayogera nti Nayagala omwana ow'obulenzi eri mukama wange? saayogera nti Tonnimba?
29 Awo n'agamba Gekazi nti Weesibe ekimyu oddire omuggo gwange mu mukono gwo ogende: bw'onoosanga omuntu yenna tomulamusa; era omuntu yenna bw'anaakulamusa, tomuddamu: oteeke omuggo gwange ku maaso g'omwana.
30 Nnyina w'omwana n'ayogera nti Nga Mukama bw'ali omulamu n'emmeeme yo nga bw'eri ennamu, sijja kukuleka. N'agolokoka n'amugoberera.
31 Awo Gekazi n'ayitamu n'abakulembera n'ateeka omuggo ku maasc g'omwana; naye ne wataba ddoboozi newakubadde okuwulira. Kyeyava akomawo okumusisinkana, n'amubuulira nti Omwana tazuukuse.
32 Awo Erisa bwe yayingira mu nnyumba, laba, omwana ng'afudde era ng'agalamidde ku kitanda kye.
33 Awo n'ayingira ne yeggalira iaye bombi n'asaba Mukama.
34 N'alinnya n'agalamira ku mwana n'ateeka akamwa ke ku kamwa ke n’amaaso ge ku maaso ge n'emikono gye ku mikono gye: ne yeegololera ku ye; omubiri gw'omwana ne gubuguma.
35 Awo n'akomawo n’atambula mu nnyumba omulundi ogumu eruuyi n'omulundi ogumu eruuyi; n'alinnya ne yeegololera ku ye: omwana n'ayasimula emirundi musanvu, omwana n'azibula amaaso.
36 N'ayita Gekazi n'ayogera nti Muyite Omusunammu oyo. Awo n'amuyita. Awo ng'ayingidde gy'ali n'ayogera nti Situla omwana wo.
37 Awo n'ayingira n'avuunama ku bigere bye n'akutama wansi; n'asitula omwana we n'afuluma.
38 Awo Erisa n'ajja nate e Girugaali: ne waba enjala mu nsi; abaana ba bannabbi ne batuula mu maaso ge: n'agamba omuddu we nti Teekako entamu ennene, ofumbire abaana ba bannabbi enva.
39 Awo omu n'afiuluma n'agenda ku ttale okunoga amaboga, n'asanga omuzabbibu ogw'omu nsiko, n'anogako amaboga ag'omu nsiko n'ajjuza olugoye lwe, n'ajja n'agatyemulatyemulira mu ntamu erimu enva: kubanga tebaagamanya.
40 Awo ne bajjulira abantu okulya. Awo olwatuuka bwe baali nga balya ku nva, ne boogerera waggulu nga bagamba nti Ai omusajja wa Katonda, mu ntamu mulimu okufa. So tebaayinza kugiryako.
41 Naye n'ayogera nti Kale muleete obutta. N'abusuula mu ntamu; n'ayogera nti Mujjulire abantu balye. Ne wataba kabi mu ntamu.
42 Awo omusajja n'ajja ng'ava e Baalusalisa, n'aleetera omusajja wa Katonda emmere ey'okubibereberye, emigaati egya sayiri amakumi abiri n'ebirimba eby'eŋŋaano ebibisi mu nsawo ye. N'ayogera nti Bawe abantu balye.
43 Awo omuddu we n'ayogera nti Owa! nteeke kino mu maaso g'abasajja ekikumi? Naye n'ayogera nti Bawe abantu balye; kubanga bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Banaalya ne balemwa.
44 Awo n'agiteeka mu maaso gaabwe, ne balya ne balemwa ng'ekigambo kya Mukama bwe kyali.

Top |  | Next Page  |  | Index |  | Home
Full online version here [with search engine, multilingual display and audio Bible]